- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Zeffaniya
Zeffaniya
Zeffaniya
Zef
Ekitabo Ekiyitibwa
Zeffaniya
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda
“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
bw’ayogera Mukama.
Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
Siriikirira awali Mukama Katonda,
kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
era atukuzizza abagenyi be.
Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
ndibonereza abakungu
n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
ebyambalo ebitasaana.
Awo ku lunaku olwo ndibonereza
abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
mbonereze abo bonna abalagajjavu
abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
talibaako ne ky’akolawo.
Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
tebalinywa wayini wamu.
Olunaku lwa Mukama Olukulu
Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
ku bibuga ebiriko ebigo
n’eri eminaala emigulumivu.
Ndireeta, obuyinike ku bantu,
batambule ng’abazibe b’amaaso,
kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
tebiriyinza kubataasa
ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.
Ensi yonna erizikirizibwa
omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
abo bonna abali mu nsi.
Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango
Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
mpozzi mulikwekebwa
ku lunaku olw’obusungu bwe.
Obubaka eri Abafirisuuti
Gaza kirirekebwawo,
ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
ne Ekuloni kirisimbulibwa.
Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
so tewaliba asigalawo.
Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
n’akomyawo obugagga bwabwe.
Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni
Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
ne batiisatiisa ensi yaabwe.
Kale nga bwe ndi omulamu,
bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
Mukama aliba wa ntiisa gye bali
bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
Obubaka eri Abaesiyopiya
Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
Obubaka eri Obwasuli
Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
era ekikalu ng’eddungu.
Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
kafakalimbo ajjudde mu miryango,
n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
Kino kye kibuga ekya kyetwala,
ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
n’akinyoomoola.
Obujeemu bwa Yerusaalemi
Zikisanze ekibuga ekijooga,
ekijeemu era ekyonoonefu!
Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
wadde okusemberera Katonda waakyo.
Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
bakirimululu abatafissaawo kantu.
Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
era bamenya amateeka.
Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
era buli lukya talemwa;
naye atali mutuukirivu taswala.
“Nsanyizzaawo amawanga,
era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
Nagamba eri ekibuga nti,
‘Ddala onontya,
era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
gulisaanyaawo ensi yonna.
Essuubi lya Isirayiri
“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
okumuweereza n’omwoyo gumu.
Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
balindeetera ssaddaaka.
Ku lunaku olwo toliswala
olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
ku lusozi lwange olutukuvu.
Naye ndireka wakati mu ggwe
abantu abakakkamu era abeetoowaze,
abo abesiga erinnya lya Mukama.
Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
so tebalyogera bya bulimba
wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
so tewaliba alibatiisa.”
Oluyimba olw’Essanyu
Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
tokyaddayo kutya kabi konna.
Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
“Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
ndigibaggyako;
kubanga kibafuukidde omugugu.
Laba, mu biro ebyo ndibonereza
abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
mu nsi zonna gye baaswazibwa.
Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
nga mulaba,”
bw’ayogera Mukama.