- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 Oluyimba Oluyimba Oluyimba Lu Ekitabo Ekiyitibwa Oluyimba Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna. Omwagalwa Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo, n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala. Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Abemikwano Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Omwagalwa Nga batuufu okukwegomba! Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ng’eweema ez’e Kedali,1:5 Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu. era ng’entimbe za Sulemaani. Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde. Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo, ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu. Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo? Abemikwano Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi n’eweema z’abasumba. Owoomukwano Omwagalwa wange, nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo. Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo. Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza. Omwagalwa Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi. Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli1:13 Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange. Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera1:14 Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo. ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.1:14 Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi. Owoomukwano Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba. Omwagalwa Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto. Owoomukwano Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule, n’enzooba zaffe nkanaga. Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,2:1 Ekimuli kya Looza ekya Saloni kimera ekisangibwa mu nsenyi z’omu bukiikaddyo bwa Kalumeeri. eddanga ery’omu biwonvu. Owoomukwano Ng’eddanga mu maggwa, gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi. Omwagalwa Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, n’ekibala kye kimpomera. Yantwala ku kijjulo, n’okwagala kwe ne ku mmaamira. Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu, mumbuddeebudde n’emicungwa kubanga okwagala kunzirisizza. Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira. Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira, ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde. Wuliriza omwagalwa wange, Laba, ajja ng’abuukirabuukira ku nsozi, ng’azinira ku busozi. Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa. Omwagalwa wange yaŋŋamba nti, “Golokoka, Owoomukwano, omulungi wange, ojje tugende, kubanga laba ttoggo aweddeko, n’enkuba eweddeyo. Ebimuli bimulisizza, n’ebiro eby’okuyimba bituuse, era n’okukaaba kw’amayiba kuwulirwa mu nsi. Omutiini2:13 Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo gubala ettiini zaagwo, n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo. Golokoka Owoomukwano, omulungi wange ojje tugende.” Owoomukwano Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi, mu bwekwekero obw’amayinja, ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, n’amaaso go gasanyusa. Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ez’emizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza. Omwagalwa Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe; aliisiza ekisibo kye mu malanga, okutuusa obudde nga bukedde n’ebisiikirize nga biddukidde ddala; okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri. Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gw’eyagala, ne munoonya naye saamulaba. Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gw’eyagala, ne nnindirira naye saamulaba. Abakuumi b’ekibuga abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti, “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?” Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala. Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde. Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu, afaanana ng’empagi ey’omukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu, okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi? Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri, bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa ey’ekiro. Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali eky’emiti egy’omu Lebanooni. Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala, okw’abawala ba Yerusaalemi. Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olw’embaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira. Owoomukwano Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse. Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi. Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka. Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu; n’akamwa ko kandabikira bulungi. Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.4:3 Amakomamawanga mamyufu Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi, ogwatereezebwa obulungi; ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi, zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi. Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo, ab’empeewo, nga balongo, abaliira mu malanga. Okutuusa obudde nga bukedde, n’ebisiikirize nga biweddewo, ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli ne ku kasozi ak’omugavu. Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange, toliiko bbala na limu. Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange, jjangu tuve mu Lebanooni. Lengera okuva ku ntikko ya Amana, n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni, n’okuva mu mpuku ey’empologoma, ne ku nsozi ez’engo. Osenzesenze omutima gwange, mwannyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye, n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo. Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi. Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange; amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo. Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni. Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange, era oli luzzi olwasibibwa4:12 Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo., ensulo eyateekebwako akabonero. Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga, erina ebibala byonna eby’omuwendo, ne kofera n’emiti egy’omugavu n’omugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna, ne mooli ne alowe, wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi. Oli nsulo ya nnimiro, oluzzi olw’amazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni.4:15 Ku ntikko y’Olusozi lwa Lebanooni lwalingako omuzira, ng’eyo amazzi gye gava ne gakola emigga egikulukuta amazzi agatakalira Omwagalwa Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono, naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.4:16 Empewo ey’obukiikakkono ereeta obunnyogovu era ereka ebibala biramu bulungi. Empewo ey’obukiikaddyo ereeta kibuguumirize, era eyengeza ebibala. Empewo ez’engeri zombi zireeta akawoowo akalungi mu nnimiro Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu eby’omuwendo. Owoomukwano Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana. Omwagalwa Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.” Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira? Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka. Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, n’engalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gy’ekufulu. Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu. Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala n’ekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe. Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita. Abemikwano Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo? Omwagalwa Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo. Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona. Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi. Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli. Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo. Omubiri gwe guli ng’amasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro. Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ng’emivule gyayo. Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi. Abemikwano Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko? Omwagalwa Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga. Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga. Owoomukwano Oli mubalagavu nga Tiruza,6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera. Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi. Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka. Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, buli ng’ebitundu by’amakomamawanga. Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda. Abemikwano Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye? Owoomukwano Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera. Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange. Abemikwano Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko. Owoomukwano Lwaki mutunuulira Omusulamu ng’abali ku mazina ga Makanayimu? Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo, omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba. Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga. Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo, abalongo. Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga. Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni ogwolekera Ddamasiko. Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri, n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo. Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo. Oli muwanvu ng’olukindu, n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo. Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu, n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi. Omwagalwa Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase. Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo. Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga, tusuleko mu byalo. Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza, obanga n’emikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange. Amadudayimu7:13 Amadudayimu gayamba mu by’okuzaala gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange. Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange era eyayonka amabeere ga mmange, nandikusanze ebweru nandikunywegedde ne wataba n’omu annyooma. Nandikukulembedde ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange, oyo eyangigiriza. Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa, omubisi ogw’amakomamawanga gange. Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira. Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse. Abemikwano Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Omwagalwa Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi. Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo. Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala n’emigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo. Abemikwano Tulina muto waffe atannamera mabeere, naye tulikola tutya bw’alituuka okwogerezebwa? Singa abadde bbugwe twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza, singa abadde luggi twandimuggalidde na mivule. Omwagalwa Ndi bbugwe era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro, noolwekyo mu maaso ge, mmufuukidde aleeta emirembe. Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni, n’agisigira abalimi. Buli omu ku bo yamusalira ebitundu bya ffeeza lukumi. Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange, ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani, ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro. Owoomukwano Ggwe abeera mu nnimiro ne mikwano gyo nga weebali, ka mpulire eddoboozi lyo. Omwagalwa Yanguwa okuvaayo eyo, odduke mangu ng’empeewo oba ng’ennangaazi ento, oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.