- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Luusi
Ekitabo Ekiyitibwa Luusi
Luusi
Lus
Ekitabo Ekiyitibwa
Luusi
Nawomi ne Luusi
Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi1:2 Erinnya Bayefulaasi liva mu nju Erimereki mw’asibuka. Erimereki yabbula erinnya Efulaasi okuva mu nnyumba ye mu kifo gye yali abeera, okumpi n’e Besirekemu ([4:11]; [Lub 35:19]; [1Sa 17:12]; [Mi 5:2]) ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.
Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.
Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina1:8 Abawala ne bannamwandu baabeeranga ne bannyaabwe ([Lub 24:28], [67]). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11)., era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe1:11 Ekyo kyogera ku mpisa y’Ekiyudaaya egamba nti nnamwandu atalina mwana ateekwa kufumbirwa muganda w’omugenzi bba ([Lub 38:6-8]; [Ma 25:5-10]). Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.
Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Mukama ambonerezza. Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri1:22 Sayiri ye yasookanga okukungulwa. Eŋŋaano yakungulwanga wayiseewo wiiki nnyigiko (laba 2:23) nga kyakatandika.
Luusi Asisinkana Bowaazi
Nawomi yalina mulamu we, ng’ava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi. Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa2:2 Okulonda emmere y’empeke esigaridde mu nnimiro kyali kya bannamwandu, n’abaana enfuuzi, n’abagenyi ([Lv 19:9]; [23:22]; [Ma 24:19]).” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.” Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.
Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.”
Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”
Awo Bowaazi n’abuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono w’ani?” N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu. Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
Awo Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga n’olondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala. Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bw’ekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”
Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.” Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze. MukamaKatonda wa Isirayiri, oyo gwe weewagamye wansi w’ebiwawaatiro bye, akuwe empeera ennene ddala.”
Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse2:14 Wayini akatuuse kyali kyakunywa ekitabuddwamu wayini akayirira n’omuzigo omutono..”
Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo. Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana. Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”
Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu. Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi2:20 Omununuzi, ye yali muganda w’omugenzi ow’ennyumba ow’okumpi ennyo, era ye yali ateekwa okununula ettaka lyonna ery’omugenzi. Omununuzi yali ateekwa okuwasa nnamwandu, nnamwandu bwe yabanga tazadde baana ([Ma 25:5-10]) baffe ddala.”
Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”
Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”
Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.
Luusi mu Gguuliro lya Bowaazi
Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro. Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro3:3 Sayiri yassibwanga ensolo nga zimulinnyirira emisana. N’oluvannyuma abarimi beeyambisanga empewo ey’akawungeezi okulondamu empeke. Empewo yafuwanga kasasiro n’erekawo empeke mu gguuliro; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa. Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”
Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.” N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.
Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye. Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye.
N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika3:9 Omusajja okuddira olugoye lwe n’alubikka omukyala, kaali kabonero akalaga ng’omusajja oyo bwe yeetegese okuwasa omukyala oyo.” Bowaazi n’amuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”
N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.” Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.
Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde, era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”
Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa
Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”
Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”
Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto4:7 Mu bitundu ebyo eby’ensi, okuba n’engatto kaali kabonero akalaga ng’omuntu bw’ali omugagga ([Zab 60:8]). ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya4:11 Ng’Abayisirayiri bonna bwe baali bazzukulu ba Laakeeri ne Leeya, bwe kityo ne Luusi yali jjajja wa Dawudi ne Kristo., abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu, era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi4:12 Pereezi yali jjajja wa Bowaazi ([Mat 1:3]; [Luk 3:33]), Tamali gwe yazaalira Yuda.”
Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi:
Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
Kezulooni yali kitaawe wa Laamu,
Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,
Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
Salumooni yali kitaawe wa Bowaazi,
Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
Obedi yali kitaawe wa Yese,
Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.