- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 Okubala Ekitabo Ekiyitibwa Okubala Okubala Kbl Ekitabo Ekiyitibwa Okubala Okubala Abantu Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri1:1 Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi. N’amugamba nti: “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe. “Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako: “Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli; mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi; mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu; mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali; mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi; mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni; mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi; mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani; mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri; mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.” Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri. Ebika n’obunene bwabyo Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi: Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). Ab’omu bazzukulu ba Simyoni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300). Ab’omu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). Ab’omu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). Ab’omu bazzukulu ba Isakaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). Okuva mu batabani ba Yusufu: Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). Ab’omu bazzukulu ba Manase: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). Ab’omu bazzukulu ba Benyamini: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). Ab’omu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). Ab’omu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). Abaleevi bo Tebaabalibwa Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.” Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Abakulembeze n’Ensiisira z’Ebika Byabwe Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.” Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga. Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500). Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300). Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse. Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye. Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse. Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). Ab’ekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri. Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bw’atyo Mukama bwe yalagira Musa. Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe. Batabani ba Alooni Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi. Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali. Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona. Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu. Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Leeta ab’omu kika kya Leevi3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona. obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.” Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, “Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.” Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, “Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe3:15 Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali. Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali. Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi. Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali: Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali. Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500). Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama. Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri. Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo. Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga3:28 ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu (8,600). Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu. Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama. Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri. Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo. Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu. Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200). Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri; Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama. Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa. Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa. Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). Okubala Abasajja Ababereberye Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna. Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.” Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu. Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda. Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja, onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri3:47 sekeri sekeri emu ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.” Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi. Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri. Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Batabani ba Kokasi Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mubale batabani ba Kokasi abava mu kika ky’Abaleevi, ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. “Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo. Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingirangamu, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo. “Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo. Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo. “Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo. Ekikondo n’ebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro. “Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo. “Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo. Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu; ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo. “Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga. “Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.” Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mwegendereze ab’omu mpya z’ennyumba z’Abakokasi baleme okukutulwa ku kika ky’Abaleevi. Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga. Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa.” Batabani ba Gerusoni Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. “Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu: Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo. Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga. Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona. Batabani ba Merali “Batabani ba Merali nabo babale ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula, awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka. Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.” Ebyava mu Kubala Abantu Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali. Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750). Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa. Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali. Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630). Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali. Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200). Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo Musa ne Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba z’abakadde baabwe. Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580). Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ekiragiro ku Bulongoofu bw’Olusiisira Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Etteeka ly’Okuliwa Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango, era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango. Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona. Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo. Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ” Etteeka ku Bbuba Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola; singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako, kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa5:15 ze liita nga bbiri eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa. “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda. Anaddiranga amazzi amatukuvu5:17 Amazzi amatukuvu Nga galimu enfuufu ge gaakozesebwanga mu ngeri ey’obwakatonda mu kusalira omuntu omusango. nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema. Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’ Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa, wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba. Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’  “Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’ “ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa. Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri. Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto. Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali. Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe. Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’ “ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ” Etteeka ery’Obweyamo obw’Omunnazaalayiti Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo, anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta. “Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde. Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Katonda kanaabanga kali ku mutwe gwe. Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda. “Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu. Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe. Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula. “Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe; n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa. “Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa. “Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe. “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze. Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo. “Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.” Omukisa gwa Kabona Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti: “ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa, akukuume; Mukama Katonda akwakize amaaso ge akukwatirwe ekisa; Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge akuwe emirembe.’  “Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.” Okutukuza Ekyoto Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna. Abakulembeze ba Isirayiri, abakulu b’empya za bakitaabwe era nga be bakulembeze b’ebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe. Baaleeta ebirabo byabwe eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga n’ente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya Mukama. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.” Bw’atyo Musa n’addira amagaali n’ente n’abiwa Abaleevi. Amagaali abiri n’ente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ng’emirimu gyabwe bwe gyali, n’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona. Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe. Bwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso g’ekyoto olw’okukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Mukama n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.” Ebiweebwayo bya Nakusoni ne Nesaneri Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow’omu kika kya Yuda. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza, ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza eky’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani n’ekibya, nga bipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. Ku lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekirabo kye yaleeta yali sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali. Ebiweebwayo bya Eriyaabu ne Erizuuli Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni. Ku lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli. Ebiweebwayo bya Serumiyeeri ne Eriyasaafu Ku lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri. Ebiweebwayo bya Erisaama ne Gamalyeri Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi. Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali esowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. Ebiweebwayo bya Abidaani ne Akiyezeeri Ku lunaku olw’omwenda Abidaani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze w’abantu ba Benyamini, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni. Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. Ebiweebwayo bya Pagiyeeri ne Akira Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani. Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze w’abantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye. Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa; ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani. Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri. Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali. Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya. Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi. Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga. Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Bw’atyo Mukama bwe yayogera naye. Ekikondo ky’Ettaala Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ” Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali. Obulongoofu bw’Abaleevi Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu. Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu. Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi. Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna. Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo. Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama. “Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi. Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. Abaleevi Bayawulwa ku Bantu “Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. “Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri. Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange. Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri. Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.” Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu. Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza. Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.” Ekiragiro ku Mbaga ey’Okuyitako Awo Mukama n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti, “Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa. Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.” Bw’atyo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako; era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini, ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?” Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.” Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda. Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa. Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira. Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe. “ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ” Ekire Waggulu w’Eweema Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro. Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro. Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira. Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe. Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula. Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga. Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula. Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula. Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa. Amakondeere Aga Ffeeza Mukama n’agamba Musa nti, “Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka. “Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.” Okuva mu Sinaayi Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ey’Endagaano. Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa. Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula. Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka. Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini. Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula. Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.” Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.” Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.” Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana. Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti, “Golokoka, Ayi Mukama! Abalabe bo basaasaane; amaggye agakulwanyisa gakudduke.” Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti, “Komawo, Ayi Mukama, eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.” Abantu Beemulugunya Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu. Emmaanu Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!” Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo. Musa Asaba Ennyama Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.” Mukama Ayanukula Musa Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka. “Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ” Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?” Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.” Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola. Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.” Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.” Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira. Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube. Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo. Miryamu ne Alooni Bawakanya Musa Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi. Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira. Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi. Amangwago Mukama n’ayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu n’abagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda. Mukama Katonda n’akkira mu mpagi ey’ekire, n’ayimirira ku mulyango gwa Weema n’ayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange: “Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto. Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa; mu nju yange yonna, muntu mwesigwa. Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?” Miryamu Agengewala Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, n’abaviira. Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde; n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe. Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.” Musa n’akaabirira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.” Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.” Bw’atyo Miryamu n’asibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo. Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani. Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.” Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri. Amannya gaabwe ge gano: Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula. Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli. Eyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune. Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu. Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni. Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu. Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi. Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi. Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali. Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri. Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi. Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki. Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa. Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi. Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono. Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo. Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera. Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi. Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa. Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli13:23 Esukoli Kitegeeza kiwagu. Laba ne mu lunny 24 ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu. Abakessi Bakomawo Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi. Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo. Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu. Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki. Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.” Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.” Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.” Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.” Abantu Bajeema Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.” Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo. Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu., ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.” Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo? Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.” Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi. Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro. Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti, ‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’ “Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti, Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’ Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.” Ekibonerezo kya Isirayiri Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye. Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna, tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako. Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya. Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.” Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza. Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola. Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ” Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu, abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda. Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu. Abayisirayiri Bawangulwa mu Lutalo e Koluma Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo. Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.” Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.” Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira. Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma. Amateeka ku Biweebwayo Mukama Katonda n’agamba Musa ayogere n’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe, ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama; kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini15:4 Ini ze lita nnya ey’amafuta ag’omuzeeyituuni. Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa. “Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini, era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. “Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda, ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu. Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo. Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi. “Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola. Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda. Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.” Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala, ne mulya ku mmere y’omu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri Mukama. Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro. Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’  Ebiweebwayo olw’Ebibi Ebikolebwa mu Butagenderera “Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna Mukama Katonda g’awadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera, amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja, ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi. Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere. Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde. “Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga. Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe. “Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala. Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.” Amenya Etteeka lya Ssabbiiti Anattibwanga Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna, ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera. Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.” Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Amatanvuuwa ag’Okujuukirirangako Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu. Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe. Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze Mukama Katonda wammwe.” Okwewaggula kwa Koola ne Dasani ne Abiraamu Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?” Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi. N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali. Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo, enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!” Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi! Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza? Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye? Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?” Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge? Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.” Musa Asabira Abantu Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.” Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni. Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.” Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye. Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.” Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?” Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.” Ekibonerezo ky’Abajeemu Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye. Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.” Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!” Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane. Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala. Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.” Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto, kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa. Kawumpuli mu Bantu Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.” Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka. Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, Mukama n’agamba Musa nti, “Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi. Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.” Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra; n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa. Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko. Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa. Okutojjera kw’Omuggo gwa Alooni Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi n’ebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gw’aleese. Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze w’ekika ky’obujjajja ajja kubeera n’omuggo ggumu. Olyoke ogiteeke mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, we mbasisinkana. Kale nno omuggo gw’oyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okw’abaana ba Isirayiri.” Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ng’ebika by’obujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gy’emiggo kkumi n’ebiri, nga n’omuggo gwa Alooni mwe guli. Musa n’ateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama ey’Endagaano. Awo bwe bwakya enkya Musa n’ayingira mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano, era laba, ng’omuggo gwa Alooni ow’omu kika kya Leevi nga gutojjedde nga guliko n’obutabi obuto, nga gutaddeko n’ebibala ebyengedde. Musa n’afulumya emiggo gyonna ng’agiggya mu maaso ga Mukama Katonda, n’agireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu n’aggyawo omuggo gwe. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko ey’Endagaano gukuumirwenga awo ng’akabonero ak’okulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa.” Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira. Awo abaana ba Isirayiri ne bagamba Musa nti, “Laba, ffenna tujja kufa! Tujja kuggwaawo, tujja kuzikirira. Buli muntu anaasembereranga Eweema ya Mukama ajjanga kufa. Ffenna tuli ba kuzikirira?” Emirimu gya Bakabona n’egy’Abaleevi Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona. Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama ey’Endagaano. Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa. Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli. “Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri. Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.” Omugabo gwa Bakabona n’ogw’Abaleevi Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera18:8 Abaleevi tebaalina mugabo gwonna mu Isirayiri. Abaleevi baalina ebibuga bitono n’ebifo mwe baalundiranga nga bitono. Kyokka bakabona bo tebaalina kintu. Abaleevi baafunanga empeera yaabwe okuva mu kimu eky’ekkumi ekyaweebwangayo Abayisirayiri (nny. 25-32). Abaleevi baafunanga ne ku ssaddaaka ezaweebwangayo abantu. Era ssaddaaka ezo baaziryanga n’ab’omu maka gaabwe ebweru w’awatukuvu (nny. 11).. Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango. Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo. “Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako. “Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe. Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako. “Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo. Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga. Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. “Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo. Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.” Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri. Ekitundu eky’ekkumi Okukiwa Abaleevi “Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa. Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri. Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.” Ekitundu eky’Ekkumi Abaleevi kye baawangayo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda. Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero. Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona. Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.’ “Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero. Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ” Okutukuza Atali Mulongoofu Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo. Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge. Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu. Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo. Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa. Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi. Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo. “Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu. Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako. “Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu. Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu. “Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. “Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi. Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe. Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu. Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.” Amazzi Okuva mu Lwazi Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa. Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda! Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!” Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.” Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa. Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.” Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu. Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti, “Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo. “Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.” Naye Edomu n’addamu nti, “Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.” Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti, “Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.” Naye Edomu n’addamu nti, “Temuyitawo.” Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira. Okufa kwa Alooni Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, “Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.” Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu. Yaladi Kizikirizibwa Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma. Omusota Ogw’Ekikomo Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.” Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu. Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti, “Zakabu ne Sufa, n’ebiwonvu bya Alunoni, n’obuserengeto bw’ebiwonvu ebituuka ku kibuga kya Ali, ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.” Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.” Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti, “Weetale, ggwe Oluzzi! Muluyimbirire! Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima, abakungu n’abantu lwe baayiikuula, abakungu, emiggo gyabwe.” Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu. Sikoni Awangulwa Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti, “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.” Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni. Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti, “Mujje e Kesuboni kizimbibwe; ekibuga kya Sikoni kizzibwewo. “Omuliro gwafuluma mu Kesuboni, ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni. Gwayokya Ali ekya Mowaabu, n’abatuula mu nsozi za Alunoni. Zikusanze, gwe Mowaabu! Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi! Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu ne bawala be, ng’abawambe. “Naye tubawangudde Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni. Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa, kwe kutuukira ddala ku Medeba.” Ogi Awangulwa Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli. Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei. Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.” Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu21:35 Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).. Ensi ye ne bagirya. Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira. Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti, “Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.” Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma. Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu. Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ” Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.” Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.” Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.” Katonda Akkiriza Balamu Okugenda Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ” Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.” Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.” Endogoyi ya Balamu Eyogera Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo. Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba. Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?” Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.” Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.” Malayika Alabula Balamu Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama. Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.” Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.” Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki. Balamu Akyalira Balaki Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?” Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali22:41 Bamosi Baali Kitegeeza omununuzi. Ye yali lubaale wa laddu mu bantu abaabeeranga mu Busuuli ne mu Kanani., n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi. Okulagula kwa Balamu Okusooka Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto. Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera. Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.” Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.” N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. Balamu n’alagula nti, “Balaki ye yanzigya mu Alamu, kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba. N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo; jjangu oboole Isirayiri.’ Nnyinza okukolimira abo Katonda batakolimidde? Nnyinza okuboola abo Mukama Katonda baatabodde? Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi mbalengera nga nsinziira ku nsozi. Ndaba abantu abeeyawuddeko abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga. Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri? Leka nfe okufa okw’omutuukirivu, n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!” Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!” N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?” Okulagula kwa Balamu Okwokubiri Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.” N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto. Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.” Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.” N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?” Bw’atyo n’alagula nti, “Golokoka, Balaki, owulirize; mpulira, mutabani wa Zipoli. Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza? Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa; agabye omukisa, era siyinza kukikyusa. “Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo, tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri. Mukama Katonda waabwe ali nabo; eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo. Katonda ye yabaggya mu Misiri, balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko. Tewali bulogo ku Yakobo, tewali bulaguzi ku Isirayiri. Kiryogerwako ku Yakobo ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’ Abantu basituka ng’empologoma enkazi, beezuukusa ng’empologoma ensajja etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.” Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!” Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?” Okulagula kwa Balamu Okwokusatu Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.” Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu. Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.” Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto. Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, n’alagula nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso, okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna, eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula: “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo, ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri! “Byeyaliiridde ng’ebiwonvu, ng’ennimiro ku mabbali g’omugga, ng’emigavu egisimbiddwa Mukama ng’emivule egiri okumpi n’amazzi. Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi. “Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga. “Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko. Basaanyaawo amawanga g’abalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa n’obusaale bwabwe. Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!” Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.” Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.” Okulagula kwa Balamu Okwokuna N’alagula bw’ati nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso, okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula. “Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bw’abatabani ba Seezi. Edomu24:18 Edomu Abayedomu bazzukulu ba Esawu. aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi. Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.” Okulagula kwa Balamu Okusembayo Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.” N’alaba Abakeeni, n’alagula nti: “Ekifo kyo w’obeera wagumu, ekisu kyo kiri mu lwazi naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bw’alibatwala mu busibe.” Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola? Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu; birifufuggaza Asuli ne Eberi24:24 Eberi ye jjajja w’Abaebbulaniya (1By 1:25-27)., naye nabyo birizikirira.” Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage. Isirayiri Asinza Bakatonda Abalala mu Sitimu Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu, abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako. Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.” Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.” Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma. N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Mukama n’agamba Musa nti, “Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo. Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe. Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ” Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni. N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani. Mukama n’agamba Musa nti, “Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta, kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.” Okubala Abantu Okwokubiri Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, “Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.” Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri: Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki; abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu; abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni; abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730). Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna. Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri; abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini; abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera; abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200). Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni; abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi; abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni; abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni; abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri; abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi; abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani. Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera; abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera. Bazzukulu ba Pereezi be bano: abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500). Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva; abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu; abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300). Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi; abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni; abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500). Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu. Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi. Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi. Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri, abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki; abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri, abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu: abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida; abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi. Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700). Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera; abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri; abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani. Bano be bazzukulu ba Susera: abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera; abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu; abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu. Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda; abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600). Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani. Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400). Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna; abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi; abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya. Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino: abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi; abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri. Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri, abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri; abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu. Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400). Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730). Okugabanya Ensi Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.” Okubala Abaleevi Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali: abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni; abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi; abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali. Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi: olunyiriri lw’Ababalibuni, olunyiriri lw’Abakebbulooni, olunyiriri lw’Abamakuli, olunyiriri lw’Abamusi, n’olunyiriri lw’Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu. Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama. Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana. Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Abawala ba Zerofekadi Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, “Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.” Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. Mukama n’agamba Musa nti, “Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe. “Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ” Yoswa Alondebwa Okusikira Musa Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini. Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.” Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo27:18 alimu omwoyo obuyinza Katonda bw’awa omuntu okukola n’obumalirivu, omusseeko omukono gwo. Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.” Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ekiweebwayo Ekya buli Lunaku Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’ Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku. Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi; nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni. Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama. Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu. Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’  Ebiweebwayo eby’oku Ssabbiiti “Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. Ekiweebwayo ng’Omwezi Gwakaboneka “Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo. Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda. Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka. Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda. Embaga ey’Okuyitako “Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri; ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu. Munaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza. Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya. Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana. Embaga ey’Ebibala Ebibereberye “Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu; ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza. Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.” Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere “Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra “Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako. Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira “Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. “Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa. “Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. “Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. “Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.” Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa. Amateeka ku Bweyamo Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde: Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza. “Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri. Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri. Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza. “Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza, bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri. Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo. “Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri. “Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza, bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo. Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga. Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza. Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako. Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.” Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe. Okutta Abamidiyaani Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.” Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani. Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.” Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo. Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago. Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja. Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala. Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi. Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna. Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo; ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko. Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira. Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo. Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse? Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama. Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja. Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere. “Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu. Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.” Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda ly’alagidde Musa: Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago. Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.” Okugabana Omunyago Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo. Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina. Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi. Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda. Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.” Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000). Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000). Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500); ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675). Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72). Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61). Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32). Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo, ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500); Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000); Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500); n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ebiweebwayo by’Abakulembeze b’Eggye Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa, ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo. Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.” Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna. Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda. Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe. Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda. Ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi Bituula mu Gireyaadi Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.” Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.” Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano? Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde? Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi. Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti, ‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi32:12 Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu., ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’ Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera. “Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri! Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.” Ebika Ebirala Bigabana ku Bugwanjuba bwa Yoludaani Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.” Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo, ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge, n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama. “Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa. Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.” Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde. Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi. Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.” Ekitundu ky’Ekika kya Manase kisigala mu Gireyaadi Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri. Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe. Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.” Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bw’atugambye. Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogw’obutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.” Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde. Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri, ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka; ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe. Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu, ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala. Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu. Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo. Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri. Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye. Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Bino bye bitundu ebyo: Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga. Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi. Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira. Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli. Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala. Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo. Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu. Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini. Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka. Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi. Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako. Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi. Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava. Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi. Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma. Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi. Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna. Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa. Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa. Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi. Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada. Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi. Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi. Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera. Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka. Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona. Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi. Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani. Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada. Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa. Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona. Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba. Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini. Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola. Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja. Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona. Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni. Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi. Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu. Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi. Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu. Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo. Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu. Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri. “Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.” Ensalo za Kanani Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo: “ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene. Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba. Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono. Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ” Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.” Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi. “Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda. Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni. Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini. Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani. Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu. Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni. Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali, ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri, ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.” Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri. Ebibuga by’Abaleevi Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo. Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa. “Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano. Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga. Ebibuga eby’Okuddukirangamu “Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri. Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro. Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.” Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani, mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga. Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga35:12 Omuwoolezi w’eggwanga Yabanga waaluganda wakumpi ddala., omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina. Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro. Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro. Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’ “ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala. Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga. Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta, oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye. “ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba, oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya; kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali. Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa. “ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira, omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu. Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka. Amateeka ku Bujulizi n’Okununula “ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga. Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka. “ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa. “ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa. “ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo. Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ” Okufumbirwa kw’Abasika Abakazi Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri. Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala. Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako. Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.” Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu. Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe. Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe. Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe. Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.” Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe. Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe. Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.