- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Mikka
Mikka
Mikka
Mi
Ekitabo Ekiyitibwa
Mikka
Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
Muwulire mmwe abantu mwenna,
muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
ng’alina by’abalumiriza.
Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
Si Yerusaalemi?
“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
Okukaaba n’Okukungubaga
Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
ne ku Yerusaalemi yennyini.
Omulabe Asemberera Yerusaalemi
Temukibuulira mu Gaasi,
temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
mu Besuleyafula.
Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
kubanga tokyalinayo buddukiro.
Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
eri bakabaka ba Isirayiri.
Mmwe abantu b’omu Malesa,
ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
alijja mu Adulamu.
Mukungubage, n’emitwe mugimwe
olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
Beegomba ebyalo ne babitwala,
ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
ne bamubbako ebyobusika bwe.
Mukama kyava agamba nti,
“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
Olwo abantu balikusekerera;
Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
aligabanyaamu ettaka ku bululu.
Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
tewali kabi kagenda kututuukako.”
Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
Bakazi b’abantu bange mubagoba
mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
oguva eri Katonda.
Muyimuke mugende,
kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
“Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
ekifo kirijjula abantu.
Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
Mukama alibakulembera.”
Ekibi kya Isirayiri
Ne ndyoka ŋŋamba nti,
“Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,
mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.
Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
ne mubaggyako ennyama ku magumba?
Mulya ennyama yaabwe,
ne mubabaagako eddiba,
amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
eneefumbibwa mu nsaka.”
Balikoowoola Mukama,
naye talibaanukula.
Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge
olw’ebibi bye bakoze.
Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Bannabbi ababuzaabuza abantu
balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
Abalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”
Naye nze, nzijjudde amaanyi
n’Omwoyo wa Mukama,
okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
olw’ekibi kya Isirayiri.
Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
“Mukama tali naffe?
Tewali kinaatutuukako.”
Noolwekyo ku lwammwe,
Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
Aliramula amawanga
atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
Newaakubadde nga amawanga gonna
galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Isirayiri Ewona Obusibe
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndikuŋŋaanya abalema,
n’abo abaawaŋŋangusibwa
n’abo abali mu nnaku.
Abalema ndibafuula abalonde,
n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,
ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,
ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira,
n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
okuva mu mukono gw’omulabe.
Kyokka kaakano amawanga mangi
gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
Naye tebamanyi
birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,
kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;
ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo
era olibetenta amawanga mangi.”
Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,
n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
Omufuzi Ava mu Besirekemu
Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
balimukuba omuggo ku luba.
“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
ng’ensi tennabaawo.”
Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
eri bannaabwe mu Isirayiri.
Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
mu maanyi ga Mukama,
mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
n’abakulembeze munaana.
Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
bw’alitulumba mu nsi yaffe
era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
oba abaana b’abantu.
Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
ne wataba n’omu aziwonya.
Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndizikiriza embalaasi zo
ne nsanyaawo n’amagaali go.
Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
Obulogo bwo ndibumalawo
era toliddayo kukolima nate.
N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
be mwekoledde n’emikono gyammwe.
Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
ebibuga byammwe n’embizikiriza.
Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
n’obusungu n’ekiruyi.”
Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,
“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
n’obusozi buwulire bye mugamba.
“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
era agenda kuwawabira Isirayiri.
“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
Nabaggya mu nsi ye Misiri
ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
Mmwe abantu bange mujjukire
ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.
“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,
n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
Abagagga baakyo bakambwe
n’abatuuze baamu balimba
n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,
nkumalewo olw’ebibi byo.
Onoolyanga, naye n’otokutta,
era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.
Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka
kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
Olisiga naye tolikungula,
oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,
olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
era olibaako ekivume ky’amawanga.”
Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
Tewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.
Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
Olwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
Ensi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
Okusaba n’Okutendereza
Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
Balirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.