- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 Ebyabaleevi Ekitabo Ekiyitibwa Ebyabaleevi Ebyabaleevi Lv Ekitabo Ekiyitibwa Ebyabaleevi Etteeka ery’Ekiweebwayo Ekyokebwa Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’ “Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8) nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama. Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. “Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. “Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke “ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane, n’alyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, n’abwokya mu kyoto ng’ekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. “ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni. Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto. Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekizimbulukusa n’Omunnyo “ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo2:13 omunnyo Omunnyo guyamba emmere obutavunda.: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo. “ ‘Bw’onooleetanga eri Mukama ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe “ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. “ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro. “ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama. “ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ” Etteeka ery’Ekiweebwayo nga Kabona y’Ayonoonye Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga. “ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo. Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye “ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango. Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama. Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto, n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa. Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna. Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Omufuzi Ayonoonye “ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi ensajja etaliiko kamogo. Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi. Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa. Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Abantu Abaabulijjo “ ‘Omuntu yenna owabulijjo bw’anaayonoonanga nga tagenderedde, n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi enkazi etaliiko kamogo, olw’ekibi ekyo ky’akoze. Anaakwatanga ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyo olw’ekibi, n’akittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa. Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga. “ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo. Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga. Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi “ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango. “ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu. Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye. Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu “ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa. Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko; anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga. “ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa5:11 efa yenkanankana liita nga bbiri eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ” Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Omusango Mukama n’agamba Musa nti, “Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango. Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga. “Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango. Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.” Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne, oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona, bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula, oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango. Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.” Ebiweebwayo Ebyokebwa Mukama n’agamba Musa nti, “Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna. Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ng’asooseemu eby’omunda ebya bafuta ku mubiri gwe, n’addira evvu eriri mu kyoto ery’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, n’alissa wabbali w’ekyoto. Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, n’ayambala ebyambalo ebirala, n’asitula evvu n’alitwala ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu eky’emikolo ng’egyo. Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ng’akitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe. Omuliro gunaasigalanga gwaka ku kyoto ebbanga lyonna; teguuzikirenga. Ebiweebwayo eby’Emmere ey’Empeke “Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulungi obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’amafuta gaako ag’omuzeeyituuni n’obubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, n’akyokya ku kyoto nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango. Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.” Mukama n’agamba Musa nti, “Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi. Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga. Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.” Ebiweebwayo olw’Ekibi Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo. Kabona anaakiwangayo olw’ekibi y’anaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu. Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi. Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo. Naye ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu olw’okwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga. Ebiweebwayo olw’Omusango “ ‘Bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kitukuvu nnyo. Ekiweebwayo olw’omusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda, ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olw’omusango. Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo. Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga. Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo. Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga. Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu. Ebiweebwayo olw’Emirembe “ ‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama. “ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta. Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa. Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo. Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo. “ ‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera. Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro. Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango. “ ‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako. Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu be. Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’ ” Okulya Amasavu n’Omusaayi Kugaanibwa Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba ag’endiga, oba ag’embuzi. Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako. Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi n’akatono, ne bwe gunaabanga ogw’ebinyonyi oba ogw’ensolo. Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’ ” Omugabo gwa Bakabona Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo. Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa. Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be. Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe. Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe. Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.” Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be. Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna. Eryo lye tteeka n’ebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, n’ebiweebwayo olw’okwawulibwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi. Okwawulibwa kwa Alooni ne Batabani be Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.” Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi. N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza. N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula. N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza. N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza. Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ebiweebwayo olw’ekibi n’Ebiweebwayo Ebyokebwa olwa Bakabona Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra. Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto. Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa. Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto. Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu. Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ekiweebwayo olw’Okwawulibwa kwa Bakabona Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo. Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo. Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula. N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo; n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo; ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa. Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ennaku ez’Okwawulibwa Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe. Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. Mukama alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa. Ekiweebwayo olwa Bakabona Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.” Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira. Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Ekiweebwayo olw’Abantu Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya. Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa, nga Musa bwe yalagira. Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka. Okufa kwa Nadabu ne Abiku Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye. Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda. Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti, “ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu eri abo abansemberera, era nassibwangamu ekitiibwa abantu bonna.’ ” Alooni n’asirika busirisi. Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba. Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro. Era temuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira. Bakabona bye Basaana Okwegendereza Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.” Etteeka ery’Okulya Emmere Entukuvu Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa. Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri. Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.” Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti, “Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda. Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.” Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?” Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira. Etteeka ku Bisolo Ebirongoofu Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi. Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu. Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu. N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu. Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga. Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli. Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli. “Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo. Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli. Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo. Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli. “Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi, kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri, ne namuŋŋoona owa buli ngeri; maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri, ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu, ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega, kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira. “Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli. Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka. Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri. Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli. Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli. “Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri; anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu. Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga. Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga. Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu. Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli. Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu. Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu. Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli. “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga. Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo. Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu. Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. “Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka. Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.” Okutukuzibwa Oluvannyuma lw’Okuzaala Mukama n’agamba Musa nti, “Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga. Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko. Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. “ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala. “ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala. Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ” Amateeka ku Ndwadde Ez’oku Lususu Ezikwata Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona. Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu. Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bw’anaasanganga ng’awazimbye teweeyongedde, era nga n’obulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu. Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto. Kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge. Amateeka g’Ebigenge ne kwe Bitegeererwa “Omuntu yenna bw’anaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona. Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde, ebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu. “Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba, kale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ng’ebigenge bibunye omubiri gw’omuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bw’ali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu. Naye ku lususu lw’omuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu. Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge. Naye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona. Kabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu. “Omuntu bw’anaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona, kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona. Kabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute. Naye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. Naye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu, ebyo nga bigenge. Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu. “Singa wabaawo ku lususu lw’omuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru, kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge. Naye kabona bw’anaakeberanga awo awayidde, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge. Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro. “Omusajja oba omukazi bw’anaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu, kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu. Kabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu, omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu. Naye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ng’amaze okulongooka, kabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu. Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu. “Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe, kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu. “Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu. Era omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ez’omu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata eky’omu bwenyi, kyokka nga mulongoofu. Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi. Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri, omuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bw’atali mulongoofu, olw’obulwadde obwo mu mutwe gwe. “Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’ Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira. Ebigenge mu Byambalo “Obulwadde bw’ebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo by’omusajja oba eby’omukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya by’endiga oba mu bafuta oba maliba, oba mu nfunyiro ne mu ntabiro z’ebyambalo by’ebyoya by’endiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba; era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona. Kabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu. Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro. “Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo. Naye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa. Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde. Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.” Eryo lye tteeka ery’obulwadde bw’ebigenge mu byambalo by’ebyoya by’endiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu. Abagenge Okufuulibwa Abalongoofu Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona. Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge14:3 ebigenge Mu Lwebbulaniya, kiyinza okutegeeza n’endwadde endala ez’olususu bumuwonyeeko, kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu. Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu w’amazzi amalungi agali mu luggyo. Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi. Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde w’ebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga n’ekibuuka n’ekigenda. Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye. Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu. “Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita. Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda. Kabona anaddiranga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga ku lukugiro lw’okutu kw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali Mukama. Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa, n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu. “Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni; n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa. Ebyo byonna eby’okumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olw’omunaana, ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awali Mukama. Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama. Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali Mukama. Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, n’agasiiga ku mutwe gw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri Mukama. Era anaawangayo, ng’obusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento, ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama. Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.” Ebigenge mu Mayumba Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo, kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga n’ategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ng’omuli obulwadde.’ Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera. Anaanoonyanga obulwadde we buli; bw’anaabusanganga ku bisenge by’ennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge, olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba eyo, kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. Era anaalagiranga ebisenge byonna eby’omu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu. “Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya, kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanye mu nnyumba, ng’ebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu. Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. Ennyumba eyo bw’eneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera ky’eneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N’omuntu yenna anaasulanga mu nnyumba eyo oba anaaliirangamu, anaayozanga engoye ze. “Naye kabona bw’anajjanga n’akebera mu nnyumba eyo ng’emaze okukubibwako omusenyu, n’asanga ng’obulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ng’ennyumba eyo bw’eri ennongoofu, kubanga olwo ng’obulwadde bugenze. Okufuula ennyumba ennongoofu kabona anaddiranga ebinyonyi bibiri n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ekiwero ekimyufu n’ezobu. Anattiranga ekimu ku binyonyi mu mazzi amalungi mu kibya eky’ebbumba. Awo anaddiranga akabaawo k’omuti omwerezi n’ezobu, n’ekiwero ekimyufu, n’ekinyonyi ekikyali ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, n’alyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu. Ennyumba anaagifuulanga ennongoofu n’omusaayi gw’akanyonyi, n’amazzi amalungi, n’akanyonyi akalamu, n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ezobu n’ekiwero ekimyufu. Awo n’afulumya ekinyonyi ekiramu ebweru w’ekibuga n’akiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.” Ago ge mateeka aganaagobererwanga ku bulwadde bw’ebigenge, omubiri ogusiiwa, ebigenge mu ngoye oba mu nnyumba, oba okubutukabutuka, oba obutulututtu, okusinziirako okutegeera obanga ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Ago ge mateeka ku bigenge. Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Basajja Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu. Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo. “Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu. Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu, era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi. “Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu. Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama. “Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi. Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi. Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Bakazi “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu. “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu. “Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama eri wakati mu bo. “Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja; ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.” Omukolo ogw’Okutangiririra Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama. Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira. Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa. Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala. Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa. “Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge. Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango. Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona. Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira. Ekiweebwayo olw’Ekibi ekya Kabona n’Abantu “Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi. Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi. Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa. Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira. “Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo. Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. Mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto. Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri. Embuzi Esibibwako Omusango “Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu. Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo. Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu. “Alooni anaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo. Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre. Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto. “Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga. Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. Olunaku olw’Okutangiririra “Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna. Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu, n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna. “Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.” Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Etteeka ku Biweebwayo Ebitali bya Bulijjo Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama ky’alagidde: Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo eky’ente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira, nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe. Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda. Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya17:7 eby’obwamalaaya Katonda ageraageranya okusinza ebitali ye, ku kukola ebikolwa eby’obwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo. “Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna, nga takireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. “Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne. Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu. Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi. “Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne. “Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu. Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.” Okusula n’Omukazi mu Ngeri Emenya Amateeka Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe. Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe. Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe. Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda wammwe. “ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama. “ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu. “ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa. “ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu. “ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu. “ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu. “ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu. “ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu. “ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto. “ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu. “ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu. “ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene. “ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu. “ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu. “ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu. “ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama. “ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo. “ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala. “ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu; n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema. Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu. Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu. “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe. Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ” Obutukuvu n’Enneeyisa y’Omuntu Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu. “Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe. “Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. “Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe. “Tobbanga. “Tokumpanyanga. “Temulimbagananga. “Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. “Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. “Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula. “Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama. “Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya. “Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno. “Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama. Etteeka ku Kwagala “Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye. “Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama. “Okwatanga amateeka gange. “Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo. “Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri. “Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri. “Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye. Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri Mukama eky’omusango. Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga. “Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga. Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza. Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe. “Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi; “so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula. “Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga. “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama. “Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona. “Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama. “Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe. “Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama. “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri. “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.” Ebibonerezo olw’Ekibi Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja. Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu. Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki. “ ‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne. “ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe. Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza. “ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe. “ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako. “ ‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga. “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. “ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana. Ekiragiro eky’Okubeeranga Abatukuvu “ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema. Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo. Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala. “ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu. Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange. “ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ” Obutukuvu bw’Obwakabona Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be, wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu. Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe. Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu. Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe. Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu. Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro. “Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye. Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina. Era n’ekifo kya Katonda we ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda. Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be; aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.” Bakabona Abaliko Akamogo Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we. Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu; oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala, oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi. Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we. Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we; naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.” Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna. Bakabona n’Obutukuvu bw’Ebiweebwayo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda. Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda. Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo, oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana. Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi. Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye. Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama. Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza. “Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo. Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo. Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona. Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama, nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.” Ebiweebwayo Ebitakkirizibwa Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe. Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga. Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo. Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo. Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe, wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.” Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro. Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu. Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa. Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda. “Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda. Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe, era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.” Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu. Ssabbiiti “Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda. Okuyitako n’Emigaati Egitali Mizimbulukuse “Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo: Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa. Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo. Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.” Embaga ey’Ebibala Ebibereberye Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye; naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti. Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo. N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa23:13 Efa Ze liita nnya n’ekitundu, eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo. Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga. Embaga eya Pentekoote “Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu. Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa. Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ez’obuwunga obulungi, nga bufumbiddwa n’ekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa eky’ebibala ebibereberye. Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe. Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga. Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga. “Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.” Embaga ey’Amakondeere Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka. Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.” Olunaku olw’Okutangiririrwa Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda. Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda wammwe. Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne. Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza. Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga. Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.” Embaga ey’Ensiisira Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu. Ku lunaku olw’olubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo. Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo. “Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku. Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde. “Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula. Ku lunaku olw’olubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira n’amatabi g’enkindu, n’amatabi ag’emiti agaziyidde n’ebikoola ebigimu, n’emiti egy’oku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu. Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu. Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa ab’omu Isirayiri banaasulanga mu busiisira, bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.” Bw’atyo Musa n’alangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde. Amafuta ag’Omuzeeyituuni n’Emigaati egy’Okulaga Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako. Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja. Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako. “Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa24:5 Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu. Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.” Avvoola wa Kuttibwanga Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira24:10 Mu kuva e Misiri, waaliwo bannaggwanga abeegatta ku Bayisirayiri (Kuv 12:38) era baali kyakulabirako kibi eri Abayisirayiri (Kbl 11:4). Noolwekyo kino kireeta Essuula empya ku biragiro ebikwata ne ku bannaggwanga. Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa. Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja. Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo. Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga Erinnya24:16 Erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. “Anattanga omuntu naye anattibwanga. Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo. Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga. Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.” Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa. Omwaka gwa Ssabbiiti Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti. Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula. Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga. Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe; era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere. Omwaka ogw’Okujaguza Jjubiri “Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna. Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri25:10 Jjubiri kitegeeza buwanguzi gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye. Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire. Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro. “Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini. Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga. Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala. Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi. Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe. “Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe. Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe. Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’ Mu mwaka ogw’omukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu. Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda. Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze. Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze. Okununula Ebintu “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga, n’atunda ebimu ku bintu bye, muganda we ow’okumpi mu luganda anajjanga n’anunula ebyo munnansi munne by’atunze. Omuntu bw’anaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ng’agaggawadde, era ng’afunye obusobozi obw’okubinunula, anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye. Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye. “Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula. Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri. Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri. “Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini. Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi. Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera. Etteeka ery’Okuwola Ensimbi “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe. Okununula Abaddu “Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe. Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi. Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe. Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe. “Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga, anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula: Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula. Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera. Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula. Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula. Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba. “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe. Emikisa Egiva mu Buwulize “Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe. Mukwatenga Ssabbiiti zange, era n’ebifo byange ebitukuvu mubissengamu ekitiibwa. Nze Mukama Katonda. “Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange n’obwegendereza, nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. Munaawuulanga okutuusa ku makungula g’emizabbibu, n’okukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera eby’okusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe. “Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo. Munaawonderanga abalabe bammwe ne mubatta n’ekitala ne mubawangula. Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe n’ekitala. “Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga. Munaabanga mukyalya ku makungula ag’omwaka oguyise ne mugafulumya olw’amakungula amaggya. Ekifo kyange eky’okubeeramu nnaakiteekanga mu mmwe, era omutima gwange teguubatamwenga. Nnaatambuliranga mu mmwe, era nnaabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, mulyoke mukome okuba abaddu b’Abamisiri; namenya ebikoligo byammwe ne mbasobozesa okutambula nga mwesimbye. Ebibonerezo Ebiva mu Bujeemu “Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna, era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. Ndibeefuukira, abalabe bammwe n’okubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka n’okudduka so nga tewali abagoba. Oluvannyuma lw’ebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olw’ebibi byammwe. Amalala gammwe n’emputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ng’ekyuma, n’ettaka ne likaluba ng’ekikomo. Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egy’omu nsi yammwe okubala ebibala byagyo. “Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana. Era ndibasindikira ensolo ez’omu nsiko, ezinaalyanga abaana bammwe, ne zizikiriza ente zammwe n’omuwendo gwammwe ne gukendeera, nga n’enguudo zammwe tewakyali azitambuliramu. “Era okukangavvula okwo bwe kutaabakyusenga kudda gye ndi, naye ne mweyongera okujeema, kale, nange ndibalaga obukambwe, era nze kennyini ndibeebonerereza emirundi musanvu olw’ebyonoono byammwe. Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olw’okumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era n’abalabe bammwe banaabawangulanga. Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga. “N’ebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga; nange nnaabasunguwaliranga, nze kennyini ne mbeebonerereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe. Mulirya batabani bammwe ne bawala bammwe. Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa. Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, n’ebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era n’akaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga. Ensi yammwe ndigifuula ddungu n’abalabe bammwe abanaagibeerangamu ne bagyewuunya. Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa. Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo. Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba n’okuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako. “Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera. Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe. Mulisaanawo mu mawanga; ensi z’abalabe bammwe ziribamira. N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe. Okuzza Obuggya Endagaano “Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe n’ebyonoono bya bakitaabwe n’obunnanfuusi bwabwe gye ndi n’obujeemu bwabwe, ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe, kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka n’endagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira n’ensi yaabwe. Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange. Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe. Naye ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, be naggya mu nsi ey’e Misiri nga n’amawanga gonna galaba ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze Mukama.” Ago ge mateeka n’ebiragiro n’amateeka amakulu Mukama ge yakolera abaana ba Isirayiri, nga bwe yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi. Obweyamo eri Mukama Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bw’anaakolanga obweyamo obw’enjawulo obw’okuwaayo abantu eri Mukama naye ng’asasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bw’oti: omusajja aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’amakumi abiri n’enkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano27:3 sekeri za ffeeza amakumi ataano ze gulaamu lukaaga, nga sekeri z’omu watukuvu bwe ziba, naye bw’anaabanga omukazi onoomusaliranga sekeri amakumi asatu27:4 sekeri amakumi asatu ze gulaamu ebikumi bisatu. Omuntu aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’ettaano n’amakumi abiri, bw’anaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri27:5 sekeri amakumi abiri ze gulaamu ebikumi bibiri naye omukazi sekeri kkumi27:5 sekeri kkumi ze gulaamu kikumi mu kkumi. Bw’anaabanga omwana ng’ali wakati w’omwezi gumu n’emyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano27:6 sekeri ttaano ze gulaamu amakumi ataano mu ttaano eza ffeeza nga mulenzi, naye omuwala sekeri za ffeeza ssatu27:6 sekeri za ffeeza ssatu ze gulaamu amakumi asatu mu ttaano. Omuntu bw’anaabanga ow’emyaka egy’obukulu nkaaga n’okusingawo, omusajja onoomusaliranga sekeri kkumi na ttaano27:7 sekeri kkumi na ttaano ze gulaamu kikumi mu nsanvu n’omukazi sekeri kkumi. Omuntu eyakola obweyamo bw’anaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ng’ageraageranya obusobozi bw’oyo eyeeyama nga bwe bunaabanga. Obweyamo Obukwata ku Bisolo “Obweyamo bw’omuntu bwe bunaabeeranga obw’ekisolo ekikkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ng’ekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu. Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bw’anaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri ky’awanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu. Ensolo omuntu gy’anaabanga yeeyamye bw’eneebanga etali nnongoofu27:11 etali nnongoofu ensolo nga eŋŋamira, embalaasi, oba endogoyi, etakkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ensolo eyo esaanira okuleetebwanga eri kabona, ye alyokenga asalewo nga bw’eri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gw’anaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo. Nannyini nsolo bw’anaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo. Obweyamo Obukwata ku Nnyumba ne ku Ttaka “Omusajja bw’anaawangayo ennyumba ye okubeera entukuvu eri Mukama Katonda kabona anaagirabiranga omuwendo ogugigyamu, oba nnungi oba mbi. Omuwendo ogwo kabona gw’anaasalanga gwe gunaakolanga. Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bw’anaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ng’ennyumba emuddira. “Omusajja bw’anaawangayo ekitundu ky’ettaka lye, lye yasikira, eri Mukama Katonda, omuwendo oguligyamu gunaabalirirwanga nga gwesigamizibwa ku bungi bw’ensigo ezeetaagibwa okusiga ku ttaka eryo ne ziggweerako; ensigo za sayiri ezipimibwamu oma zinaabalirirwangamu sekeri27:16 sekeri yenkanankana gulamu kkumi n’emu n’ekitundu za ffeeza amakumi ataano. Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera by’Omwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli. Naye bw’anaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ng’agwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, n’omuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako. Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira. Naye bw’anaabanga tayagala kununula nnimiro eyo, oba bw’anaabanga agiguzizza omuntu omulala, kale ng’olwo tekyanunulibwa n’akamu. Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bw’eneeteebwanga, eneebanga ntukuvu, ng’ennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona. “Omusajja bw’anaawangayo eri Mukama Katonda ennimiro gye yagula, etali ku ttaka lye ery’obwannannyini, kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ng’ekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda. Mu mwaka gwa Jjubiri, ennimiro eneddizibwanga oyo gwe yagigulako, nga y’oyo eyali nannyini ttaka. Buli muwendo ogubalirirwa guneesigamizibwanga ku sekeri z’Awatukuvu, nga gera27:25 gera yenkanankana gulaamu lukaaga amakumi abiri zivaamu sekeri emu. Ebintu Ebiwonge “Tewabanga awaayo omwana gw’ensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana b’ensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda. Bw’anaabanga awaddeyo emu ku nsolo ezitali nnongoofu, anagisasuliranga omuwendo gwayo ogwagibalirirwamu, ng’agattako ekitundu kimu kyakutaano eky’omuwendo gwayo. Bw’ataaginunulengayo eneetundwanga omuwendo ogwagibalirirwamu. “Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda. Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa. Okununula Ebitundu Eby’ekkumi “Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda. Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo. Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda. Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.” Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yawa Musa ku lusozi Sinaayi agategeeze abaana ba Isirayiri.