- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Okukungubaga
Okukungubaga
Okukungubaga
Kgb
Ekitabo Ekiyitibwa
Okukungubaga
Yerusaalemi Kifuuse Matongo
Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
afuuse omuddu omukazi.
Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
mu nnaku ye.
Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
naye yennyini ali mu nnaku.
Abamuyigganya bafuuse bakama be;
abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
bawambiddwa omulabe.
Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
badduse ababagoba.
Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”
Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
ku lunaku lwe yasunguwalirako.
Mukama azikirizza
abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
n’abamalamu ekitiibwa.
Mu busungu obungi
amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
Mukama afuuse ng’omulabe;
azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
anyoomye kabaka ne kabona.
Mukama atamiddwa ekyoto kye,
n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
Mukama yamalirira okumenya
bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
byonna ne biggweerera.
Emiryango gye gisse mu ttaka,
n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
kwolesebwa kuva eri Mukama.
Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
bakotese emitwe gyabwe.
Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
mu bifuba bya bannyaabwe.
Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
Kaabirira Mukama
n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
maaso go kuwummula.
Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
mu watukuvu wa Mukama?
“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
era obasse awatali kusaasira.
“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
omulabe wange be yazikiriza.”
Nze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
Angobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
era amenye n’amagumba gange.
Antaayizza n’anzijuza
obulumi n’okubonaabona.
Antadde mu kizikiza
ng’abafu abaafa edda.
Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
ansibye enjegere ezizitowa.
Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
okusaba kwange akuggalira bweru.
Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
era akyamizza amakubo gange.
Ng’eddubu bwe liteega,
n’empologoma bwe yeekweka
yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
n’andeka awo nga sirina anyamba.
Yanaanuula omutego gwe,
n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
Yafumita omutima gwange
n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
Anzijuzza ebikaawa
era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
anninnyiridde mu nfuufu.
Emmeeme yange terina mirembe,
n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
mu buvubuka bwe.
Atuulenga yekka mu kasirise
kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
era amalibwe n’okuvumibwa.
Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
ebbanga lyonna.
Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
Tagenderera kuleeta bulumi
newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
Mukama akkiriziganya
n’okulinnyirira abasibe,
n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
Mukama nga takiragidde?
Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
Weebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
Otufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.
“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
Abalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
amazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.
“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
Walaba bwe bampalana,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
bye bantesaako obudde okuziba.
Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
n’ekikolimo kyo kibabeereko.
Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
Zaabu ng’ettalazze!
Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
buli luguudo we lutandikira.
Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
Ebibe biyonsa
abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
naye tewali n’omu agibawa.
Abaalyanga ebiwoomerera
basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
bali ku ntuumu ez’ebisasiro.
Ekibonerezo ky’abantu bange
kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
nga tewali n’omu azze kukibeera.
Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
era banyirivu nga safiro.
Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
lukaze ng’ekiti ekikalu.
Abafa ekitala bafa bulungi
okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
olw’obutaba na mmere mu nnimiro.
Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
abantu bange bwe baazikirizibwa.
Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
ogwayokya emisingi gyakyo.
Bakabaka b’ensi
n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
mu wankaaki wa Yerusaalemi.
Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
gw’abatuukirivu abaababeerangamu.
Badoobera mu nguudo
nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
“Tebakyasaana kubeera wano.”
Mukama yennyini abasaasaanyizza,
takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
Amaaso gaffe gakooye
olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
eggwanga eriyinza okutulokola.
Baatucocca
ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.
Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
ne batuteegera mu ddungu.
Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
ne tubeeranga mu mawanga.
Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
n’otamiira ne weeyambula.
Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
Tunula olabe ennaku yaffe.
Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
Tusasulira amazzi ge tunywa;
n’enku tuteekwa okuzigula.
Abatucocca batugobaganya;
tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
okutufuniranga ku mmere.
Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
Abaddu be batufuga,
tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
olw’ekitala ekiri mu ddungu.
Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
olw’enjala ennyingi.
Abakyala ba Sayuuni,
n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
n’abavubuka tebakyayimba.
Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
Zitusanze kubanga twonoonye!
Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
ebibe kyebivudde bitambulirako.
Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
otuzze buggya ng’edda;
wabula ng’otusuulidde ddala,
era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.