- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Yoswa
Ekitabo Ekiyitibwa Yoswa
Yoswa
Yos
Ekitabo Ekiyitibwa
Yoswa
Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti, “Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri1:2 Mu biro ebyo Abayisirayiri baali mu Sittimu (2:1) mu nsi y’e Mowaabu ([Ma 34:3]) okumpi ne Yoludaani.. Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo. Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba. Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe. Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga. Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”
Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti, “Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”
Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, “Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika. Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa. Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Abakessi Baweerezebwa e Yeriko
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko2:1 Yeriko Kyali kibuga kya dda nnyo nga kiriko ebigo eby’amaanyi nga kiri kilomita munaana mu bugwanjuba bwa Yoludaani. Mwalimu emigga mingi nga kiriko ne bbugwe ow’amaanyi. Abatuuze baamu baasobolanga okwewanirira mu biseera eby’ekyeya okumala ebbanga ddene ddala. Noolwekyo kyali kifo kikulu nnyo awayingirwa mu Nsi Ensuubize..” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo. Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye. Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”
Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava. Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.” So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa. Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.
Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”
Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa. Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.” Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe. Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.” Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.
Abakessi Beddirayo Ewaabwe
Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa, ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda. Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
Abayisirayiri Beeteekerateekera Okusomoka Omugga Yoludaani
Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”
Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.” Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.
Mukama Asuubiza Yoswa
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”
Mukama Ayisa Abayisirayiri mu Mugga Yoludaani
Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko y’Endagaano. Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
Amayinja Ekkumi n’Abiri ag’Ekijjukizo
Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti, “Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa. Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.
Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro. Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso. Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba, bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga Mukama Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko. Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.
Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.” Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.” Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo. Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko. Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali. N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano, mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’ Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”
Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.
Yoswa Akomola Abayisirayiri
Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama. Mukama kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.
Abayisirayiri Bakwata Okuyitako e Girugaali
Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.
Yoswa Asisinkana Omukulu w’Eggye lya Mukama
Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, “Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.
Ekibuga Yeriko Kizingizibwa
Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”
Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”
Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.
Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.
Okugwa kwa Yeriko
Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”
Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.
Lakabu Atalizibwa
Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. Yoswa n’alayira nti,
“Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.
Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.
Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,
alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”
Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.
Abayisirayiri Balinnyibwa ku Nfeete mu kibuga Ayi
Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.
Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde. Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono! Ayi Mukama, sonyiwa omuddu wo. Isirayiri alumbiddwa abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano! Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka? Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba. Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.
“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu. Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya Mukama n’avumaganya Isirayiri.’ ”
Akani Akubwa Amayinja
Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda: n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye: ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.
Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.”
Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri Mukama Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola. Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali7:21 Sinaali Mu Lwebbulaniya, Sinaali kyekimu ne Babulooni. n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”
Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka. Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli. Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba Mukama ky’anaakukola.”
Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro. Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.
Enteekateeka y’Okufufuggaza ekibuga Ayi
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Totya era tokeŋŋentererwa, ddira abasajja bonna abalwanyi mulumbe ekibuga Ayi kubanga mbawadde obuwanguzi ku kyo. Kabaka, n’abantu be, ne byonna ebiri mu kibuga Ayi mbibawadde. Ayi ne kabaka waakyo mu bayise nga bwe mwakola Yeriko, omunyago gwonna okuva mu Ayi ngubawadde. Mwekukume muteegere emabega w’ekibuga.”
Yoswa n’asituka n’eggye lyonna okulumba Ayi, n’alondamu abasajja abalwanyi abazira nnamige emitwalo esatu n’abasindika kiro okulumba Ayi. N’abakuutira nti, “Mugende mwekukume kumpi n’ekibuga era muteegere abantu baamu emabega waakyo. Temugenda wala nakyo mwenna mube beetegefu. Nze n’abalwanyi abalala tujja kwolekera ekibuga, bwe banaatufubutula ng’olulala, tujja kuddukira ddala tubatwalirize ewala okuva ku kibuga, tubalowoozese nti, tubadduse. Ffe tujja kuddukira ddala tubabuleko. Olwo mulyoke mufubutuke gye mwekwese, muwambe ekibuga kubanga Mukama ajja kukibawa mukiwangule. Kasita mukiyingira nga mukikumako omuliro. Mukole nga Mukama bw’alagidde. Ebyo bye mbakuutidde.” Yoswa n’abasindika ne bagenda beekweka wakati wa Beseri ne Ayi ebugwanjuba w’ekibuga Ayi. Ekiro ekyo Yoswa yakimala n’Abayisirayiri abalala.
Ekibuga Ayi Kiwambibwa
Yoswa yakeera nnyo mu makya ne yeekebejja abalwanyi be, oluvannyuma ye n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne boolekera Ayi. Abasajja bonna abalwanyi ne basemberera ekibuga era ne bakuŋŋaanira mu maaso g’ekibuga Ayi mu bukiikakkono bwakyo, ng’ekiwonvu kye kibaawula. Yoswa n’addira abalwanyi ng’enkumi ttaano ne bateegera wakati wa Beseri ne Ayi ebuvanjuba w’ekibuga. Ekibinja ky’abalwanyi ekisinga obunene ne kikuŋŋaanira mu bukiikakkono w’ekibuga ate ekibinja ekizibizi ne kikuŋŋaanira ebugwanjuba w’ekibuga. Naye ye Yoswa ekiro ekyo yasula mu kiwonvu.
Mu makya kabaka wa Ayi n’abantu be olwalengera Abayisirayiri ne bafubutuka okugenda okubalwanyisa awo okwolekera Alaba, naye tebaamanya nti waaliwo Abayisirayiri abalala abaali babeekwekeredde emabega w’ekibuga. Yoswa n’ekibinja ky’Abayisirayiri be yali nabo ne beefuula ng’abawanguddwa ne badduka nga boolekedde eddungu. Abantu bonna abaali mu kibuga ne bakoowoolwa okugoba Abayisirayiri, ne babagobera ddala era ne babawereekereza wala nnyo n’ekibuga. Tewali musajja n’omu yasigala mu Ayi oba Beseri, ekibuga kyonna baaleka kiggule nga bagenze okugoba Abayisirayiri.
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda gwo ng’ogwolekeza Ayi, kubanga ojja kukiwangula.” Bw’atyo Yoswa n’agalula omuwunda gwe eri Ayi. Amangwago ng’agaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro. Abasajja b’omu Ayi bagenda okukebuka ng’ekibuga kyabwe kinyooka omukka nga tebakyasobola kudda mabega wadde okugenda mu maaso. Yoswa n’abasajja be bwe baalaba nga bannaabwe beesozze ekibuga era ne bakyokya, kwe kukyukira abaali babagoba ne babatta ebitagambika. Abayisirayiri abaayokya ekibuga nabo ne bavaayo ne bafuumbikiriza abasajja b’omu Ayi ne babatta obutalekaawo n’omu. Naye ye kabaka w’e Ayi baamuwamba ne bamuleetera Yoswa.
Okutirimbulwa kwa Bannakibuga b’omu Ayi
Abayisirayiri bwe baamala okutta abantu b’omu Ayi abaali babagoberedde mu ddungu, ne balyoka bakomawo mu kibuga kya Ayi ne batta abantu bonna abaakirimu. Abasajja n’abakazi abattibwa ku olwo bonna baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri. Yoswa bwe yagalula omuwunda gwe okugwolekeza ekibuga Ayi teyagussa wansi okutuusa ng’abaamu bonna bamaze okuzikirizibwa. Ente n’ebintu ebirala bye baasanga mu kibuga, Abayisirayiri ne babitwala okuba omunyago gwabwe nga Mukama bwe yakuutira Yoswa.
Yoswa n’ayokya Ayi era ne kifuuka kifunvu ne leero. Ate n’atta kabaka wa Ayi n’amuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki w’ekibuga ne bagutuumako entuumu y’amayinja era ekyaliyo ne kaakano.
Ekyoto Kizimbwa ku Lusozi Ebali
Oluvannyuma Yoswa n’azimbira Mukama Katonda wa Isirayiri, ekyoto ku lusozi Ebali. Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, “Ekyoto eky’amayinja agataabajjibwa muntu ng’akozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Era n’awandiikira eyo ku mayinja mu maaso g’Abayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri. Abayisirayiri bonna n’abakulembeze baabwe, abalamuzi, n’abakungu ne bannaggwanga bonna ab’omu Isirayiri ne bayimirira eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko okwolekera bakabona Abaleevi abaasitulanga Essanduuko y’Endagaano ya Mukama. Ne beegabanyaamu, ekitundu ekimu ne bayimirira mu maaso g’olusozi Gerizimu, ate abalala ne bayimirira mu maaso g’olusozi Ebali, nga Musa omuddu wa Mukama bwe yabalagira mu kusooka nti, “Kibagwanidde okusabira Abayisirayiri omukisa.”
Oluvannyuma Yoswa n’abasomera ebigambo byonna eby’omu mateeka, emikisa n’ebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky’Amateeka. Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa ky’ataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja n’abakazi n’abaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.
Ab’e Gibyoni Basala Olukwe
Bakabaka baamawanga gonna agaali emitala w’omugga Yoludaani ku nsozi ne mu bikko ne ku lubalama lw’ennyanja ennene okwolekera Lebanooni; omwo nga mwe muli Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi bonna bwe baawulira ebibaddewo ne beekobaana okulwana ne Yoswa n’Abayisirayiri.
Naye abatuuze b’omu Gibyoni9:3 Gibyoni Kyali nga kilomita kkumi okuva e Yerusaalemi. bwe baawulira Yoswa ky’akoze Yeriko ne Ayi ne basala amagezi ne bateekateeka emmere n’ebyokunywa ne babissa mu bisawosawo ebikadde ebitungiriretungirire ne babiteeka ku ndogoyi zaabwe, ne bambala ebigoye ebiyulifuyulifu n’engatto entungirire, emmere yaabwe yonna yali nkalu ate nga yakukula. Ne bagenda eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba wamu n’Abayisirayiri nti, “Ffe tuva mu nsi yeewala, twagala tukole nammwe endagaano.”
Naye Abayisirayiri ne bagamba Abakiivi9:7 Abakiivi Baava mu nsi y’e Mesopotamiya. Mu 2 Samwiri bayitibwa Abamoli. nti, “Mmwe abatabeera mu ffe tukola tutya nammwe endagaano?”
Ne baddamu nti, “Ffe tuli baddu bo.” Yoswa n’abagamba nti, “Mmwe baani era muva wa?”
Ne baddamu nti, “Tuzze lwa Mukama Katonda wammwe; twawulira byonna bye yakola e Misiri, era n’ebyo bye yakola bakabaka ababiri Abamoli abaabeeranga emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w’e Kesuboni ne Ogi kabaka we Basani abaabeeranga mu Asitaloosi. Abakulembeze n’abantu b’ewaffe bonna beebaatugamba nti, ‘Mwesibire entanda mugende musisinkane Abayisirayiri mubagambe nti, “Ffe tuli baddu bammwe kale tukole nammwe endagaano.” ’ Kale laba emmere yaffe eno we twaviira eka ng’ekyayokya naye olw’olugendo oluwanvu kaakano yiino yonna nkalu era ekukudde n’okukula. Ensawo z’omwenge zino ez’amaliba zaali mpya era nga zijjudde omwenge, naye kaakano laba n’okwabika zaabise; ebyambalo n’engatto zaffe byonna byabise olw’olugendo oluwanvu lwe tutambudde.”
Abayisirayiri, awatali kumala kubuuza eri Mukama, ne bakkiriza okulya ku mmere y’abatambuze bano. Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bakola nabo endagaano y’emirembe era ne beerayirira obutabakolako kabi konna.
Ab’e Gibyoni Babonerezebwa
Nga wayiseewo ennaku ssatu ng’endagaano ewedde okukola, Abayisirayiri ne bakivumbula ng’abantu abo baliraanwa baabwe. Abayisirayiri ne bagenda okunoonyereza, ku lunaku olwokusatu ne batuuka mu bibuga by’abantu bano: Gibyoni, ne Kefira, ne Beroosi ne Kiriyasuyalimu. Naye Abayisirayiri tebatta bantu bano kubanga abakulembeze baabwe baali baamala dda okwerayirira mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri obutabatta. Abayisirayiri bonna ne beemulugunyiza abakulembeze baabwe. Naye bo abakulembeze ne bakakata nti, “Twamala dda okwerayirira mu maaso ga Mukama Katonda wa Isirayiri, tetuyinza kubatta. Tetuteekwa kubatta kubanga twalayira obutakikola, singa tukikola obusungu bwa Katonda bujja kutubuubuukirako.” Abakulembeze b’Abayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi g’Abayisirayiri ng’abakulembeze bwe babalagira.
Yoswa n’ayita abantu abo n’ababuuza nti, “Naye lwaki mwatulimba nti muli b’ewala, so nga ate muli baliraanwa baffe? Kale nno kaakano mukolimiddwa, munaabeeranga baddu, baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi mu nnyumba ya Katonda wange.”
Yoswa ne bamuddamu nti, “Abaddu bo kino twakikola lwa kubanga twawulira nti, Mukama Katonda wo yalagira omuddu we Musa okubawa ensi eno era n’okuzikiriza bonna abagibeeramu, bwe tutyo ne tutya nnyo ne twagala okuwonya obulamu bwaffe kye kyatukozeseza ekintu kino. Naye tuutuno kaakano tuli mu mukono gwo gw’omanyi eky’okutukolera.”
Bw’atyo Yoswa n’awonya abantu bano mu mukono gw’Abayisirayiri, ne batabatta. Naye okuva olwo n’abafuula baakwasanga nku n’okukimiranga Abayisirayiri amazzi, era n’okuweerezanga ku kyoto kya Mukama mu kifo Mukama ky’anaalondanga okukiteekamu. Era bwe batyo bwe bakola ne leero.
Abamoli Bawangulwa
Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo, Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi. Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, “Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”
Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.
Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”10:6 Endagaano eyo Yoswa gye yakola n’Abagibyoni yali etegeeza nga Yoswa bw’aliyamba Abagibyoni bwe baliba balumbiddwa. Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”
Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu. Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda. Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.
Enjuba Esikattira
Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,
“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde
okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.
Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.
Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba. Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.
Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.
Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda. Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.” Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume; naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”
Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo, olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.
Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.” Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.
Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.” Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.
Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
Abamoli Bazikiririzibwa Ddala
Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda, era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.
Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba. Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna. Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.
Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba. Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni, ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba. Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.
Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni10:41 Goseni Si y’omu n’oli ow’omu nsi ey’e Misiri ku Mugga Kiyira. okutuukira ddala e Gibyoni. N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.
Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.
Awo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu, ne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi ey’ensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez’e Doli ku luuyi olw’ebugwanjuba. N’atumya Abakanani ebuvanjuba n’ebugwanjuba, n’Abamoli, n’Abakiiti n’Abaperezi, n’Abayebusi mu nsi ey’ensozi, n’Abakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi ey’e Mizupa. Ne bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo. Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.
Olutalo lwe Meromu
Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”
Awo Yoswa n’abalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ez’e Meromu. Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu. Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.
Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna. Era ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo n’omu ne Kazoli n’akyokya omuliro.
Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya. Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka. Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.
Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi. Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta. Yoswa n’alumba n’alwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga. Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula, kubanga Mukama yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Mu kiseera ekyo Yoswa n’agenda n’azikiriza n’amalawo Abanaki mu nsi ey’ensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabu, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Isirayiri. Yoswa n’abazikiririza ddala, bonna n’ebibuga byabwe. Tewali Banaki baasigalawo mu nsi y’abaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu. Yoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.
Bakabaka Abaawangulwa
Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,
ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,
ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.
Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.
Kabaka w’e Yeriko |
omu, |
ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri |
omu, |
ne kabaka w’e Yerusaalemi |
omu, |
ne kabaka w’e Kebbulooni |
omu, |
ne kabaka w’e Yalamusi |
omu, |
ne kabaka w’e Lakisi |
omu, |
n’ow’e Egulooni |
omu, |
n’ow’e Gezeri |
omu, |
ne kabaka w’e Debiri |
omu, |
n’ow’e Gederi |
omu, |
n’ow’e Koluma |
omu, |
n’ow’e Yaladi |
omu, |
n’ow’e Libuna |
omu, |
n’ow’e Adulamu |
omu, |
n’ow’e Makkeda |
omu, |
n’ow’e Beseri |
omu, |
ne kabaka ow’e Tappua |
omu, |
n’owe Keferi |
omu, |
n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni |
omu, |
n’ow’e Madoni |
omu, |
n’ow’e Kazoli |
omu, |
ne kabaka w’e Simuloni Meroni |
omu, |
ne kabaka w’e Akusafu |
omu, |
n’ow’e Taanaki |
omu, |
n’ow’e Megiddo |
omu, |
n’ow’e Kedesi |
omu, |
ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri |
omu, |
ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli |
omu, |
ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali12:23 Girugaali Si y’omu ne Girugaali oli aliraanye Yeriko |
omu, |
n’ow’e Tiruza |
omu. |
|
Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu. |
Amawanga Agaali Tegannawangulwa
Awo Yoswa13:1 Yoswa yali wakati w’emyaka kyenda n’ekikumi, ate Kalebu ye ng’aweza emyaka kinaana mu etaano bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.
“Zino z’ensi ezikyaliwo:
“ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.
Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,
n’ensi y’Abagebali,
ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.
“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”
Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani
Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.
Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.
Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka. Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe. Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.
Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.
Ensi ya Lewubeeni
Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:
Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi. Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli. Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.
Ensi y’Abagaadi
Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:
Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.
Ensi y’Abamanase
Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.
N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga; n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.
Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko. Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabasuubiza.
Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani
Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali14:1 Eriyazaali Yali mutabani wa Alooni. kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe ([Lub 48:5]). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo., bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
Kalebu Afuna Kebbulooni
Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’
“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira. Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”
Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.
Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.
Ensalo za Yuda
Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.
N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.
N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.
N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.
Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.
Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.
Omugabo gwa Kalebu
Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.
Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.
Omugabo gwa Yuda
Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.
Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,
Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.
Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.
Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
Libuna n’e Eseri, n’e Asani, n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.
Ne mu nsi ey’ensozi,
Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.
Alabu, n’e Duma, n’e Esani, n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.
Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.
Mu ddungu:
Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
Omugabo gwa Yusufu, Efulayimu ne Manase
N’omugabo gw’ettaka ly’abaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olw’ebuvanjuba olw’amazzi g’e Yeriko, okutuuka mu ddungu, n’erinnya okuva e Yeriko n’eyita mu nsi ey’ensozi n’etuuka e Beseri N’eyita e Beseri okutuuka e Eruzi n’okuyita ku nsalo ey’Abaluki mu Atalosi n’okukka ku luuyi olw’ebugwanjuba ku nsalo ey’Abayafuleti ku nsalo ey’e Besukolooni eky’emmanga ku Gezeri n’ekoma ku nnyanja.
Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe.
Omugabo gw’abaana ba Efulayimu
Ettaka ly’abaana ba Efulayimu ng’enju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga;
ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Atalosuaddali n’okutuuka ku Besukolooni ey’Ekyengulu, ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Taanasi Siiro, n’olwebuvanjuba olw’e Yanoa, n’ekka ku Atalosi ne ku Naala n’ekwata ku Yeriko n’etuuka ku Yoludaani. N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali.
Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe.
Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu n’okutuusa leero nga balimu ng’abaddu nga bakola.
Omugabo gwa Manase
Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira. Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gw’abaana ba Abiyezeeri, n’ogw’abaana ba Kereki n’abaana ba Asuliyeri n’ogw’abaana ba Sekemu, n’ogw’abaana ba Keferi, n’ogw’abaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng’amaka mwe baazaalibwa bwe gaali.
Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga Mukama bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe. Bw’atyo Manase n’afuna ebitundu kkumi ng’oggyeko ensi ya Gireyaadi ne Basani ebiri emitala wa Yoludaani, kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ng’abaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala.
N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua. Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana. Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja. Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali.
Mu nsi ya Isakaali n’eya Aseri, Manase n’atwala Besuseani n’ebibuga byakyo ne Ibuleamu n’ebibuga byakyo n’abaali mu Endoli n’ebibuga byakyo n’abaali mu Doli n’abaali mu Taanaki n’ebibuga byakyo, n’abaali mu Megiddo n’ebibuga byakyo z’ensozi essatu.
Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo. Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.
Okwemulugunya kw’Abaana ba Yusufu
Abaana ba Yusufu17:14 Abaana ba Yusufu aboogerebwako wano b’ebika bya Efulayimu ne Manase. ne boogera ne Yoswa nti, “Lwaki ffe otuwadde omugabo gumu n’ekitundu kimu ate nga tuli kika kinene? Mukama atuwadde nnyo omukisa.” Yoswa n’abagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi y’Abaperezi n’ey’Abalefa mwesaayire ekibira, ensi ey’ensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.” Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi ey’ensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi ey’ekiwonvu n’abali mu Besuseani n’ebibuga byakyo era n’abali mu kiwonvu eky’e Yezuleeri balina amagaali ag’ebyuma.”
Yoswa n’ayogera eri ennyumba ya Yusufu, n’eya Efulayimu n’eya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka, naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.”
Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo
Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri ([1Sa 4:1-11]) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni ([1By 21:29]). ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe, wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.
Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa? Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze. Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono. Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe. Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”
Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.” Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro. Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.
Omugabo gwa Benyamini
Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.
Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni. Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.
Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.
Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa. Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri. N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni, ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba, ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo.
Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.
Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali:
Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi, ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri, ne Avvimu ne Pala ne Ofula, ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo.
Gibyoni ne Laama ne Beerosi, ne Mizupe ne Kefira ne Moza, ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala, ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.
Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.
Omugabo gwa Simyoni
N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. Kyali kitwaliramu
Beeruseba, oba Seba, ne Molada, ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.
Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.
Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.
Ensi ya Zebbulooni
Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu19:15 Besirekemu Ekyogerwako wano si kyekimu ne Besirekemu ekya Yuda ([1Sa 17:12]; [Lus 1:1]), ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.
Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Isakaali
Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: Omugabo gwabwe gwalimu
Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu, ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.
Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.
Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Aseri
N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Ekitundu kyabwe kyalimu
Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu, ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Ensi ya Nafutaali
Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.
N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, ne Adama ne Laama ne Kazoli, ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,
ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Omugabo gwa Ddaani
Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu
Zola ne Esutaoli ne Irusemesi ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.
Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Omugabo gwa Yoswa
Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.
Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Ebibuga ekyokwekwekamu
Mukama Katonda n’alyoka agamba Yoswa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa, era nti omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gy’anaawoneranga omuwoolezi w’eggwanga ayagala okwesasuza.
“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde b’ekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo eky’okubeeramu. N’oyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi n’obukyayi.
“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lw’alifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”
Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey’ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda. N’emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw’ebuvanjuba ne bateekayo Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase. Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.
Ebibuga by’Abaleevi
Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.”
Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe.
Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.
Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
Eri Abakokasi21:20 Abakokasi Tebaali bakabona kubanga tebaali bazzukulu ba Alooni. abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo,
ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.
N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi,
ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.
Ne mu kika kya Isakaali,
Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo, Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
ne mu kika kya Aseri,
Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
Ne mu kika kya Nafutaali,
Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.
Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.
Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa
okuva mu kika kya Zebbulooni,
Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo, Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
Ne mu kika kya Lewubeeni,
Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo, Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.
Ne mu kika kya Gaadi,
Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo. Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.
Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.
Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.
Awo Yoswa n’ayita Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, n’abagamba nti, “Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira. Ebbanga lyonna n’okutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani. Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.” Yoswa n’alyoka abasabira omukisa n’abasiibula ne baddayo mu maka gaabwe.
Ekyoto ku Yoludaani
Ekitundu ekimu eky’ekika kya Manase, Musa yali akigabidde ettaka mu Basani, n’ekitundu ekirala eky’ekika kya Manase ne baganda baabwe, Yoswa n’akiwa ettaka ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani. Yoswa n’abawa omukisa n’abasiibula baddeyo ewaabwe. N’abagamba nti, “Ente nnyingi, ne ffeeza, ne zaabu, n’ekikomo, n’ekyuma, era n’engoye nnyingi bye munyaze ku balabe bammwe; mubigabaane ne baganda bammwe.”
Awo Abalewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga bava mu baana ba Isirayiri mu Siiro ekiri mu nsi ya Kanani ne baddayo mu nsi yaabwe, mu Gireyaadi, gye baali bagabanye bo bennyini ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali okuyita mu Musa. Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala. Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri, ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bakuŋŋaana e Siiro beetegekere olutalo babalumbe.
Awo abaana ba Isirayiri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu nsi ya Gireyaadi. Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu w’ennyumba mu buli kika kya Isirayiri.
Bwe bajja eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti, “Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo? Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda, ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda?
“ ‘Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri. Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli; kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe. Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.’ ”
Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne balyoka baddamu abakulu b’ebika bya Isirayiri nti, “Mukama Katonda ow’Amaanyi, Mukama ow’Amaanyi! Ye amanyi, era Isirayiri akimanye! Bwe kiba nga kyabadde mu kwediima oba kujeemera Mukama, temutusonyiwa leero. Bwe tuba nga ekyatuzimbya ekyoto kwe kuva ku Mukama, tukiweereko ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo ekyobutta oba ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, Mukama Katonda yennyini atuvunaane. Nedda, twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki? Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.
“Kyetwava tugamba nti, ‘Leka tuzimbe kaakano ekyoto ekitali kya kukozesa ku biweebwayo ebyokebwa, wadde ssaddaaka,’ naye kibeere akabonero ak’obujulizi wakati waffe nammwe, era ne wakati we mirembe egirituddirira nti tugenda mu maaso ga Mukama Katonda ne tumusinza n’ebiweebwayo byaffe ebyokebwa ne ssaddaaka era n’ebiweebwayo olw’emirembe si kulwa nga abaana bammwe bagamba abaana baffe mu biseera ebijja nti, ‘Temulina mugabo gwonna eri Mukama Katonda.’ Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.” ’ Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby’empeke, oba ssaddaaka, ekitali kyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso ga Ssanduuko y’Endagaano ye!”
Ekyoto Kikkirizibwa
Finekaasi kabona, n’abakulu b’ebibiina by’ebika bya Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo Abalewubeeni, n’Abagaadi n’aba Manase bye bayogera, ne bibasanyusa nnyo. Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’abaana ba Manase nti, “Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda.” Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’abakulu b’ebika ne bava eri Abalewubeeni, n’Abagaadi mu nsi ye Kanani, ne baddayo eri abantu ba Isirayiri ne bababuulira ebibaddeyo. Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza Katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi Abalewubeeni, n’Abagaadi gye baali basenze.
Abalewubeeni n’Abagaadi ne batuuma ekyoto erinnya Mujulizi, ne bagamba nti, “Kubanga mujulizi eri ffe nti Mukama ye Katonda.”
Yoswa Asiibula
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi, n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde. Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira. Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.
“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza. Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe, kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye. Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama Katonda wammwe bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi gy’abawadde. Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”
Obubaka bwa Yoswa Obusembayo
Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Katonda. Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde. Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.
“ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo. Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu. Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.
“ ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire; naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.
“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’
“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda. Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu. Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”
Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe. Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.” Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.” Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.” Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”
Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro. Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama ekitukuvu. Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”
Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.
Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamuziika mu ttaka ly’obusika bwe lye yaweebwa e Timunasusera, ekiri mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ku luuyi olw’obukiikakkono olw’olusozi Gaasi.
Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.
N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu.
Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.