- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Yoweeri
Yoweeri
Yoweeri
Yo
Ekitabo Ekiyitibwa
Yoweeri
Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
oba mu biseera bya bakitammwe?
Mukibuulire abaana bammwe,
nabo balikibuulira abaana baabwe,
nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
katuuse okwerabira omwenge omusu.
Eggwanga lirumbye ensi yange,
ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
byonna biri ku ttaka,
amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
bakungubaga.
Ennimiro ziweddemu ebirime;
ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
Omuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.
Abantu Bayitibwa Okwenenya
Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
Mulangirire okusiiba okutukuvu
n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
bamukaabirire.
Zitusanze olw’olunaku luli!
Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
okuva eri Ayinzabyonna.
Emmere tetuweddeeko
nga tulaba?
Essanyu n’okujaguza
mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
Ensigo ziwotokedde
mu ttaka,
amawanika makalu
n’ebyagi by’emmere bikaze,
kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
Ensolo nga zisinda!
Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
n’endiga nazo zidooba.
Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,
kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro
nagyo giyidde.
Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,
emigga gikalidde,
ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.
Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja
Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.
Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,
n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.
Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,
naye gye ziva buli kimu zikiridde;
ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
Zifaanana ng’embalaasi,
era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
Zigenda zibuuka ku nsozi
nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,
era bonna beeraliikirivu.
Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,
ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.
Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi
awatali kuwaba n’akamu.
Tezirinnyaganako,
buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,
ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
Zifubutuka ne zigwira ekibuga.
Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.
Zirinnya amayumba
ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
Zikankanya ensi
era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
era n’emmunyeenye tezikyayaka.
Mukama akulembera eggye lye
n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
era lwa ntiisa nnyo.
Ani ayinza okulugumira?
Abantu Bayitibwa Okwenenya
Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
Muyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
mulangirire okusiiba okutukuvu.
Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
Mukuŋŋaanye abantu bonna.
Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
Muleete abaana abato
n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
Bakabona abaweereza ba Mukama
bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Mukama Asaasira Abantu Be
Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
n’asaasira abantu be.
N’ayanukula abantu be nti,
“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
bannaggwanga amalala ne babasekerera.
“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
Mwe abali mu nsi, temutya.
Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;
kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.
Emiti gibaze ebibala byagyo,
era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
mu mwaka ng’obw’edda.
Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.
“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
n’enzige ezisala obusazi,
awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be
“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
abakadde baliroota ebirooto,
n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
Mu biro ebyo
ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu
ne ku nsi:
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
Enjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
Awo olulituuka buli alikoowoola
erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
walibaawo abaliwona
nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”
Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango
“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
ne bagabana ensi yange.
Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
ne beenywera.
“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.
“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga
Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
“Ndi wa maanyi.”
Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
“Amawanga geeteeketeeke
gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
Kozesa oluwabyo lwo,
kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
ekibi kyabwe kinene nnyo.”
Abantu bukadde na bukadde
abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
n’emmunyeenye tezikyayaka.
Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
n’obusozi bulikulukusa amata,
n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
Misiri erifuuka amatongo
n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
ensi mwe battira abantu abatalina musango.
Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”