- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 Yobu Yobu Yobu Yob Ekitabo Ekiyitibwa Yobu Yobu n’eby’Amaka ge byonna Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi1:1 Uzzi yali nsi eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Yobu teyali Muyisirayiri. erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba. Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;1:5 Etteeka lya Musa nga terinnabaawo, omukulu w’ennyumba ye yabanga kabona w’ennyumba ye. yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo. Setaani Agezesa Yobu Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.” Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?” Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama. Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, Abaseba1:15 Abaseba baali balunzi abaatambulanga okuva mu kifo ekimu nga balaga mu kirala, nga babeera mu bukiikaddyo bwa Buwalabu. ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.” Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.” N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya1:17 Abakaludaaya baali batambuze mu ddungu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga babeera mu Mesopotamiya. Oluvannyuma baasalawo okubeera mu kifo kimu ne bassaawo Obwakabaka bw’e Babulooni. bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.” Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.” Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: n’agamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.” Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda. Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.” Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.” Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.” Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.” Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu. Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!” Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke. Mikwano gya Yobu Abasatu Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi2:11 Erifaazi yali Mumowaabu eyabeeranga mu Temani. Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu. Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. N’agamba nti, “Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi. Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako. Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo. Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi. Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako. Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire, n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire. Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya. Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike. “Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange? Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era n’amabeere okugayonka? Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde, wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi, abezimbira embiri kaakano amatongo, oba n’abalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe. Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, atalabye ku kitangaala? Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira. Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira. Abakopi n’abakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe. “Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo, era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa, abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana? Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde? Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya, n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi. Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako. Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.” Erifaazi Ayogera Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti, “Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi? Laba, wayigiriza bangi, emikono eminafu wagizzaamu amaanyi. Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa, era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana. Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi; kikutte ku ggwe n’oggwaawo! Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo, n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo? “Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde? Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo? Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu, bakungula bizibu. Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa, bamalibwawo obusungu bwe. Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe, n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka. Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo, n’obwana bw’empologoma busaasaana. “Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama, ne nkitegera okutu. Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro ng’otulo otungi tukutte omuntu, okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya. Omwoyo gw’ayita mu maaso gange, obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira. Ne buyimirira butengerera, naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo, n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro, ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti, ‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda? Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we? Obanga abaddu be tabeesiga, nga bamalayika be abalanga ensobi kale kiriba kitya, abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu, ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo? Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi, bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako. Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda, ne bafa ng’abasirusiru.’ ” “Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira? Obukyayi butta atalina magezi, n’obuggya butta omusirusiru. Ndabye abasirusiru nga banywevu, naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu. Abaana baabwe tebalina bukuumi, babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza. Omuyala alya amakungula gaabwe era atwala n’ag’omu maggwa era awankirawankira eby’obugagga byabwe. Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi, wadde obuzibu okuva mu ttaka, wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku, ng’ensasi bwe zibuuka waggulu. Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange. Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika. Atonnyesa enkuba ku nsi, n’aweereza amazzi mu byalo. Ayimusa abo abanyigirizibwa n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe. Aziyiza enkwe z’ababi, emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa. Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe, n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala. Ekizikiza kibabuutikira emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro. Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi, n’abawonya ekitala kyabwe. Abaavu ne balyoka baba n’essuubi, n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa. “Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna. Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga, y’alumya era y’awonya. Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga. Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa. Mu njala alikuwonya okufa, era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala. Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe, era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli. Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze, era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi. Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro, era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe. Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe; era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko. Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene, ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi. Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala, ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo. “Ekyo twakyekenneenya, kituufu. Kimanye nga kikwata ku ggwe.” Yobu Ayanukula Yobu n’ayanukula ng’agamba nti, “Singa okweraliikirira kwange, n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani! Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa; ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza. Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange. Entulege ekaaba awali omuddo, oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo? Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo, oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera? Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako, biri ng’emmere etangasa. “Singa Katonda ampa kye nsaba, n’ampa kye nsuubira, yandisiimye okumbetenta ne mmalibwawo omukono gwe. Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu. Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize? Amaanyi gange ga mayinja oba omubiri gwange gwa kikomo? Mu mazima sirina maanyi n’obusobozi bwanzigwako. Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna. Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga ate ne kakalira, akaddugalirira buli lwe kakwata, ng’omuzira, ate ne kaggwaawo buli lwe wabaawo ebbugumu. Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo ne biraga mu ddungu ne bizikirira. Abatambuze b’e Teema banoonya, bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi. Baalina essuubi naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo. Kaakano bwe mundabye ne mutya ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola. Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’ oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe, okumponya nve mu mukono gw’omulabe, n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’?  “Njigiriza nange n’aba musirise; ndaga we nsobezza. Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi! Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki? Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo? Mukubira ne bamulekwa akalulu ate ne mukubira ne mukwano gwammwe. “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire. Ndabika ng’omulimba? Mufumiitirize, temusuula bwenkanya; Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe. Emimwa gyange girabika ng’egirimba? Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?” “Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa? Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi? Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja, ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye; bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona, ebiro ebyokutegana bwe byangererwa. Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’ Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya. Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa, n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi. “Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze; era zikoma awatali ssuubi. Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka, amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi. Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba; amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo. Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo. Taliddayo mu nnyumba ye, amaka ge tegaliddayo kumumanya nate. Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange; nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange. Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba, olyoke onkuume? Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe, ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange; n’olyoka ontiisa n’ebirooto era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa. Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga, nfe okusinga okuba omulamu. Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna. Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu. Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza, n’omulowoozaako? Bw’otyo n’omwekebejja buli makya, n’omugezesa buli kaseera? Olituusa ddi nga tonvuddeeko n’ondeka ne mmira ku malusu? Nyonoonye; kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu? Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli, ne neefuukira omugugu? Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange, n’oggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana; era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.” Birudaadi Ayogera Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti, “Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi? Katonda akyusakyusa mu nsala ye? Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima? Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama, n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe. Kyokka bw’onoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna, bw’onooba omulongoofu era ow’amazima, ddala ddala anaakuddiramu n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu. Wadde ng’entandikwa yo yali ntono, embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala. Buuza ku mirembe egy’edda, era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga; kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize. Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe oba by’okutegeera kwabwe? Ebitoogo biyinza okumera awatali bitosi? Biba bikyakula nga tebinnasalibwa, bikala mangu okusinga omuddo. Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda, essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula. Ebyo bye yeesiga byatika mangu, ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi! Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka azeekwatako nnyo naye ne zitanywera. Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana, nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro; emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja, nga ginoonya ekifo mu mayinja. Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo, ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako. Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka. Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gw’abakola ebibi. Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko, n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu. Abalabe bo balijjula obuswavu, era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.” Yobu Ayanukula Yobu n’alyoka addamu nti, “Ddala nkimanyi nga kino kituufu. Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda? Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi. Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo; ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule? Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde era n’azivuunika ng’asunguwadde. Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo era n’akankanya empagi zaayo. Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika. Ye yekka abamba eggulu era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja. Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo. Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, n’akola n’ebyamagero ebitabalika. Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba, bw’ampitako, sisobola kumutegeera. Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola? Katonda taziyiza busungu bwe; n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye. Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye? Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu, mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa. Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza. Yandimenyeemenye mu muyaga nannyongerako ebiwundu awatali nsonga. Teyandindese kuddamu mukka naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona. Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi. Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita? Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde. Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze. “Wadde nga sirina kyakunenyezebwa, sikyefaako, obulamu bwange mbunyooma. Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi. Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo, Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango. Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi. Abikka ku maaso g’abagiramula. Bw’aba nga si Mukama, kale ani? Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi, zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba. Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo9:26 Amaato ag’ebitoogo gaakolebwanga mu Misiri agadduka ennyo, ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo. Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange, oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu, ne neekokkola okubonaabona kwange, mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango. Omusango gunsinze, lwaki nteganira obwereere? Ne bwe nandinaabye sabbuuni n’engalo zange ne nzitukuza, era wandinsudde mu kinnya, n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa. Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu, era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka. Tewali mutabaganya ayinza kututeekako mukono gwe ffembi, eyandizigyeko omuggo gwa Katonda entiisa ye n’erekeraawo okunzijira. Olwo nno nandyogedde nga simutya; naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.” “Obulamu bwange mbukyayidde ddala, noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange, njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange. Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga, ntegeeza ky’onvunaana. Kikusanyusa okunnyigiriza, okunyooma omulimu gw’emikono gyo, n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi? Amaaso go ga mubiri? Olaba ng’omuntu bw’alaba? Ennaku zo zisinga ez’omuntu, n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu, olyoke onoonye ebisobyo byange era obuulirize ekibi kye nkoze, newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo? “Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola. Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo? Jjukira nti wammumba ng’ebbumba, ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu? Tewanzitulula ng’amata n’onkwasa ng’omuzigo?” Tewannyambaza omubiri n’olususu, n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta? Kale wampa okuganja mu maaso go, era walabirira, n’omwoyo gwange. Naye bino wabikweka mu mutima gwo, era mmanyi nga byali mu birowoozo byo. Singa nyonoona, ondaba era tewandindese n’otombonereza. Bwe mba nga nsingibbwa omusango, zinsanze nze! Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange, kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa. Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma, era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo. Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza, era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi; amayengo ne gajja okunnumba olutata. “Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange? Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko. Singa satondebwa, oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa. Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko? Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka, nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda, ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba, y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba era n’okutabukatabuka, ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.” Zofali Ayogera Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti, “Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu? Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango? Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa? Oduule bw’otyo wabulewo akunenya? Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’ Naye, singa Katonda ayogera, singa abikkula akamwa ke n’akuddamu, n’akubikkulira ebyama by’amagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo. “Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo? Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola? Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya? Obuwanvu bwabyo businga ensi era bugazi okusinga ennyanja. “Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya? Mazima ddala amanya abantu abalimba. Bw’alaba ebibi, tabifaako? Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa. “Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali, n’ogolola emikono gyo gy’ali, singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo, n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo, olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi, era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya. Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda. Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu, n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya. Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi; olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe. Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa. Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa, era tebalisobola kuwona, essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.” Yobu Ayanukula Awo Yobu n’amuddamu nti, “Awatali kubuusabuusa muli bantu. Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa. Naye nange nnina amagezi ntegeera, temunsinga. Ani atabimanyi ebyo byonna? Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango! Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana, ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu. Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe. Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira. Oba yogera n’ettaka linaakusomesa oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola. Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo? Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna. Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lukomba ku mmere? Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye? Okuwangaala tekuleeta kutegeera? Katonda y’alina amagezi n’amaanyi; y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera. Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba; ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa. Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja, bw’agata gazikiriza ensi. Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi, abalimba n’abalimbibwa bonna babe. Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu, abalamuzi n’abafuula abasirusiru. Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe, n’abasibamu obukete.12:18 Obukete bwe bugoye bwokka abaddu abawambe bwe bakkirizibwanga okwambala. Bakabona abatwala nga tebalina kantu, n’asuula abasajja abaanywera. Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa, era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde. Ayiwa ekivume ku bakungu, era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi. Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza, n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala. Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza; agaziya amawanga n’agasaasaanya. Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde; n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo. Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala; abaleetera okutagala ng’abatamiivu.” “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera. Kye mumanyi nange kye mmanyi; siri wa wansi ku mmwe. Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna, era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda. Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna! Kale singa musirika! Olwo lwe mwandibadde n’amagezi. Muwulire kaakano endowooza yange, muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange. Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera eby’obulimba? Munaamulaga ng’ataliiko luuyi, munaamuwoleza ensonga ze. Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi? Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu? Tayinza butakunenya, singa osaliriza mu bubba. Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza? Entiisa ye teyandikuguddeko? Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba. Musirike nze njogere; kyonna ekinantukako kale kintuukeko. Lwaki neeteeka mu mitawaana, obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange? Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge. Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange, kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge! Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza; amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba. Kaakano nga bwe ntegese empoza yange, mmanyi nti nzija kwejeerera. Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa? Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe. Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda, awo sijja kukwekweka. Nzigyako omukono gwo, olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga. Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu. Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange. Lwaki okweka amaaso go, n’onfuula omulabe wo? Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga? Onooyigga ebisasiro ebikaze? Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka. Oteeka ebigere byange mu nvuba, era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange. Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu, ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.” “Omuntu azaalibwa omukazi, abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana. Amulisa ng’ekimuli n’awotoka; abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera. Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo? Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango? Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu! Ennaku z’omuntu zaagererwa, wagera obungi bw’emyezi gye era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka. Kale tomufaako muleke yekka, okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi. “Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka: Bwe gutemebwa, guloka nate, era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa. Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka, naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa ne kireeta amatabi ng’ekisimbe. Naye omuntu afa era n’agalamizibwa, assa ogw’enkomerero n’akoma. Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo, bw’atyo omuntu bw’agalamira, era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo, abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe. “Singa kale onkweka emagombe era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera n’onzijukira! Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu? Ennaku zange zonna ez’okuweereza nnaalindanga okuwona kwange kujje. Olimpita nange ndikuyitaba; olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda. Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange, naye tolyekaliriza bibi byange. Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo; olibikka ku kibi kyange. “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo, era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo, ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi; bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu. Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala; okyusa enfaanana ye n’omugoba. Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya, bwe bagwa, takiraba. Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira ne yeekungubagira yekka.” Erifaazi Ayogera Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti, “Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu, oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba? Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa, oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola? Naye onyooma Katonda n’oziyiza okwewaayo eri Katonda. Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba. Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze, emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza. “Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo? Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda? Olowooza gwe mugezi wekka? Kiki ky’omanyi kye tutamanyi? Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina? Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe, abasajja abakulu n’okusinga kitaawo. Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu? Lwaki omutima gwo gukubuzizza, amaaso go ne gatemereza n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda, n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko? “Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu? Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be, n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge, oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi! “Mpuliriza nnaakunnyonnyola, leka nkubuulire kye ndabye: abasajja ab’amagezi kye bagambye nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe abo bokka abaweebwa ensi nga tewali mugwira agiyitamu. Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna, n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa. Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba. Atya okuva mu kizikiza adde, ekitala kiba kimulinze okumusala. Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya, amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde. Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira, bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo. Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde, ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna, n’agenda n’ekyejo amulumbe, n’engabo ennene enzito. “Wadde nga yenna yagejja amaaso ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi, wakubeera mu bibuga eby’amatongo, ne mu bifulukwa, ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu. Taddeyo kugaggawala, n’obugagga bwe tebulirwawo, n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka. Taliwona kizikiza, olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge, era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala. Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina ky’ajja kuganyulwa. Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka, n’amatabi ge tegalikula. Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera, ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo. Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba, era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi. Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu, embuto zaabwe zizaala obulimba.” Yobu Ayanukula Yobu n’addamu nti, “Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino; mwenna muli mikwano gyange egitagasa. Ebigambo byammwe bingi, tebiikome? Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana? Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe16:4 Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo gwange. Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi; ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe. “Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona, bwe nsirika era busigalawo. Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi; osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna. Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala, obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso. Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza, annumira emba; omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita. Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera; bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama. Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi, era n’ansuula mu mikono gy’ababi. Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati; yankwata ku nsingo n’ammenyamu. Anfudde ssabbaawa, abakubi b’obusaale banneetoolodde. Awatali kusaasira, afumita ensigo zange, omususa gwange ne guyiika ku ttaka. Annumba, emirundi n’emirundi, n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira. “Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu, ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu. Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba, ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange, newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze, n’okusaba kwange nga kutukuvu. “Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange; nneme okusirisibwa! Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu; omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala. Mikwano gyange bansekerera, amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda. Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe. “Emyaka mitono eginaayitawo nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.” Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze. Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera. “Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba. Ani omulala ayinza okunneeyimirira? Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula. Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera alireetera amaaso g’abaana be okuziba. “Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso. Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize. Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda. Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi. “Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe! Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange. Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja. Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza, ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’ kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba? Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?” Birudaadi Ayanukula Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti, “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo? Muddeemu amagezi, tulyoke twogere. Lwaki tutwalibwa ng’ente era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe? Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu, abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo? “Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde, era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka. Ekitangaala kivudde mu weema ye; n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde. Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi, era enkwe ze, ze zimusuula. Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba era n’atangatanga mu butimba. Omutego gumukwata ekisinziiro; akamasu ne kamunyweeza. Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka; akatego kamulindirira mu kkubo lye. Entiisa emukanga enjuuyi zonna era n’emugoba kigere ku kigere. Emitawaana gimwesunga; ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe. Kirya ebitundu by’olususu lwe; omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere. Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa. Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye; ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera. Emirandira gye gikala wansi, n’amatabi ge gakala waggulu. Ekijjukizo kye kibula ku nsi; talina linnya mu nsi. Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza n’aggyibwa mu nsi. Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be, newaakubadde ekifo mwabeera. Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako; n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa. Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi; bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.” Yobu Amuddamu Awo Yobu n’addamu nti: “Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo? Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba. Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka. Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya, mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye. “Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa. Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza. Anziggyeeko ekitiibwa kyange n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange. Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ng’omuti. Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ng’omu ku balabe be. Amaggye ge galumba n’amaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange. “Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala. Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde. Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga. Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira n’akamwa kange. Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini. N’obulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma. Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa; abo be nnayagalanga banneefuukira. Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka. “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye. Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala? “Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani? Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe! Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda; nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze! “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’ nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala, olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.” Zofali Addamu Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti, “Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu kubanga nteganyizibbwa nnyo. Mpulidde nga nswadde olw’okunenya, okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu. “Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi, nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono, era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo. Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire, alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye: abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’ Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika; abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro. Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba, taliddayo kulaba kifo kye nate. Abaana be basaana bakolagane n’abaavu, emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe. Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge, ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu. “Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke era akukweka wansi w’olulimi lwe, tayagala kukuleka, wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke. Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda, era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye. Aliwandula eby’obugagga bye yamira; Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema. Alinywa obutwa bw’ensweera; amannyo g’essalambwa galimutta. Alisubwa obugga, n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata. Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde; talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe, kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba, yawamba amayumba g’ataazimba. “Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe, wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera. Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya; obugagga bwe tebujja kusigalawo. Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira; alibonaabonera ddala nnyo. Ng’amaze okujjuza olubuto lwe, Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika. Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma, akasaale ak’ekikomo kalimufumita. Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe, omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba. Entiisa erimujjira. Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe. Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo, gwokye ebisigadde mu weema ye. Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe; ensi erimusitukirako n’emujeemera. Ebintu by’ennyumba biritwalibwa, biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda. Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi, nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.” Yobu Ayanukula Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti, “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange, era kino kibazzeemu amaanyi. Mungumiikirizeeko nga njogera, oluvannyuma museke. “Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu? Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako? Muntunuulire mwewuunye, mujja kukwata ne ku mumwa. Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa; omubiri gwange ne gukankana. Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala, ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi? Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa, ezzadde lyabwe nga balaba. Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya; omuggo gwa Katonda tegubabeerako. Ennume zaabwe teziremererwa, ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo. Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo; obuto ne bubeera mu kuzina. Bayimbira ku bitaasa n’ennanga, ne basanyukira eddoboozi ly’omulere. Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana. Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe! Tetwegomba kumanya makubo go. Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’ Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe, noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa. “Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka? Ennaku ebajjira emirundi emeka? Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde. Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo; ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala. Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe. Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere! Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira; leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna. Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese, nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko? “Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi, kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu? Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi, nga munywevu ddala ali mu mirembe gye, omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi, amagumba ge nga gajjudde obusomyo. Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima, nga teyafuna kintu kyonna kirungi. Ne beebaka kye kimu mu ttaka, envunyu ne zibabikka bombi. “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza, enkwe ze mwagala okunsalira. Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi, eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’ Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo? Temukkiriza bye babagamba, nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana, era awona ku lunaku olw’ekiruyi? Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso, ani amusasula ebyo by’akoze? Atwalibwa ku ntaana, era amalaalo ge gakuumibwa. Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera, abantu bonna bamugoberera, n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera. “Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!” Erifaazi Addamu Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti, “Omuntu ayinza okugasa Katonda? Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba? Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu? “Akukangavvula lwa kumutya era kyava akuvunaana? Okwonoona kwo si kunene nnyo? Ebibi byo si bingi nnyo? Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere. Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere, wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka, omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo. Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde; abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi. Emitego kyegivudde gikwetooloola. Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira? Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako? “Katonda tali waggulu mu ggulu? Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala! Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki? Ayinza okulamulira mu kizikiza? Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’ Onoosigala mu kkubo ery’edda abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata? Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka, emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba. Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’ Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi, noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi. Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza; abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti, ‘Ddala abalabe baffe bazikiridde, era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’  “Gonderanga Katonda ofunenga emirembe; mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli. Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo. Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya, bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo, n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka, zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga, awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi. Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda. Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo. Ky’olisalawo kirikolebwa, era ekitangaala kirimulisa amakubo go. Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde. Alinunula n’oyo aliko omusango, alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.” Yobu Ayanukula Awo Yobu n’addamu nti, “N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala, omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda. Singa nnali mmanyi aw’okumusanga nandisobodde okulaga gy’abeera! Nanditutte empoza yange gy’ali, akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange. Nanditegedde kye yandinzizeemu, ne neetegereza kye yandiŋŋambye. Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi? Nedda, teyandinteeseko musango. Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe. “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo; ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo. Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba, bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako. Naye amanyi amakubo mwe mpita, bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu. Ebigere byange bimugoberedde; ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama. Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo. “Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa. Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza, era bingi byategese by’akyaleeta. Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge; bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya. Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange, Ayinzabyonna antiisizza nnyo. Naye ekizikiza tekinsirisizza, ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.” “Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze? Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye. Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo. Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka. Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe. Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi. Olw’okubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo. Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama. Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja. Olw’okubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde. Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta. Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango. “Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo. Omutemu agolokoka nga obudde buzibye n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga; ekiro abbira ddala. Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe, ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ n’abikka ne ku maaso ge. Mu kizikiza mwe basimira amayumba, kyokka emisana baba beggalidde. Tebaagala kitangaala. Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya. Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza. Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi, era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi. Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu. Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe. Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa. Tajjukirwenga nate, omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti. Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala. Tebakolera nnamwandu bya kisa. Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe. Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe. Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo. Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna. Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano. “Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, n’afuula okwogera kwange okutaliimu?” Birudaadi Addamu Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti, “Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda; ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu. Amaggye ge gasobola okubalibwa? Ani atayakirwa musana gwe? Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda? Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu? Laba n’omwezi tegulina bye gwaka, n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge. Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!” Yobu Ayanukula Awo Yobu n’addamu nti, “Ng’oyambye oyo atalina maanyi! Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi! Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi! Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu! Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo? Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko? “Abafu kye balimu tekigumiikirizika, n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu. Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; n’okuzikiriza tekulina kikubisse. Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira. Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa. Abikka obwenyi bw’omwezi, agwanjululizaako ebire bye. Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita, ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza. Empagi z’eggulu zikankana, zeewuunya olw’okunenya kwe. Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe, n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge. Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu, omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka. Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?” Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa, gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange, emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba. Sirikkiriza nti muli batuufu; okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange. Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka; omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu. “Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi, n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu! Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu? Katonda awulira okukaaba kwe ng’ennaku emujjidde? Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna? Aliyita Katonda ebbanga lyonna? Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda; ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka. Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko, lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu? Empeera y’Abakozi b’Ebibi “Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi, omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna: Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala; ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala. Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira. Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu, n’engoye ng’entuumo y’ebbumba, ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala, era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye. Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo; ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi. Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo. Entiisa erimuzingako ng’amataba; kibuyaga amutwala ekiro mu kyama. Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda; emuggya mu kifo kye n’amaanyi. Emukuba awatali kusaasira, ng’adduka ave mu maanyi gaayo. Erimukubira engalo zaayo, n’emusiiya okuva mu kifo kye.” “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza, n’ekifo gye balongooseza effeeza. Ekyuma kisimibwa mu ttaka, n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja. Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo. Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita. Ensi evaamu emmere, naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro. Safira eva mu mayinja gaayo, era enfuufu yaayo erimu zaabu. Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino, wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga. Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo, tewali mpologoma yali eyiseeyo. Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale, n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka. Asima ensalosalo ku njazi; n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna. Anoonya wansi mu migga, n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa. “Naye amagezi gasangibwa wa? Okutegeera kuva wa? Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago; tegasangibwa mu nsi y’abalamu. Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’ ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’ Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi, wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza. Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri, mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro. Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana: so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo. Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana, tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna. “Kale amagezi gava ludda wa? N’okutegeera kubeera ludda wa? Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu, era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga. Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti, ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’ Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka y’amanyi gye gabeera, kubanga alaba enkomerero y’ensi era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu. Bwe yateekawo amaanyi g’empewo, n’apima n’amazzi, bwe yateekera enkuba etteeka era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa, olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira; n’agateekawo, n’agagezesa. N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ” Yobu n’ayongera okwogera nti, “Nga nneegomba emyezi egyayita, ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira, ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange, n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza. Mu biro we nabeerera ow’amaanyi, omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange, Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange n’abaana bange nga bakyanneetoolodde, n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta. “Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko, abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali, abakadde ne basituka ne bayimirira; abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera, ne bakwata ne ku mimwa; ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera, ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa. Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima, era n’abo abandabanga nga basiima kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi, n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba. Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba. Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange, obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe. Nnali maaso g’abamuzibe era ebigere by’abalema. Nnali kitaawe w’abanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko. Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi, ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte. “Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja. Omulandira gwange gulituuka mu mazzi, era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde. Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze, n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’  “Abantu beesunganga okumpuliriza, nga balindirira mu kasirise amagezi gange. Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera, ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe. Bannindiriranga ng’enkuba ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo. Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza; ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali. Nabasalirangawo eky’okukola, ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge; nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.” “Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu n’embwa ezikuuma endiga zange. Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki? Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe, abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro. Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka, enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe. Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe, ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi. Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira, mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka. Baakaabira mu bisaka ng’ensolo ne beekweka mu bikoola by’emiti. Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa, baagobebwa mu nsi. Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba; nfuuse ekyenyinyalwa gye bali, abatanjagala abanneesalako, banguwa okunfujjira amalusu mu maaso. Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi; beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange. Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo; bategera ebigere byange emitego, ne baziba amakubo banzikirize. Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali n’omu abayambye. Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi, bayingira nga bayita mu muwaatwa. Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi; ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo, era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.” Okubonaabona kwa Yobu “Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde. Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma. Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka, n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange. Ansuula mu bitosi, ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu. “Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu; nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi. Onkyukira n’obusungu; onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi. Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo, n’onziza eno n’eri mu muyaga. Mmanyi nga olintuusa mu kufa, mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna. “Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe. Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu? Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja; bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja. Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde. Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi. Nfuuse muganda w’ebibe, munne w’ebiwuugulu. Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; n’omubiri gwange gwokerera. Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.” Obutukuvu bwa Yobu “Nakola endagaano n’amaaso gange; obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba. Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu, omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu? Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu, n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu? Amakubo gange gonna tagalaba, era tamanyi ntambula yange? Obanga natambulira mu bulimba era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa; leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange. Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo, n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange, engalo zange ne zibaako ebbala lyonna; kale nsige, omulala abirye, weewaawo ebirime byange bikuulibwe. Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi, oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa, kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala, n’abasajja abalala beebake naye. Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve, ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa. Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira, ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.” Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo “Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi, bwe banninaako ensonga, kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu? Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki? Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda? Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe? “Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna, era obanga nakaabya nnamwandu; obanga nnali ndidde akamere kange nzekka atalina kitaawe n’atalyako, kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe, era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu. Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo, oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka; mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima, olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange; obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe, kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza, kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange, leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira. Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe, nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo. “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’ obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi, oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi; obanga nnali ntunuulidde enjuba, oba omwezi nga byaka mu kitiibwa, omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa, era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.” Abalabe n’Abagwira Okubassaako Omwoyo “Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako, sakkiriza kamwa kange kwonoona nga nkolimira obulamu bwe. Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti, ‘Ani atakkuse nnyama?’ Tewali mutambuze yasula ku kkubo, kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise. Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola, nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange, olw’okutya ekibiina, nga ntya okuswala mu kika, ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru, so nga waliwo ayinza okumpulira, leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu; n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike. “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange, nandibyambadde ku mutwe ng’engule. Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere, nandimusemberedde ng’omulangira. “Singa ettaka lyange linkaabirira, n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga; obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula, era ne ndeetera bannannyini lyo okufa, leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano, n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu byakoma wano. Eriku Ayogera Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga. Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza. Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera, n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi. Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera. Abakadde si be bokka abalina amagezi, wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu. “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize, nange mbabuulire kye mmanyi. Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera. Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu; tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye. Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi; muleke Katonda amuwangule so si bantu.’ Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe. “Basobeddwa, tebalina kya kwogera, ebigambo bibaweddeko. Kaakano nsirike busirisi, nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera? Nange nnina eky’okwogera, era nnaayogera kye mmanyi, kubanga nzijjudde ebigambo, era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera. Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika. Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe, nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera. Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi, era sijja na kuwaana muntu yenna. Kubanga singa mpaaniriza, Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.” “Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange: ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera. Laba nnaatera okwasamya akamwa kange, ebigambo byange bindi ku lulimi. Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu; olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi. Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu. Onnyanukule nno bw’oba osobola, teekateeka ebigambo byo onjolekere. Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda. Nange nava mu bbumba. Tobaako ky’otya, sijja kukunyigiriza. Ddala ddala oyogedde mpulira, ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti, Ndi mulongoofu sirina kibi, siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu. Kyokka Katonda anteekako omusango, anfudde omulabe we. Asiba ebigere byange mu nvuba, antwala okuba omulabe we. “Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu. Katonda asinga omuntu. Lwaki omwemulugunyiza nti, taddamu bigambo bya muntu yenna? Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala, wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo. Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro ng’otulo tungi tukutte abantu nga beebase ku bitanda byabwe, aggula amatu g’abantu, n’abalabula n’ebyekango, alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi n’amalala, aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya, n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala. “Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, n’alumwa olutatadde mu magumba ge, obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava. Omubiri gwe gugwako ku magumba, n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese, emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa. Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde; yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti, ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe, mmusasulidde omutango,’ omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere, era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka. Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu, Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu. Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde. Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala. “Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu emirundi ebiri oba esatu, okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe, ekitangaala eky’obulamu kimwakire. “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize; siriikirira nkubuulire. Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu; yogera kubanga njagala wejjeerere. Bwe kitaba kityo, mpuliriza; sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.” Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti, “Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi; mumpulirize mmwe abayivu. Kubanga okutu kugezesa ebigambo ng’olulimi bwe lugezesa emmere. Leka twesalirewo ekituufu; muleke tulondewo ekisaanidde. “Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango, naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima. Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’ Musajja ki ali nga Yobu, anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi? Atambula n’abakozi b’ebibi, mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu. Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa bw’agezaako okusanyusa Katonda.’ Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu. Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze; n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze. Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya. Ayinzabyonna tasaliriza musango. Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna? Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu awamu n’omukka gwe, abantu bonna bandizikiriridde wamu, era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu. “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino; wuliriza kye ŋŋamba. Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango? Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’ atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye? Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi. Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo. Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu. “Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu; atunuulira buli kigere kye batambula. Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi, ababi gye bayinza okwekweka. Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango. Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe. Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa. Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi abantu bonna nga balaba, kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna. Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa. Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu; aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga, aleme okutega abantu emitego. “Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona, kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola, olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala, akuleke ng’ogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi. “Abantu abalina okutegeera mumbuulire, abasajja abagezi abawulira muntegeeze, ‘Yobu ayogeza butamanya ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’ Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi! Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, n’akuba mu ngalo wakati mu ffe, n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.” Eriku n’ayongera okwogera nti, “Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango. Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda. Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange? “Nandyagadde okukuddamu ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo. Tunula eri eggulu olabe; tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga. Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya? Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki? Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde, oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo? Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe, era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu. Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi, balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi. Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange atuwa ennyimba ekiro, atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko, era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko? Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi. Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako. Kale kiba kitya bw’ogamba nti tomulaba, era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge era oteekwa okumulindirira; oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu. Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.” Eriku ne yeeyongera okwogera nti, “Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage, nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda. Amagezi ge nnina gava wala, era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya. Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu, oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe. “Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu; w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye. Talamya bakozi ba bibi, era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira. Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka n’abagulumiza emirembe n’emirembe. Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe, nti, beewaggudde, aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa n’abalagira beenenye ekibi kyabwe. Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka. Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa n’ekitala, bafe nga tebalina magezi. “Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi. Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule. Bafiira mu buvubuka bwabwe era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi. Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe. “Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi. Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza. Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa; obunene bw’enguzi buleme okukukyamya. Obugagga bwo oba okufuba kwo kwonna binaakuyamba okukuggya mu buyinike? Teweegomba budde bwa kiro olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe. Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu, by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa. “Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye? Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’ Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba. Abantu bonna baagiraba, omuntu agirengerera wala. Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe; obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka. “Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi, agafuuka enkuba etonnya mu bugga; ebire bivaamu amazzi gaabyo, enkuba n’ekuba abantu. Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire, okubwatuka okuva ku kituuti kye? Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu, era n’abikka obuziba bw’ennyanja. Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga, n’agawa emmere mu bungi. Emikono gye agijjuza eraddu, n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu. Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, n’ente ne zirangirira okujja kwayo.” “Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo. Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye, n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke. Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna, n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi. Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde. Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe. Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’ ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’ Emirimu gya buli muntu giyimirira, buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda. Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo, ne zigenda zeekukuma. Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo, n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta. Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda n’amazzi amangi ne gekwata kitole. Ebire abijjuza amatondo g’amazzi, n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu. Byetooloolatooloola nga y’abiragira, ne bituukiriza byonna by’abiragira, ku nsi yonna okubeera abantu. Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba. “Wuliriza kino Yobu; sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo. Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire, n’aleetera eggulu okumyansa? Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya? Ggwe alina ebyambalo ebibuguma, ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo, oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu, eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse? “Tubuulire kye tunaamugamba; tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu. Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera? Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo? Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba, olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu, ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire. Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi. Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna. Noolwekyo abantu bamutya, takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.” Mukama Ayogera Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti, “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, n’ebigambo ebitaliimu magezi? Yambala ebyambalo byo ng’omusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu. “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi? Mbuulira bw’oba otegeera. Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba? Entobo zaayo zaateekebwa ku ki? Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba, era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu, ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo? “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu, bwe n’abiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi, bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma? “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi, oba emmambya okugiraga ekifo kyayo, eryoke ekwate ensi w’ekoma eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri? Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero, ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye. Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe, n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa. “Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka, oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja? Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa? Wali otegedde obugazi bw’ensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi. “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa? N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa? Ddala, osobola okubitwala gye bibeera? Omanyi ekkubo erigenda gye bisula? Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi, kubanga wali wazaalibwa dda! “Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa, oba wali olabye omuzira gye guterekebwa? Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana, bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana? Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira, oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi? Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita, oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita? Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera, eddungu omutali muntu yenna, n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika, n’okulimezaako omuddo? Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo ag’omusulo? Omuzira guva mu lubuto lw’ani? Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu, amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja, ne kungulu kw’obuziba ne kukwata? “Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga, oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye? Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse, oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo? Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi? “Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire, olyoke obiggyemu amataba gakubikke? Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke? Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’? Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu, oba eyateeka okutegeera mu mmeeme? Ani alina amagezi agabala ebire? Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu, enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu, era amafunfugu ne geegattira ddala? “Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya, oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala, bwe zeezinga mu mpuku zaazo, oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka? Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?” “Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira? Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira? Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale? Omanyi obudde mwe zizaalira? Zikutama ne zizaala abaana baazo, ne ziwona obulumi bw’okuzaala. Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale, batambula ne bagenda obutadda. “Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo? Ani eyasumulula emiguwa gyayo, gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo, n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu? Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga, tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka. Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo, ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi. “Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo, n’esula ekiro mu kisibo kyo? Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi? Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu. Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi? Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi? Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke, oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo? “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja, naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa. Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka, n’egaleka ne gabugumira mu musenyu, ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa, era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya. Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo gy’obeera nti, yazaalira bwereere. Kubanga Katonda teyagiwa magezi wadde okutegeera. Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke esoomooza embalaasi n’omugoba waayo. “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba? Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa? Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo, n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa. Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa. Ekitala tekigitiisa kugizza mabega. Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo, awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale. Mu busungu obungi emira ettaka, tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze. Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’ N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala, n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye. “Amagezi go ge gabuusa kamunye, n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo? Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga, era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo? Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo, ku lwazi olunywevu olutabetentebwa. Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya, eriiso lyayo ligulengerera wala. Obwana bwayo bunywa omusaayi, era awali emirambo w’ebeera.” Awo Mukama n’agamba Yobu nti, “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.” Awo Yobu n’addamu Mukama nti, “Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko n’engalo. Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.” Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti, “Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu. “Onojjulula ensala yange ey’emisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde? Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye? Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume. Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo otunuulire buli wa malala omusse wansi. Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali. Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana. Nange kennyini ndyoke nzikirize, ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.” Amaanyi g’Envubu “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu kye natonda nga ggwe, erya omuddo ng’ente, nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo. Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo. Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo; amagulu n’emikono ng’emitayimbwa. Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye. Weewaawo ensozi zikireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira. Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka, ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi. Ebisiikirize by’emiti bikibikkako, emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako. Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga; kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga. Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata, oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?” Amaanyi ga Lukwata “Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa? Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo? Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa? Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu? Eneekola naawe endagaano ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna? Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi, oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo? Abasuubuzi banaagiramuza, oba banaagibala ng’ekyamaguzi? Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo, oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja? Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira, toliddayo kukikola! Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu, okugirabako obulabi kimalamu amaanyi. Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga. Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange? Ani alina kye yali ampoze musasule? Byonna ebiri wansi w’eggulu byange. “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike, amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo. Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu? Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri? Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo? Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa. Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo ezisibiddwa okumukumu. Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita. Zakwatagana, ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa. Bw’eyasimula, ebimyanso bijja, n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa. Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka. Kavaamu ensasi ez’omuliro. Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka. Omukka oguva mu nnyindo zaayo gukoleeza Amanda. Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi, n’entiisa eri mu maaso gaayo. Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse; gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya. Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi, kigumu ng’olubengo. Bwesituka ab’amaanyi batya. Badduka olw’okubwatuka kwayo. Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako, oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu. Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro, ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu. Akasaale tekayinza kugiddusa, amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri. Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri. Esekerera amafumu agakasukibwa. Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa. Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula. Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera. Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa. Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru; ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi. Tewali kigyenkana ku nsi; ekitonde ekitatya. Enyooma buli kisolo. Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.” Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu Awo Yobu n’addamu Mukama nti, “Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna, era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa. Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’ Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera, ebintu ebyassukirira okutegeera kwange. “Wulira nkwegayiridde, nange mbeeko kye nkubuuza, onziremu. Amatu gange gaali gaakuwulirako dda, naye kaakano amaaso gange gakulabye. Kyenvudde neenyooma era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.” Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu. Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu. Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi. Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu. Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu. Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi. Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe. N’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.