- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Yeremiya
Yeremiya
Yeremiya
Yer
Ekitabo Ekiyitibwa
Yeremiya
Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Okuyitibwa kwa Yeremiya
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,
kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,
era ne basinza ebibajje bye beekolera
n’emikono gyabwe.
“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Isirayiri eva ku Katonda
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, “Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
mu nsi etali nnime.
Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
akabi nga kabatuukako,’ ”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
Ne mbaleeta mu nsi engimu,
mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
ne mufuula omugabo gwange ekivume.
Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
bw’ayogera Mukama,
“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
era mutume e Kedali, mwetegereze.
Mujja kulaba nga tekibangawo.
Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
n’ebitagasa.
Wewuunye ggwe eggulu,
era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”
Ebyava mu Kubula kwa Isirayiri
“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
Kale lwaki afuuse omuyiggo?
Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
eyakukulemberanga
akulage ekkubo?
Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,
n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
n’oba nga tokyantya,”
bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza Bakatonda Abalala
Mukama ow’eggye agamba nti,
“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
wakuba obwamalaaya
ng’ovuunamira bakatonda abalala.
Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
bisigala bikyalabika,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
ngeraga eno n’eri,
ng’endogoyi ey’omu nsiko
eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
Tokooya bigere byo,
era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
nteekwa okubanoonya.”
Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
era ne bannabbi baayo,
nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
Kale bakatonda be weekolera baluwa?
Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
Okubonerezebwa Kutuuse
“Lwaki munneemulugunyiza?
Mwenna mwanneeddiimira,”
bw’ayogera Mukama.
Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
ng’empologoma bw’etta.
Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.
Mbadde nga ddungu gye muli
ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
Bannerabidde!
Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
ogamba nti, “Sirina musango,
ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
nga Bwasuli bwe yakuswaza.
Era n’eyo olivaayo
ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
tagenda kukuyamba.
Yuda Omukazi Atali Mwesigwa
“Omusajja bw’agoba mukazi we,
omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
bw’ayogera Mukama.
Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
tokwatibwa nsonyi.
Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange
okuva mu buto bwange,
onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
Isirayiri, Atali Mwesigwa
Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,
“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
wansi wa buli muti oguyimiridde,
era ne mutaŋŋondera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
“Nze kennyini nalowooza
“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,
era mbawe ensi eyeegombebwa,
nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.
Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’
ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,
bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”
bw’ayogera Mukama.
Okuyitibwa Okwenenya
Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri
kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,
nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,
ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala
temuli kantu.
Ddala mu Mukama Katonda waffe
mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
Naye okuva mu buto bwaffe
bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala
bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,
batabani baabwe ne bawala baabwe.
Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde
kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,
okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;
kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
“eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
n’otosagaasagana,
era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya
era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’
olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa
era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,
“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,
temusiga mu maggwa.
Mukoowoole Mukama,
mweweeyo mutukuze emitima gyammwe
mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,
obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,
ne wataba ayinza kubuzikiza.”
Yuda Erumbibwa
“Kirangirire mu Yuda
era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
okuzikiriza okw’amaanyi.”
Empologoma evudde mu kisaka kyayo,
omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.
Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa
bibuleko abibeeramu.
Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,
kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,
bakabona basamaalirire
ne bannabbi beewuunye.”
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
Laba ajja ng’ebire,
amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
“Labula amawanga nti ajja:
kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
nga balumba ebibuga bya Yuda.
Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
“Empisa zammwe,
n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
Nga kya bulumi!
Nga kifumita omutima.”
Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
Okuzikirizibwa kweyongeddeko
era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo
n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
“Kubanga abantu bange basirusiru,
tebammanyi.
Baana abatalina magezi;
abatategeera.
Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,
tebamanyi kukola birungi.”
Natunuulira ensi,
nga njereere,
ate ne ntunula ne ku ggulu,
ng’ekitangaala kigenze.
Natunuulira agasozi
nga gajugumira,
n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
olw’obusungu bwe obungi.
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Ensi yonna eriyonoonebwa,
wadde nga sirigizikiririza ddala.
Noolwekyo ensi erikungubaga
era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
tewali abibeeramu.
Okola ki ggwe,
ggwe eyayonoonebwa?
Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Tewali n’Omu Mugolokofu
“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
tunulatunula olabe,
noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
omwesimbu ow’amazima,
nnaasonyiwa ekibuga kino.
Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
baba balayirira bwereere.”
Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
era bagaanyi okwenenya.
Ne njogera nti,
“Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.
Kale ndigenda eri abakulembeze
njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
nga baakutula ebisiba.
Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
okudda ennyuma kunene.
“Mbasonyiwe ntya?
Abaana bammwe banvuddeko,
ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
buli muntu ng’akaayanira muka munne.
Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
efaanana bw’etyo?”
Ekiragiro ky’Okulumba Yuda
“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
kubanga si bantu ba Mukama.
Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
“Talina kyajja kukola,
tewali kabi kanaatugwako,
era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
Bannabbi mpewo buwewo
era ekigambo tekibaliimu;
noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,
“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,
ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,
n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Ensi eyaguma ey’edda,
abantu ab’olulimi lwe mutamanyi
aboogera bye mutategeera
omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
bonna balwanyi nnamige.
Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;
balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,
ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
“Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
kirangirire mu Yuda.
Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
“temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
Bajeemye banvuddeko.
Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
eya ddumbi n’eya ttoggo,
mu ntuuko zaayo;
atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
Batega abantu omutego.
Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
ne bagejja era ne banyirira.
Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
bw’ayogera Mukama.
“Nneme okwesasuza ku ggwanga
eriri nga eryo?
“Ekigambo eky’ekitalo
era eky’ekivve kigudde mu nsi:
Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
munaakola mutya?”
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,
“Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
Kino Mukama ky’agamba nti,
“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,
“Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu
Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.
Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.
“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.
“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.
“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”
Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Okugaana Okuwulira Bannabbi
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Ekiwonvu eky’Okufiiramu
“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.
“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Ekibi n’Okubonerezebwa
“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
babikomya kungulu nga boogera nti,
Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
balikka lwe balibonerezebwa,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
biribaggyibwako.
Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
Nnina ennaku etewonyezeka,
omutima gwange gwennyise.
Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
okuva mu nsi ey’ewala.
“Mukama taliimu mu Sayuuni?
Kabaka we takyalimu?”
“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
bakatonda abalala abatagasa?”
“Amakungula gayise,
n’ekyeya kiyise,
tetulokolebbwa.”
Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
Nkaaba ne nzijula ennaku.
Teri ddagala mu Gireyaadi?
Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
tekiwonyezebwa?
Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
n’amaaso gange luzzi lwa maziga,
nnandikaabye emisana n’ekiro
olw’abantu bange be batta!
Woowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.
“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
Mubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
kiki ate kye nnaakolera abantu bange
kubanga boonoonye?
Olulimi lwabwe kasaale akatta,
lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
eriri nga lino?”
Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
era mutumye abasingayo obumanyirivu.
Leka bajje mangu
batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
‘Nga tunyagiddwa!
Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
oba omugagga mu bugagga bwe.
Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
bw’ayogera Mukama.
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Katonda ne Bakatonda Abalala
Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Temugobereranga makubo g’amawanga
oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,
kubanga amawanga ge byeraliikirira.
Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu
“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
era tebiriimu bulamu.
Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Okuzikirira Okujja
Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
mmwe abazingiziddwa.
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba nfuumuula abantu
mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
balyoke bawambibwe.”
Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange
ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
Eweema yange eyonooneddwa,
era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
kuzimba weema yange
wadde okuzimba ekigango kyange.
Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
Wuliriza!
Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.
Okusaba kwa Yeremiya
Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
si mu busungu bwo,
si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
agatakutwala ng’ekikulu,
ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
bamuliiridde ddala
era ne boonoona ensi ye.
Yuda Amenye Endagaano
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”
Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”
Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’
“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.
“Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?
Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?
Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”
Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
amatabi gaagwo gakutuke.
Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.
Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,
“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,
ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,
erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”
Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.
Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.” Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”
Okwemulugunya kwa Yeremiya
Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
Wabasimba, emirandira ne ginywera,
bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
Ensi erikoma ddi okwonooneka,
n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
“Katonda taalabe binaatutuukako.”
Katonda Addamu
“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
n’oggwaamu amaanyi
oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
nabo bennyini bakwefuukidde,
beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
wadde nga bakwogerako bulungi.”
Ennaku ya Mukama olw’Abantu be
“Njabulidde ennyumba yange,
ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
mu mikono gy’abalabe baabwe.
Abantu bange be nalonda
banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
noolwekyo mbakyaye.
Abantu bange be nalonda
tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
muzireete zirye.
Abasumba bangi
boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
ensi yange ennungi bagirese njereere.
Eyonooneddwa efuuse ddungu
esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
Abanyazi bazze
batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
awataliiwo n’omu kuwona.
Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
Olugero lw’Ekita
“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi
Wuliriza ontegere okutu;
toba na malala,
Mukama y’akyogedde.
Mukama Katonda wo
mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
Naye bwe mutaafeeyo,
emmeeme yange eneekaabira mu kyama
olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
gakulukuse amaziga
era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
Gamba kabaka era ne namasole nti,
“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
yonna yaakutwalibwa.
Muyimuse amaaso gammwe
mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
endiga ezaabeeyinuzanga?
Muligamba mutya Mukama
bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
ng’omukazi alumwa okuzaala?
Era bwe weebuuza nti,
“Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
Guno gwe mugabo gwo
gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
obwereere bwammwe ne bulabika.
Ndabye obwenzi bwammwe
n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Ekyeya, Enjala, n’Ekitala
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.
“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
bakaabira ensi,
era omulanga
gusimbuse mu Yerusaalemi.
Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
n’essuubi nga libaweddemu;
babikka amaaso gaabwe.
Ettaka lyatise
kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
babikka ku mitwe gyabwe.
N’empeewo ku ttale ezaala
n’ereka awo omwana gwayo
kubanga tewali muddo.
N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
kubanga tezirina kye zirya.”
Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
tukwonoonye nnyo.
Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
era tuyitibwa linnya lyo.
Totuleka.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,
“Baagala nnyo okubula,
tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”
Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”
Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe. Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala. N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.
“Kino ky’oba obagamba nti,
“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
bafunye ekiwundu ekinene,
ekintu eky’amaanyi.
Bwe ŋŋenda mu byalo
ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
Yuda ogigaanidde ddala?
Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye laba tufunye bulabe bwereere.
Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
kubanga ddala twayonoona gy’oli.
Olw’erinnya lyo totugoba,
tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
togimenya, gituukirize.
Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
kubanga ggwe okola bino byonna.
Yuda Wakuzikirira
Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
Oba ani alikukungubagira?
Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.
“Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
ne mbazikiriza.
Sikyasobola
kukukwatirwa kisa.
Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
Bannamwandu beeyongedde obungi
okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
obubalagaze n’entiisa.
Eyazaala omusanvu ayongobedde,
awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
mu maaso ga balabe baabwe,”
bwayogera Mukama.
Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
kyokka buli muntu ankolimira.
Mukama agamba nti,
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Yeremiya Yeekaabirako
Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku olw’Akabi
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, “Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.
“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
“Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
era alina omutima oguva ku Katonda.
Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
era teguliremwa kubala bibala.
Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
era gulwadde endwadde etawonyezeka.
Ani ayinza okugutegeera?
“Nze Mukama nkebera omutima,
ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
ng’ebikolwa bye bwe biri.”
Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
Ekifo kyaffe ekitukuvu,
ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
kubanga bavudde ku Mukama,
oluzzi olw’amazzi amalamu.
Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
ndokola nange nnaalokoka,
kubanga ggwe gwe ntendereza.
Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
“Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
Ka kituukirire nno kaakano!”
Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
Toba wa ntiisa gye ndi,
ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
Abo abanjigganya leka baswale,
era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
bazikiririze ddala.
Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”
Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba
Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, “Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.
“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”
Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,
“Mwebuuzeeko mu mawanga.
Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
akoze ekintu eky’ekivve.
Omuzira oguli ku Lebanooni
gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
gaali galeseeyoko okukulukuta?
Naye ate abantu bange banneerabidde,
banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”
Ompulirize, Ayi Mukama,
owulirize abampakanya kye bagamba.
Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
ne nkaaba ku lwabwe,
nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
abasajja baabwe battibwe;
abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
era bateze ebigere byange emitego.
Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
Olugero lw’Ensumbi Eyayatika
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”
Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira
Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
Okwemulugunya kwa Yeremiya
Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
Naye bwe ŋŋamba nti,
“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
era ddala sisobola.
Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
Mumuloope.
Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
tumugweko
tuwoolere eggwanga.”
Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
Muyimbire Mukama Katonda.
Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
Lukolimirwe
olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
luleme kuweebwa mukisa!
Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
agaamusanyusa ennyo,
ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
Mmange yandibadde entaana yange,
olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
Lwaki nava mu lubuto
okulaba emitawaana n’obuyinike
era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?
Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, “Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”
Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; ggwe ennyumba ya Dawudi,
“ ‘kino Mukama ky’agamba:
Musale emisango mu bwenkanya,
mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
nga tewakyali n’omu abuziyiza.
Laba nkugguddeko olutalo,
ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
bw’ayogera Mukama.
Omusango eri Bakabaka Ababi
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,
“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
Ndikusindikira abakuzikiriza,
buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
ne bagisuula mu muliro.
“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
Temukaabira kabaka afudde
oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,
ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya
abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere
n’atabasasula mpeera yaabwe.
Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene
n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’
Kale nnaakola amadirisa amanene
nnaateekamu emivule
era nnaasiigako langi emyufu.
“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?
Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?
Yakola ebituufu eby’obwenkanya.
Noolwekyo byonna
byamugendera bulungi.
Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
bw’ayogera Mukama.
“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe
biri ku magoba ag’obukuusa,
ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango
ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,
“Tebalimukungubagira;
‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
obugagga bwe!
Aliziikibwa
nga bwe baziika endogoyi,
akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”
“Genda mu Lebanooni okaabe,
leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
togonderanga ku ddoboozi lyange.
Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
Mmwe abali mu Lebanooni,22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi
abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. “Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”
Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
Ayi ggwe ensi, ensi,
wulira ekigambo kya Katonda!
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
oba aliddayo okufuga mu Yuda.”
Ettabi Ettukuvu
“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. “Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
“Ennaku zijja,
lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
Mukama Obutukuvu Bwaffe.
“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.
Bannabbi Abalimba
Ebikwata ku bannabbi:
omutima gwange gwennyise mu nda yange
amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
n’ebigambo bye ebitukuvu.
Ensi ejjudde abenzi;
olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
bw’ayogera Mukama.
“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
era bajja kusuulibwa mu kizikiza
era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
bw’ayogera Mukama.
“Mu bannabbi b’e Samaliya
nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
ne babuza abantu bange Isirayiri.
Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
ndabye ekintu ekibi ennyo.
Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,
“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,
“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
Bagamba abo abannyooma nti,
‘Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
Naye ani ku bo
eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
oba okuwulira ekigambo kye?
Laba, omuyaga gwa Mukama
gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
okutuusa ng’amaze okutuukiriza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. Situmanga bannabbi bano,
songa bagenda
badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
songa bategeeza obunnabbi.
Naye singa bayimirira mu maaso gange,
bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
so si abeera ewala?”
bw’ayogera Mukama.
“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
ne sisobola kumulaba?”
bw’ayogera Mukama.
“Sijjuza eggulu n’ensi?”
bw’ayogera Mukama.
“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. “Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.
“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. “Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.
Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba
“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”
Ebibbo by’Emitiini
Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. ‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Emyaka Nsanvu egy’Obusibe
Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”
Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;
Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, n’abagwira bonna abaaliyo;
bakabaka ba Uzi bonna,
ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,
n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,
bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,
ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;
ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;
n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.
Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,
“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
bw’ayogera Mukama.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
Abasumba tebaabeeko na buddukiro,
n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
Muwulire okukaaba kw’abasumba,
okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,
kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
Amalundiro amalungi galifuuka matongo
olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
Ajja kuleka ekisulo kye
ng’empologoma bw’eva w’esula,
n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi
era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
Yeremiya Atiisibwatiisibwa Okuttibwa
Awo Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga yakalya obwakabaka, ekigambo kino kyajja okuva eri Mukama. “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Mukama oyogere eri abantu bonna ab’ebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya Mukama. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na ky’olekayo. Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe. Bagambe, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde, era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko, ndifuula enju eno nga Siiro era n’ekibuga kino ng’ekintu eky’okukolimirwa mu mawanga ag’ensi.’ ”
Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo bino mu nnyumba ya Mukama. Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya Mukama. Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”
Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde. Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko. Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu. Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”
Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna eky’abantu nti, “Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’
Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”
Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno. Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri. Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako, ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe n’ekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale.
Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.
Yuda Alibeera Muddu wa Nebukadduneeza
Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama: Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti: “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo, oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda. Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe. N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala. Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we. Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.
“ ‘ “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange. Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’ Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira. Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.” ’ ”
Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu. Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli Mukama by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni? Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba. ‘Sibatumanga,’ bw’ayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ”
Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino Mukama ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba. Temubawuliriza. Muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo? Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni. Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino, kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi. Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti, ‘Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,’ ” bw’ayogera Mukama.
Kananiya Nnabbi ow’Obulimba
Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni. Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni. Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’ ”
Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti, “Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni. Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira. Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi. Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”
Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya, n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.
Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ”
Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba. Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ ”
Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.
Ebbaluwa eri Abawaŋŋanguse
Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi. Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi. Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti,
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, “Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera. Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.” Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.
Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama. “Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama. “Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna. Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.
Muyinza okugamba nti, “Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.” Naye kino Mukama ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse. Bw’ati bwayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo. Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera. Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera Mukama.
Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni. Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba. Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’ Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera Mukama.
Obubaka eri Semaaya
Semaaya Omunekeramu mugambe nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti, ‘Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba. Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya ow’e Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe? Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ”
Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba, kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’ ”
Isirayiri Azzibwawo
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,
bulabe teri mirembe.
Mubuuze mulabe.
Omusajja alumwa okuzaala?
Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi
ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,
buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
naye aliwona n’akiyitamu.
“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,
ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe
era ne mbasaleko amasamba,
ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe
ne Dawudi kabaka waabwe
gwe ndibayimusiza.
“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’
bw’ayogera Mukama.
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,
nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,
era tewali n’omu alimutiisatiisa.
Ndi wamu nammwe
era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
siribazikiririza ddala mmwe,’
bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,
Ebisago byo si byakuwona.
Tewali n’omu wa kukuwolereza,
tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
Abakuyamba bonna bakwerabidde
tebakufaako.
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze
ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo
n’ebibi byo bingi ddala.
Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
nkuleeseeko ebintu bino.
“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
abo abaakwelula balyelulwa.
Naye ndikuzzaawo owone,
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
era n’eddoboozi ery’okujaguza,
ndibaaza, era tebaliba batono,
ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.
Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,
kubanga ani oyo alyewaayo
okunyiikira okubeera okumpi nange?’
bw’ayogera Mukama.
‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
Laba, omuyaga gwa Mukama
gulikuntira mu kiruyi,
empewo ey’amaanyi
eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
Obusungu bwa Mukama obubuubuuka
tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezirijja,
kino mulikitegeera.
“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Abantu abawona ekitala
baliraba ekisa mu ddungu.
Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,
“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
ofulume ozine n’abo abasanyuka.
Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
Walibeerawo olunaku
abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
eri Mukama Katonda waffe.’ ”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
“Ayi Mukama, lokola abantu bo,
abaasigalawo ku Isirayiri.”
Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
era abantu bangi balikomawo.
Balikomawo nga bakaaba,
balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
Kubanga Mukama aligula Yakobo
era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
era tebalyongera kulaba nnaku.
Abawala balizina beesiime,
n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
bw’ayogera Mukama.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
era agaanye okusirisibwa,
kubanga abaana be baweddewo.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
bw’ayogera Mukama.
Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
Waliwo essuubi,
bw’ayogera Mukama.
Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.
“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
Nga mmaze okubula,
neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
nnina ekisa kingi gy’ali,”
bw’ayogera Mukama.
“Muteeke ebipande ku nguudo;
muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
komawo mu bibuga byo.
Olituusa ddi okudda eno n’eri,
ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. “Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa31:29 emizabbibu gitera okuba nga giwoomerera noolwekyo tukisome nti giwoomerera,
n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”
Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
era n’ennyumba ya Yuda.
Teribeera ng’endagaano eri
gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
bw’ayogera Mukama.
“Eno y’endagaano gye nnaakola
n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
nabo balibeera bantu bange.
Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Oyo ateekawo enjuba
okwaka emisana,
n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja
amayengo gaayo ne gawuluguma;
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
“Amateeka gano
nga bwe gavudde mu maaso gange,
n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga
olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa
n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,
olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri
olw’ebyo bye bakoze,”
bw’ayogera Mukama.
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”
Yeremiya Agula Ennimiro
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza. Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.
Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba. Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso. Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”
Yeremiya n’agamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira: Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’
“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’
“Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza. Ne nteeka omukono ku kiwandiiko ky’endagaano okugulirwa ettaka ne nkissaako n’akabonero, ne nfuna abajulirwa, ne mpima ffeeza ku minzaani. Ne ntwala ekiwandiiko ekimpa obwannannyini ekirimu enkola era n’ebisuubirwa okugobererwa, era ne kkopi ey’olwatu. Ne mpa Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya ekiwandiiko ky’obwannannyini, Kanameri omwana wa kojjange nga waali n’abajulirwa nga weebali abaateeka emikono ku kiwandiiko eky’obwannannyini n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw’omukuumi.
“Ne nkuutirira Baluki mu maaso gaabwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Twala ebiwandiiko bino byombi, ekisibeko envumbo n’ekitali kisibeko obiteeke mu nsumbi ey’ebbumba bisobole okulwawo ebbanga gwanvu. Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye Katonda wa Isirayiri nti, Ennyumba, n’ebibanja n’ennimiro ez’emizabbibu biriddamu okugulibwa mu nsi eno.’
“Nga mmaze okuwaayo ekiwandiiko kino eri Baluki mutabani wa Neriya, nasaba Mukama nti,
“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema. Olaga okwagala kwo eri enkumi n’enkumi ate oleeta ekibonerezo ky’ebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda ow’ekitalo era ow’amaanyi, ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri. Wakola obubonero n’ebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira. Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi. Wabawa ensi eno gye wali olayidde okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Baagituukamu ne bagitwala, naye tebaakugondera wadde okugoberera amateeka go, byonna bye wabalagira tebaliiko wadde na kimu kye baakola. Kyewava obaleetako akabi kano konna.
“Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba. Era wadde ng’ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo n’abajulirwa.’ ”
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema? Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abanaakiwamba. Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’
“Abantu ba Isirayiri ne Yuda bye bakoze bibi byereere mu maaso gange okuva mu buvubuka bwabwe; era ddala abantu ba Isirayiri tebalina kirala kye bakoze wabula okunnyiiza n’ebyo emikono gyabwe gye gikoze, bw’ayogera Mukama. Okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa ne leero, ekibuga kino kindeetedde obusungu bungi n’ekiruyi, noolwekyo nteekwa okukiggya mu maaso gange. Abantu ba Isirayiri ne Yuda bannyiizizza olw’ebibi byonna bye bakoze, bo ne bakabaka baabwe n’abakungu baabwe, ne bakabona baabwe ne bannabbi, abasajja ba Yuda n’abantu ba Yerusaalemi. Banvaako ne bankuba amabega mu kifo ky’okuntunuulira; wadde nga nabayigiriza ne nkiddiŋŋana emirundi mingi naye tebaawuliriza wadde okufaayo eri okukangavvulwa. Baateekawo ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakole n’emikono, eby’omuzizo mu nnyumba eyitibwa Erinnya lyange ne bagyonoona. Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’ Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe. Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo. Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako. Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza. Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’ Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”
Ebisuubizo by’Okuddawo
Yeremiya bwe yali ng’akyali mu kkomera mu luggya lw’omukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era n’agiteekawo, Mukama lye linnya lye: ‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’ Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.
“ ‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu. Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera. Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera. Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, n’essanyu, n’ettendo era n’ekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olw’okukulaakulana n’emirembe gye nkiwa.’
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti,
“ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye,
kubanga Mukama mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro ag’abasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe. Mu bibuga eby’ensi ey’obusozi, eby’eri wansi w’ensozi ez’omu bugwanjuba era ne Negebu, mu kitundu kya Benyamini, mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi n’ebibuga ebyetoolodde Yuda mwonna ebisibo biriddamu okuyita wansi w’omukono gw’oyo abibala,’ bw’ayogera Mukama.
“ ‘Ennaku zijja,’ bw’ayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo eky’ekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.
“ ‘Mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo
ndireeta Ettabi ettukuvu mu lunyiriri lwa Dawudi
era alikola eby’amazima era ebituufu mu nsi.
Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa
ne Yerusaalemi alibeera mirembe.
Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti,
Mukama Obutuukirivu bwaffe.’ ”
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bw’ennyumba ya Isirayiri, wadde bakabona, n’Abaleevi, okulemwa okubeera n’omusajja ow’okuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo eky’empeke era n’okuwaayo ssaddaaka.”
Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo, olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’ ”
Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi, olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”
Okulabula Zeddekiya
Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amaggye ge gonna, n’abantu bonna ab’ensi ze yali afuga bwe baali balwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebikyetoolodde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukyokya. Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gy’ali. Oliraba kabaka w’e Babulooni n’amaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.
“ ‘Wabula wulira ekisuubizo kya Mukama, ggwe Zeddekiya kabaka wa Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikukwatako nti, Tolifa kitala; olifa mu mirembe. Ng’abantu bwe bakuma ebyoto mu nnyimbe za bakitaawo, bakabaka abasooka, bwe batyo bwe balikuwa ekitiibwa nga bakujjukira nga bakukungubagira nga bagamba nti, “Woowe mukama waffe!” Nze kennyini mpa ekisuubizo kino, bw’ayogera Mukama.’ ”
Awo Yeremiya nnabbi bino byonna n’abibuulira Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu Yerusaalemi, nga amaggye ga kabaka w’e Babulooni bwe galwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebirala ebya Yuda, Lakisi ne Azeka, ebyali bikyanywereddewo. Bino bye bibuga byokka ebyaliko eminaala egyali gisigadde mu Yuda.
Eddembe ly’Abaddu
Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe. Buli muntu yenna yali ateekwa okuta omuddu we Omwebbulaniya, abasajja n’abakazi; nga tewali n’omu alina kukuumira Muyudaaya munne mu busibe. Abakungu bonna n’abantu abaayingira mu ndagaano eno bakkiriziganya nti baali bakusumulula abaddu baabwe abasajja n’abakazi baleme kubakuumira mu buddu nate. Era ne babasumulula. Naye oluvannyuma ne bakyuka ne bazzaayo abaddu be baali bawadde eddembe.
Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, mu nsi ey’obuddu. Nagamba nti, ‘Buli mwaka ogw’omusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gy’ali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako. Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange. Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja n’abakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate.
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi. Abasajja abamenye endagaano yange ne batatuukiriza bweyamo buli mu ndagaano gye baakola mu maaso gange, nzija kubakolako ng’ennyana gye basalamu ebitundu ebibiri ne bayita wakati w’ebitundu byayo. Abakulembeze b’omu Yuda ne Yerusaalemi, n’abakungu b’embuga ya kabaka, ne bakabona n’abantu bonna ab’omu nsi abaatambulira wakati w’ebitundu by’ennyana, ndibawaayo eri abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe gya kufuuka mmere eri ebinyonyi eby’omu bbanga era n’eri ensolo ez’omu nsiko.
“Ndiwaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abakungu be bonna eri abalabe baabwe ababanoonya okubatta, n’eri eggye lya kabaka w’e Babulooni, eribadde lizzeeyo emabega. Ŋŋenda kuwa ekiragiro, bw’ayogera Mukama, era ndibakomyawo mu kibuga kino. Balikirwanyisa bakitwale, bakyokye. Era ndizikiriza ebibuga bya Yuda waleme kubaawo abibeeramu.”
Abalekabu
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti, “Genda eri ekika eky’Abalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya Mukama obawe envinnyo banywe.”
Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna eky’Abalekabu. Ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu w’ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi w’oluggi. Ne nteeka ebibya ebijjudde envinnyo n’ebikopo ebimu mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku nvinnyo.”
Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo. Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’ Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku nvinnyo, oba okuzimba ennyumba okusulamu oba okuba n’ennimiro ez’emizabbibu, oba ebibanja oba ebirime. Tusula mu weema era tugondedde bulambalamba byonna jjajjaffe Yonadabu bye yatulagira. Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange? Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde. Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”
Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’ Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”
Yekoyakimu Ayokya Ekiwandiiko kya Yeremiya
Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti, “Twala omuzingo gw’empapula oguwandiikeko ebigambo byonna bye njogedde naawe ebikwata ku Isirayiri, ne Yuda n’amawanga gonna okuva mu biseera bye natandika okwogera naawe okuva mu bufuzi bwa Yosiya okutuusa kaakano. Oboolyawo abantu ba Yuda bwe banaawulira ku bikangabwa bye ntegeka okubateekako, buli omu ku bo anaakyuka okuleka amakubo ge amabi, ndyoke mbasonyiwe ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwabwe.”
Awo Yeremiya n’ayita Baluki mutabani wa Neriya, era nga Yeremiya ayogera ebigambo byonna Mukama bye yali ayogedde naye, Baluki n’abiwandiika ku muzingo. Awo Yeremiya n’agamba Baluki nti, “Nagaanibwa okugenda mu nnyumba ya Mukama. Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw’okusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo by’owandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe. Oboolyawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Mukama, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu n’ekiruyi Mukama by’agambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.”
Baluki mutabani wa Neriya n’akola byonna nnabbi Yeremiya bye yamugamba okukola; n’asomera, ebigambo bya Mukama okuva mu muzingo, mu yeekaalu ya Mukama. Mu mwezi ogwomwenda ogw’omwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekiseera eky’okusiibira mu maaso ga Mukama kyalangirirwa eri abantu bonna mu Yerusaalemi era n’abo abaali bavudde mu bibuga bya Yuda. Awo ng’abantu bonna bawulira, Baluki n’asoma ebigambo bya Yeremiya okuva mu muzingo, mu nnyumba ya Mukama ng’ali mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali mu luggya olw’ekyengulu, mu mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Mukama ng’abantu bonna bawulira.
Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira ebigambo bya Mukama byonna ebyali mu muzingo, n’agenda eri ennyumba y’omuwandiisi mu lubiri lwa kabaka, abakungu bonna gye baali batudde: Erisaama omuwandiisi, ne Deraya mutabani wa Semaaya, ne Erunasani mutabani wa Akubooli, ne Gemaliya mutabani wa Safani, ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya, n’abakungu bonna abalala. Mikaaya ng’ababuulidde byonna bye yali awulidde Baluki asomera abantu okuva ku muzingo, abakungu bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki amugambe nti, “Leeta omuzingo gw’osomedde abantu, naawe ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n’atwalira omuzingo mu mikono gye n’agubaleetera. Ne bamugamba nti, “Tuula wansi, ogutusomere.” Awo Baluki n’agubasomera.
Bwe baawulira ebigambo ebyo byonna, buli omu n’atunula ku munne ng’atidde ne bagamba Baluki nti, “Tuteekwa okubuulira kabaka ebigambo bino byonna.” Awo ne babuuza Baluki nti, “Tubuulire, wazze otya okuwandiika bino byonna? Yeremiya ye yabikugambye?”
Baluki n’abaddamu nti, “Weewaawo ye yayogedde ebigambo bino byonna, nze ne mbiwandiika ne bwino ku muzingo.”
Awo abakungu bonna ne bagamba Baluki nti, “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke. Temukkiriza muntu yenna kumanya gye muli.”
Bwe baamala okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya ne bamutegeeza byonna. Kabaka n’atuma Yekudi okuleeta omuzingo, Yekudi n’aguleeta okuva mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi agusomere kabaka n’abakungu bonna abaali bamuyimiridde ku lusegere. Gwali mwezi gwa mwenda ne kabaka yali atudde mu nnyumba etuulwamu mu budde obw’obutiti, ng’omuliro gwakira mu kibya kyagwo mu maaso ge. Buli Yekudi lwe yasomangako empapula ssatu oba nnya ez’omuzingo, kabaka ng’azisala n’akambe k’omuwandiisi n’azisuula mu muliro okutuusa omuzingo gwonna lwe gwajjiira mu muliro. Kabaka n’abantu bonna abaawulira ebigambo bino tebaatya, wadde okuyuza engoye zaabwe. Newaakubadde nga Erunasani, ne Deraaya ne Gemaliya beegayirira kabaka obutayokya muzingo, teyabawuliriza. Naye kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azulyeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, wabula Mukama ng’abakwese.
Kabaka ng’amaze okwokya omuzingo ogwalimu ebigambo Baluki bye yali awandiise nga Yeremiya abyogera, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Twala omuzingo omulala oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku muzingo ogwasooka, Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya. Gamba ne Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Wayokya omuzingo ogwo n’ogamba nti, “Lwaki wakiwandiikamu nti kabaka w’e Babulooni alijja azikiririze ddala ensi eno agimalemu abantu n’ensolo?” Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama eri Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, Tajja kubeera na muntu n’omu kutuula ku ntebe ya Dawudi, n’omulambo gwe gulisuulibwa ebweru gwanikibwe mu musana emisana ne mu butiti ekiro. Ndimubonereza n’abaana be, ne bakalabaalaba be olw’okwonoona kwabwe. Ndimuleetako ne bonna ababeera mu Yerusaalemi ne bonna ababeera mu Yuda buli kibonoobono kye naboogerako, kubanga tebawulirizza.’ ”
Olwo Yeremiya n’atwala omuzingo omulala n’aguwa omuwandiisi Baluki mutabani wa Neriya; nga Yeremiya ayogera, Baluki yawandiikamu ebigambo byonna ebyali mu muzingo guli Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya mu muliro. N’ebigambo bingi ebifaanana bwe bityo byayongerwamu.
Yeremiya Asibibwa mu Kkomera
Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu. Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.
Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera. Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri. Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka. Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo, Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo. Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu. Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.
Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene. Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”
Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera? Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno? Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”
Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.
Yeremiya Asuulibwa mu Kinnya
Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’ Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ”
Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo. Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.
Zeddekiya Addamu Okubuuza Yeremiya
Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”
Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu. Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”
Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa. Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze: Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,
“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
Mikwano gyo gikudduseeko.’
“Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”
Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa. Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’ bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ”
Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.
Okugwa kwa Yerusaalemi
Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa:
Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.
Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.
Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.
Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti, “Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni, ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.
Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe. Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo b’otya. Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”
Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe. Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino. Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera. Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.” Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.
Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.
Gedaliya Attibwa
Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi. Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”
Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe, bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”
Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”
Mu mwezi ogw’omusanvu Isimayiri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, omu ku balangira ate nga ye omu ku bakulu b’eggye lya Yuda n’ajja n’abasajja kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali nga balya, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n’ekitala, gavana, kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi. Isimayiri n’atta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n’abaserikale Abakaludaaya abaaliyo.
Olunaku olwaddirira Gedaliya ng’amaze okuttibwa, nga tewannabaawo akimanyiiko, abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’obubaane eby’omu nnyumba ya Mukama. Isimayiri omwana wa Nesaniya n’ava e Mizupa okubasisinkana ng’agenda bw’akaaba. Bwe yabatuukako, n’abagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.” Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya. Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala. Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.
Isimayiri n’awamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka n’abalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni.
Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze, ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi n’amazzi amangi e Gibyoni. Abantu bonna abaali ne Isimayiri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka. Abantu bonna Isimayiri be yali awambye e Mizupa ne bakyuka ne bagenda eri Yokanaani mutabani wa Kaleya. Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni.
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, n’abakazi, n’abaana n’abakungu b’omu lubiri be yali aggye e Gibyoni. Ne beeyongerayo ne bayimirirako e Gerusukimamu okumpi ne Besirekemu, nga boolekedde e Misiri, badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.
Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”
Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”
Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”
Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, ‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’
“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’
“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”
Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba, Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’ Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda. Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda. Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya. Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.
Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba. Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka. Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala. Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko. Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’ ”
Ekigambo ne kijjira Yeremiya ekikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi y’e Misiri e Migudooli n’e Tapaneese n’e Noofu ne mu nsi ey’e Pasuloosi nga kigamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako. Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’ Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane. Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.
“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu? Lwaki munsunguwaza olw’ebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke eky’omuzizo n’eky’okukolimirwa mu mawanga gonna ag’omu nsi. Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era n’ebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? Naye n’okutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange n’ebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna. Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa n’eky’okusekererwa era n’okukolimirwa. Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi. Tewali n’omu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”
Awo abasajja bonna abaali bamanyi nga bakazi baabwe baali bootereza bakatonda abalala obubaane, n’abakazi abalala abaaliwo, olukuŋŋaana nga lunene n’abantu bonna abaali babeera mu Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, “Tetujja kuwulira bubaka bw’oyogedde naffe mu linnya lya Mukama! Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, tuweeyo n’ebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe n’abakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z’e Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi. Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”
Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa?”
Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, abasajja n’abakazi n’abantu bonna abaali bamuzzeemu nti, “Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, n’abakungu n’abantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira n’alowoozaako? Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi n’eby’emizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo n’ekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero. Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”
Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, ng’ogasseeko abakazi nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda, abantu mwenna aba Yuda mu Misiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’
“Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe! Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe Abayudaaya mwenna abali mu Misiri. ‘Ndayira mu linnya lyange ekkulu,’ bw’ayogera Mukama nti, ‘Tewali n’omu ku abo abaava mu Yuda ababeera mu Misiri, aliddayo okuyita erinnya lyange wadde okulayira nti, “Nga Mukama Katonda bw’ali omulamu.” Kubanga mbawaddeyo eri akabi, si lwa bulungi; Abayudaaya abali mu Misiri balimalibwawo n’ekitala n’enjala okutuusa bonna lwe baliggwaawo. Abo abaliwona ekitala ne baddayo mu Yuda okuva e Misiri baliba batono nnyo. Olwo abalisigalawo bonna okuva mu Yuda abajja okubeera mu Misiri, balitegeera ekigambo ekirikola, ekyange oba ekyabwe.
“ ‘Kano ke kanaabeera akabonero gye muli nti ndibabonerereza mu kifo kino,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mulyoke mumanye nga okulabula kwange okw’okubabonereza kujja kutuukirira.’ Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ŋŋenda kuwaayo Falaawo Kofera kabaka w’e Misiri eri abalabe be abanoonya okumutta, nga bwe n’awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, omulabe eyamunoonya okumutta.’ ”
Obubaka eri Baluki
Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gy’oli, ggwe Baluki nti, Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’ ” Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna. Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”
Obubaka Obukwata ku Misiri
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:
Ebikwata ku Misiri:
Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.
“Mutegeke engabo zammwe,
ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
Mutegeke embalaasi
muzeebagale!
Muyimirire mu bifo byammwe
n’esseppeewo zammwe!
Muzigule amafumu,
mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
Kiki kye ndaba?
Batidde,
badda ennyuma,
abalwanyi baabwe bawanguddwa.
Badduka mu bwangu
awatali kutunula mabega,
era waliwo okufa ku buli luuyi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona
n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya.
Beesittala
ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.
“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira,
ng’emigga egy’amazzi agabimba?
Misiri eyimuka nga Kiyira,
ng’emigga egy’amazzi agabimba.
Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.
Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
Mulumbe, mmwe embalaasi!
Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi!
Mukumbe mmwe abalwanyi,
abasajja b’e Kuusi ne Puuti46:9 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya abeettika engabo,
abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba,
ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri.
Naye mwongerera bwereere obujjanjabi;
temujja kuwonyezebwa.
Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;
emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.
Omulwanyi omu alitomera omulala
bombi ne bagwa.”
Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:
“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?
Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
Balyesittala emirundi egiwera;
baligwiragana.
Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo
eri abantu baffe era n’ensi zaffe,
tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
Eyo gye baliwowogganira nti,
‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi
afiiriddwa omukisa gwe.’
“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
nga Kulumeeri ku nnyanja.
Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
ekiryaawo omutali bantu.
“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
N’abajaasi be abapangise
bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
ng’abatemi b’emiti.
Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
tebasobola kubalika.
Muwala wa Misiri aliswazibwa,
aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”
Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
era tewali alimutiisa.
Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
gye nabasaasaanyiza,
naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
siribaleka nga temubonerezebbwa.”
Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
emikono gyabwe gya kulebera.
Kubanga olunaku lutuuse
okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
olituusa ddi okwesalaasala?
“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”
Obubaka Obukwata ku Mowaabu
Ebikwata ku Mowaabu:
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
n’ekitala kirikugoberera.
Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
abawere ne bakaaba.
Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
n’olusenyu luzikirizibwe
kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
nga tewali abibeeramu.
“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
n’akawoowo ke tekakyukanga.
Naye ennaku zijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
baase n’ebibya bye.
Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
bwe yeesiga Beseri.
“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
abasajja abazira mu ntalo?’
Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
abavubuka be abato bagende battibwe,”
bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
akabi katuuse.
Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’
“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
mutuule ku ttaka,
mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
Muyimirire ku luguudo mulabe,
mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
nti Mowaabu kizikiridde.
Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
n’omukono gwe gumenyese,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mumutamiize;
kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
era asekererwe.
Isirayiri tewagisekereranga?
Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
buli lw’omwogerako?
Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
ku mumwa gw’empuku.
“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
olwa Mowaabu yenna nkaaba,
nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
ebyengedde era n’emizabbibu.
Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
Ndiggyawo
abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
Obugagga bwe baafuna buweddewo.
Buli mutwe mumwe
na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
kubanga njasizzayasizza Mowaabu
ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
Ebibuga birikwatibwa
n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
Mowaabu alizikirizibwa,
kubanga yajeemera Mukama.
Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu ba Mowaabu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Buli alidduka entiisa
aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
omwaka gw’okubonaabona kwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
Zikusanze ggwe, Mowaabu.
Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
ne bawala bammwe mu busibe.
“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
mu nnaku ezijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.
Obubaka Obukwata ku Amoni
Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Isirayiri terina baana balenzi?
Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
abo abagigoba,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
awamu ne bakabona n’abakungu.
Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
‘Ani alinnumba?’
Ndikuleetako entiisa,
okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.
“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Obubaka Obukwata ku Edomu
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Tewakyali magezi mu Temani?
Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
mu kiseera bwe ndimubonerereza.
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
tebandibbye byonna bye beetaaga?
Naye ndyambula Esawu mwerule;
ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
era wa kuggwaawo.
Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”
Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
Mugolokoke mukole olutalo!”
“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
abanyoomebwa mu bantu.
Entiisa gy’oleeta
n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
abo bonna abayitawo balyewuunya batye
olw’ebiwundu bye byonna.
Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
tewali musajja alikituulamu.
“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
Bwe baligwa ensi erikankana,
emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
Obubaka Obukwata ku Damasiko
Ebikwata ku Damasiko:
“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
Ddamasiko ayongobedde,
akyuse adduke
era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
ekibuga mwe nsanyukira?
Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
Obubaka Obukwata ku Kedali ne Kazoli
Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Golokoka, olumbe Kedali
ozikirize abantu be bugwanjuba.
Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
enju zaabwe ziryetikkibwa
n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
‘Akabi kavudde ku buli ludda!’
“Mudduke mwekukume mangu!
Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
ategese okubalumba.
“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
eriri mu kweyagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
abantu baalyo babeera awo bokka.
Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
tewali muntu alikituulamu.”
Obubaka Obukwata ku Eramu
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,
okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
era tewaliba nsi n’emu
abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
n’obusungu bwange obungi ennyo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Wabula ekiseera kijja,
lwe ndiddiramu Eramu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Obubaka Obukwata ku Babulooni
Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
“Buulira mu mawanga era olangirire,
yimusa bendera olangirire,
tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
Beri kiswale,
ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
era bitye.’
Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
mu ndagaano ey’emirembe gyonna
etegenda kwerabirwa.
“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
abasumba baabwe babawabizza
ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
“Mudduke okuva e Babulooni;
muleke ensi y’Abakaludaaya,
mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
abataddira awo ngalo nsa.
Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
ensiko, ensi enkalu, eddungu.
Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
olw’ebiwundu bye byonna.
“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
kubanga yajeemera Mukama Katonda.
Mumukube olube ku buli ludda.
Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
mumwesasuzeeko;
mumukole nga bw’akoze abalala.
Asiga mumuggye mu Babulooni,
n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
buli muntu adde eri abantu be.
“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
“Mulumbe ensi ye Merasayimu
n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mukole byonna bye mbalagidde.
Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
Ennyondo y’ensi yonna
ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
mu mawanga!
Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
kubanga wawakanya Mukama.
Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
mu nsi y’Abakaludaaya.
Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
waleme kusigalawo n’omu ku bo.
Mutte ennume zaabwe zonna,
muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
Omutukuvu wa Isirayiri.
Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
Oyo ow’amalala alyesittala agwe
era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
bagaanye okubata.
Omununuzi waabwe w’amaanyi,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
Balijjula entiisa.
Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
n’abagwira bonna abamubeeramu!
Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
Birinyagibwa!
Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
tewaliba n’omu alikisigalamu.
“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
Balina obusaale n’amafumu,
bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
ng’omukazi alumwa okuzaala.
Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
Ekibonerezo kya Babulooni
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza
alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
Ndituma abagwira e Babulooni
bamuwewe era bazikirize ensi ye;
balimulumba ku buli luuyi
ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
Omulasi talikuba busaale bwe,
taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.
Temusonyiwa batabani be;
muzikiririze ddala amaggye ge.
Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,
wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango
mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
“Mudduke Babulooni.
Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
alimusasula ekyo ekimusaanira.
Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
kyegavudde galaluka.
Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
oboolyawo anaawonyezebwa.
“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
“ ‘Mukama atulwaniridde,
mujje tukitegeeze mu Sayuuni
ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’
“Muwagale obusaale,
mukwate engabo!
Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,
kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.
Mukama aliwalana eggwanga,
aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
omugagga mu bintu eby’omuwendo,
enkomerero yo etuuse,
ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
era balireekaana nga bakuwangudde.
“Ensi yagikola n’amaanyi ge;
yagiteekawo n’amagezi ge,
n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.
Ebifaananyi bye bya bulimba;
tebirina mukka.
Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
kubanga yakola ebintu byonna,
nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,
n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
“Muli mbazzi yange,
ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
mmwe abazikiriza ensi yonna,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
nkusuule ku mayinja g’ensozi,
nkufuule olusozi olutakyayaka.
Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
bw’ayogera Mukama.
“Yimusa bendera mu ggwanga!
Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
n’amawanga ge bafuga.
Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
waleme kubaawo agibeeramu.
Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
Matalisi omu agoberera omulala,
omubaka omu n’agoberera munne,
okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti
ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
entindo z’emigga baziwambye,
ensenyi ziyidde omuliro,
n’abaserikale batidde.”
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
mu kiseera w’analinnyiririrwa;
ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
atutabudde,
tufuuse ekikompe ekyereere.
Atumize ng’omusota
n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,
ffe n’atusesema.
Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
bwe boogera abatuula mu Sayuuni.
“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”
bwayogera Yerusaalemi.
Mukama kyava ayogera nti,
“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;
Ndikaliza ennyanja ye
n’ensulo ze.
Babulooni kirifuuka bifunvu,
mpuku ya bibe,
ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,
ekifo omutali abeeramu.
Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
Naye nga bakyabuguumirira,
ndibategekera ekijjulo,
mbatamiize
balyoke balekaane nga baseka,
olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”
bw’ayogera Mukama.
“Ndibaserengesa
ng’abaana b’endiga, battibwe,
ng’endiga n’embuzi.
“Sesaki nga kiriwambibwa,
okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.
Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
Ennyanja eribuutikira Babulooni;
amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
Ebibuga bye birisigala matongo,
ensi enkalu ey’eddungu,
ensi eteriimu muntu,
eteyitamu muntu yenna.
Ndibonereza Beri mu Babulooni,
mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
“Mukiveemu, abantu bange!
Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;
olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,
eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,
era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
Kubanga ekiseera kijja
lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
okuva mu bukiikakkono,”
bw’ayogera Mukama.
“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
nga bonna abaafa mu nsi yonna
bwe baweddewo olwa Babulooni.
Mmwe abawonye ekitala,
mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
mulowooze ku Yerusaalemi.”
“Tuweddemu amaanyi
kubanga tuvumiddwa
era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
abaliko ebisago balisinda.
Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
ndimusindikira abazikiriza,”
bw’ayogera Mukama.
“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
eddoboozi ery’okuzikirira okunene
okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
Mukama alizikiriza Babulooni,
alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
Omuzikiriza alirumba Babulooni;
abalwanyi be baliwambibwa,
n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
alisasula mu bujjuvu.
Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”
Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.
Okugwa kwa Yerusaalemi
Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.
Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. N’akwatibwa.
Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi. Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya. Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi. Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni. Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu. Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.
Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika. Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka. Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga. Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.
Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.
Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.
Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse:
mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:
Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;
mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza,
n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;
mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu,
Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka.
Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.
Yekoyakini Asumululwa
Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.