- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Ekyabalamuzi
Ekitabo Ekiyitibwa Ekyabalamuzi
Balam
Bal
Ekitabo Ekiyitibwa
Ekyabalamuzi
Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”
Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni1:3 Simyoni Bazzukulu ba Simyoni n’abantu ba Yuda baali bazzukulu ba Leeya. nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.
Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba. Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be. Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja1:6 ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja Empisa ey’okusalako engalo ensajja n’ebigere ebisajja yakozesebwanga nnyo ku basibe mu bitundu ebyo. Ekyali kigendererwa mu kyo, kwe kulaba ng’abasibe tebadduka..
Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo. Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala, oluvannyuma ne bakyokya.
Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo. Ate Yuda n’alumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
Ate n’avaayo n’alumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi. Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.” Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.
Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?” N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga. Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.
Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma1:17 Koluma kitegeeza Kuzikiriza. Era Yuda n’awamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.
Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma. Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu. Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
N’abasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo. Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga ky’e Beseri edda ekyayitibwanga Luzi. Abakessi bwe baalaba omusajja ng’ava mu kibuga ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.” Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna. Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo. Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo. Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri. Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo. Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu, naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu n’abantu ba Aseri. Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo. Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi. Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo. Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.
Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”
Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa. Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.
Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri. Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali. Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo. Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi. Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi. Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
Okufuga kwa Osunieri
Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera. Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana. Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu. Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri. Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
Okufuga kwa Ekudi
Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe. Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki3:13 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti ([Lub 19:38]), ate Abamaleki baali bazzukulu ba Esawu ([Lub 36:12], [16]). Baaliraananga Abayisirayiri ate nga be balabe baabwe abasingirayo ddala okuba abakambwe. ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu. Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu. Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse. Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye. Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto; ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika. Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.
Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.” Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri. Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka. Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka. Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Samugali
Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.
Okufuga kwa Debola
Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Baraki awangula Sisera
Keberi Omukeeni4:11 Omukeeni Abakeeni baakolagananga nnyo n’Abayisirayiri okuviira ddala mu biseera bya Musa ([Kuv 3:1]). Baalwanira wamu n’Abayisirayiri, Abayisirayiri okuwangula ensi ya Kanani ([Bal 1:16]). yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Okuttibwa Kwa Sisera
Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani. Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.
Oluyimba lwa Debola
Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
“Mutendereze Mukama
kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
n’abantu ne beewaayo nga baagala.
“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
nze nnaayimbira Mukama Katonda wa Isirayiri.
“Mukama, bwe wava e Seyiri,
bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
baatambuliranga mu mpenda.
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
Bwe beefunira abakulembeze5:8 abakulembeze, kyokka era Abayisirayiri baali bavudde ku Katonda omulamu nga bagoberera bakatonda abalala abalala,
entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
Mutendereze Mukama.
“Mukyogereko mmwe,
abeebagala ku ndogoyi enjeru,
mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.
“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
Zuukuka, zuukuka Debola
zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
“Awo abakungu abaasigalawo
ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
era Isakaali yali wamu ne Baraki.
Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
ne babeera awali emyalo gyabwe.
Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
Naye tebaanyaga bintu.
Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi5:23 Merozi kyali kibuga mu Nafutaali; abantu baamu tebeetabanga mu kulwana ntalo newaakubadde okuwamba abalabe abawanguddwa, abalabe abo ne bwe baabanga badduka.
Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’
“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
mu kyenyi n’eyita namu.
Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
we yagwa we yafiira.
“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
ne yeddamu yekka.
‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
omuwala omu oba babiri buli musajja?
Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”
Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.
Abamidiyaani balumba Abayisirayiri
Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda. N’abawaayo mu mikono gy’Abamidiyaani6:1 Abamidiyaani baali bazzukulu ba Ibulayimu ne Ketula, omukyala gwe yawasa oluvannyuma lw’okufa kwa Saala ([Lub 25:2]) okumala emyaka musanvu. Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge. Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu ab’ebuvanjuba ne babalumbanga. Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna. Kubanga baayiikanga ng’enzige mu bungi nga tebabalika. Nga bajja n’eweema, ente, n’eŋŋamira zaabwe. Bwe batyo ne bazikiriza ensi. Abayisirayiri baajeezebwa nnyo Abamidiyaani, Abayisirayiri kyebaava balaajaanira Mukama Katonda.
Mukama atuma Nnabbi
Awo Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama olw’Abamidiyaani, Mukama, n’atumira Abayisirayiri Nnabbi, n’abagamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri agamba bw’ati: nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu, ne mbanunula okuva mu mikono gy’Abamisiri, ne mu mikono gy’abo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe; ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda b’Abamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu.’ Naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.”
Mukama Ayita Gidyoni
Malayika wa Mukama Katonda n’ajja mu Ofula, n’atuula wansi w’omuti omwera ogwali ogwa Yowaasi ow’omu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani. Malayika wa Mukama Katonda n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”
Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.”
Mukama Katonda n’amukyukira n’agamba nti, “Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?” N’amuddamu nti, “Ayi Mukama wange, nnyinza ntya okununula Abayisirayiri? Kubanga essiga mwe nva lye lisinga okunyoomebwa mu kika kya Manase ate nze nsembayo obuto mu maka ga kitaffe.” Mukama n’amugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.”
Gidyoni n’amuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange. Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” Mukama n’agamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lw’onookomawo.”
Ekiweebwayo Kya Gidyoni Kisiimibwa
Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa. Naye malayika wa Katonda n’amulagira nti, “Ddira ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni n’akola bw’atyo. Awo malayika wa Mukama Katonda n’akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama n’abulawo. Gidyoni n’ategeera ng’oyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni n’agamba nti, “Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.”
Naye Mukama Katonda n’amugamba nti, “Emirembe gibe ku ggwe tootya tojja kufa.”
Gidyoni n’azimbira Mukama Katonda ekyoto mu kifo ekyo; n’akituuma erinnya Yakuwasalumu (Mukama gy’emirembe); n’okutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula eky’ab’omu ssiga lya Abiezeri.
Gidyoni azikiriza ekyoto kya Baali
Ekiro ekyo Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali: mu kifo ekyo kungulu ozimbireko Mukama Katonda wo ekyoto mu nzimba entuufu eyalagirwa, oddire ente eyo eya sseddume gy’oggye mu kiraalo kya kitaawo ogiweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ng’ogyokya n’ebibajjo by’ekifaanannyi kya Asera.”
Awo Gidyoni n’atwala kkumi ku baddu be, n’akola nga Mukama bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olw’okutya ab’omu nju ya kitaawe n’abantu abalala ab’omu kibuga. Abantu b’omu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, n’ekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, n’ente eya ssava ng’eweereddwayo ku kyoto ekiggya. Ne beebuuza nti, “Ani akoze kino?”
Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi y’akikoze”.
Abantu b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era n’atemaatema n’ekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.” Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.” Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali.
Awo Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu b’ebuvanjuba ne beegatta bonna ne basomoka omugga Yoludaani ne basiisira mu kiwonvu ky’e Yezuleeri. Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere. N’atuma ababaka eri ab’ekika kya Manase nabo bamugoberere. N’atuma n’ababaka abalala eri ab’ekika kya Aseri, n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bamusisinkane.
Gidyoni asaba Katonda Obukakafu
Awo Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Obanga olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza, ka nteeke ebyoya by’endiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ng’ettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ng’olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza.” Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya by’endiga n’abikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba eky’amazzi. Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya by’endiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.” Ekiro ekyo Katonda n’akola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya by’endiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.
Gidyoni ayungula abalwanyi ebikumi bisatu
Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole. Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza. Noolwekyo kaakano genda olangirire eri abalwanyi bo nti, ‘Buli mutiitiizi yenna n’oyo akankana, ave ku lusozi luno Gireyaadi addeyo ewuwe.’ ” Abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo omutwalo gumu.
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”
Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa. Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe n’obuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ng’embwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.” Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe.
Olusiisira lw’Abamidiyaani lwamuli kyemmanga mu kiwonvu. Ekiro ekyo Mukama Katonda n’amulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo. Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo: era bw’onoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni n’omuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lw’Abamidiyaani.” Abamidiyaani, Abamaleki n’Abamawanga amalala ag’ebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ng’enzige; era n’eŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ng’empeke z’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.
Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.” Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”
Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.” Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.
N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola. Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”
Aba Midiyaani balinnyibwa ku nfeete
Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja ky’abakuumi, Gidyoni n’abalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa n’ensuwa ze baali bakutte. Ebibinja ebirala nabo ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe, ne bakwata ebitawuliro mu mikono gyabwe egya kkono, n’amakondeere mu mikono gyabwe egya ddyo, ne bafuuwa nga bwe baleekaanira waggulu nti, “Ekitala kya Mukama Katonda era n’ekya Gidyoni.” Buli mulwanyi n’ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira: eggye lyonna ery’Abamidiyaani ne bafubutuka nga bwe baleekaanira waggulu.
Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi. Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Aseri n’ekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani. Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.”
Awo abalwanyi bonna ab’omu kika kya Efulayimu ne bakoowoolwa, ne bawamba omugga Yoludaani n’enzizi zonna okutuukira ddala e Besubata. Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.
Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo. Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde? Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.
Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka. N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?” Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.” Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri8:8 Penieri ky’ekifo Yakobo gye yamegganira ne Katonda., n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”
Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde. Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde. Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.
Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi. N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu. Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.” N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi. N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga.
N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.” N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.” Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi. Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”
Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.” Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi8:33 Baaluberisi yali lubaale ng’essabo lye liri mu Sekemu katonda waabwe. Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.
Abimereki mutabani wa Yerubbaali n’agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n’eri ab’ekika bonna, ab’ennyumba ya kitaawe, n’ennyumba ya nnyina n’abagamba nti, “Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze b’e Sekemu ebintu ebyo byonna. Ab’e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu9:4 ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu byenkana gulaamu lunaana okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera. N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka. Awo abatuuze bonna ab’e Sekemu n’e Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ng’ayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.
Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, n’alinnya ku ntikko y’olusozi Gerizimu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mumpulirize abatuuze b’e Sekemu, Katonda alyoke abawulirize. Emiti gy’agenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’ Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’ Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’
“Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali n’ennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira, kubanga kitange yabalwanirira, n’awaayo obulamu bwe, n’abawonya mu mukono gwa Midiyaani, naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe, era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse. Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
Oluvannyuma lw’ebyo, Yosamu n’adduka n’alaga e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.
Awo Abimereki n’afuga Isirayiri okumala emyaka esatu. Katonda n’akyawaganya Abimereki n’abatuuze b’omu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe, Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu. Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.
Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze b’omu Sekemu, ne batanula okumwesiga. Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki. Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ayogera nti, “Abimereki ye ani? Ab’omu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki? Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”
Awo Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n’asunguwala nnyo. N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa. Kaakano, ggwe jjangu mu kiro n’abasajja bo muteegere mu nnimiro. Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu. Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.” Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”
Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.” Awo Gaali n’akulembera abatuuze b’omu Sekemu okulwanyisa Abimereki. Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki. Abimereki n’abeera mu Aluma. Zebbuli n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.
Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima. Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba. Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo. Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.
Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi. Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze b’omu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu, ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.” Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.
Awo Abimereki n’agenda e Sebezi, n’asiisira okwetooloola ekibuga ekyo era n’akiwamba. Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo. Abimereki n’alumba ekigo, naye bwe yali ng’akisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo, ne wabaawo omukazi omu eyakasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n’amwasa omutwe.
Amangwago Abimereki n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si kulwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we n’amufumita ekitala n’afa. Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
Katonda bw’atyo n’awalana eggwanga olw’obutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu. Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.
Okufuga kwa Toola
Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n’aziikibwa mu Samiri.
Okufuga kwa Yayiri
Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri. Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero. Yayiri n’afa n’aziikibwa mu Kamoni.
Okufuga kwa Yefusa
Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ab’e Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda b’Abafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza. Mukama n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni, abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi. Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo. Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”
Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti, n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni,10:12 Abamawoni abo baali ba njawulo ku bantu abaabeeranga mu Mawoni ekya Yuda. bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe? Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate. Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”
Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano. Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”
Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa. Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”
Yefusa Omugireyaadi yali mulwanyi w’amaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya. Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.” Awo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera.
Oluvannyuma lw’ebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri. Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu. Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.”
Yefusa n’agamba abakadde b’e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?”
Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”
Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, Mukama n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?”
Abakadde b’e Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “Mukama ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.” Awo Yefusa n’agenda n’abakadde b’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, n’addamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga Mukama mu Mizupa.
Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”
Kabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”
Awo Yefusa n’addamu n’aweereza ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni ng’agamba nti,
“Yefusa bw’ati bw’ayogera nti, ‘Isirayiri teyatwala nsi ya Mowaabu newaakubadde ensi y’abaana ba Amoni. Naye Isirayiri bwe baava mu Misiri ne baba nga bayita mu ddungu nga balaga ku Nnyanja Emyufu n’e Kadesi, Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.
“ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu.
“ ‘Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli era kabaka w’e Kesuboni, ng’amusaba ng’agamba nti, Tukkirize tuyitemu tulage mu nsi yaffe. Naye Sikoni n’ateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni n’akuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, n’alwanyisa Isirayiri.’
“ ‘Mukama Katonda wa Isirayiri n’agabula Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, n’abawangula, era Isirayiri n’atwala ensi yonna ey’Abamoli. Ne bawamba ensalo yonna ey’Abamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani.
“ ‘Kaakano obanga Mukama Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri? Lwaki totwala ensi lubaale wo Kemosi gye yakuwa, naffe ne tutwala eyo Mukama Katonda waffe gye yatuwa? Ddala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa? Isirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni n’ebyalo byayo, ne mu Aloweri n’ebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? Kaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale Mukama, Omulamuzi, leero alamule wakati w’abaana ba Isirayiri n’abaana ba Amoni.’ ”
Naye kabaka w’abaana ba Amoni n’atassaayo mwoyo ku bubaka Yefusa bwe yamutumira.
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”
Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwe. N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.
Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina. Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”
Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” N’agamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.”
N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera.
Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.
Abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa okusomoka okulaga mu Zafoni. Ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wagenda okulwanyisa abaana ba Amoni, n’otatuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”
Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe. Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?”
Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.” Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?” Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.
Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.
Okufuga kwa Ibuzaani ne Eroni ne Abudoni
Oluvannyuma lwa Yefusa, Ibuzaani ow’e Besirekemu12:8 Besirekemu oyo si ye Besirekemu wa Yuda. Ekibuga ekyo kyali mu kitundu eky’e Zebbulooni. n’alamula Isirayiri. Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu. Ibuzaani n’afa, n’aziikibwa mu Besirekemu.
Oluvannyuma lwa Ibuzaani, Eroni Omuzebbulooni, n’alamula Isirayiri okumala emyaka kkumi. Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
Awo oluvannyuma lwa Eroni, Abudoni mutabani wa Kereri Omupirasoni n’alamula Isirayiri. Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana. Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi.
Okuzaalibwa kwa Samusooni
Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana. Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba. Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi. Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
Awo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye. Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”
Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama wange, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.” Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye. Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”
Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.” Manowa n’amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?” Malayika wa Mukama Katonda n’addamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola. Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.” Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.” Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama. Awo Manowa n’abuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo ky’oyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”
Malayika wa n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Mukama n’akola eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka. Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.
Manowa n’agamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.” Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”
Awo omukazi n’azaala omwana wabulenzi, n’amutuuma Samusooni. Omwana n’akula, Mukama Katonda n’amuwa omukisa. Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.
Samusooni Awasa
Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna14:1 Timuna kyali kibuga mu Ddaani ([Yos 19:43]). Abafirisuuti baateranga okukibeeramu ng’Abayisirayiri tebannakiwambira ddala n’alaba omukazi mu bawala ab’Abafirisuuti. N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”
Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?”
Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.” Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri. Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro z’emizabbibu egy’omu Timuna, empologoma ento n’ewuluguma nga bw’emulumba. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina. Samusooni n’aserengeta n’agenda n’anyumya n’omukazi era n’amusiima.
Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.
Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali. Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.
Awo Samusooni n’abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ez’embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu. Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
N’abagamba nti,
“Mu muli mwavaamu ekyokulya
Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.”
Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.
Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?” Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.”
N’amuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?” N’amukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna ery’embaga, olwo n’alyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. N’oluvannyuma omukazi n’annyonnyola abasajja b’omu bantu be ekikokko. Awo ku lunaku olw’omusanvu enjuba nga tennagwa abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Samusooni nti,
“Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera?
Kiki ekisinga empologoma amaanyi?”
N’abaddamu nti,
“Singa temwalimya nnyana yange,
temwandivuunudde kikokko kyange.”
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni14:19 Asukulooni kyali kibuga ky’Abafirisuuti. n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe. Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.
Awo ebbanga bwe lyayitawo, ng’ebiro eby’okukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’amutwalidde akabuzi akato. N’ayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe w’omukazi n’atamukkiriza kugenda yo15:1 Ekirabo ekyaweebwangayo mu biseera ebyo, omuntu okuwasa omuwala, kaali kabuzi kato ([Lub 38:17]). Mu bufumbo obw’ekika ekyo mu bitundu ebyo eby’ensi, omugole yasigalanga mu nnyumba ne kitaawe. Kitaawe w’omuwala teyafunanga birabo ebireetebwa ng’omuwala afumbirwa, kyokka bba w’omuwala bwe yajjanga okukyalira mukyala we, yabangako ebirabo byaleetera kitaawe w’omuwala. Kitaawe w’omukazi n’agamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gw’oba otwala mu kifo ky’oli.”
Samusooni n’abagamba nti, “Ku mulundi guno sirina musango, Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi.” Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe ebikumi bisatu, n’asiba bibiri bibiri emikira, n’akwataganya emikira, n’addira ebitawuliro n’ateeka ekitawuliro wakati w’emikira kinneebirye. N’akoleeza ebitawuliro, n’ata ebibe okugenda mu nnimiro z’Abafirisuuti. N’ayokya ebinywa n’eŋŋaano eyali tennakungulwa, n’ennimiro z’emizeeyituuni n’ennimiro z’emizabbibu.
Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.”
Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. Samusooni n’abagamba nti, “Olw’okuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.” N’abalumba n’atta bangi nnyo ku bo, n’agenda n’abeera mu mpuku ey’omu lwazi lw’e Etamu.
Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki. Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”
Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku y’olwazi lw’e Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ng’Abafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.” Ne bamuddamu nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo mu mukono gw’Abafirisuuti.” Samusooni n’abagamba nti, “Mundayirire nga temunzitte mmwe mwennyini.”
Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku. Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye. N’alaba oluba lw’endogoyi olutannavunda, n’alukwata, n’akuba abasajja lukumi.
Samusooni n’alyoka ayogera nti,
“Nkozesezza oluba lw’endogoyi
okukola entuumu bbiri;
nkozesezza oluba lw’endogoyi
okutta abasajja lukumi.”
Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki. N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?” Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.
Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.
Samusooni ne Derira
Samusooni n’alaga e Gaza n’alabayo omukazi malaaya, n’ayingira gy’ali. Awo abantu ab’e Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bw’ali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki w’ekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.”
Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi ebbiri eza wankaaki w’ekibuga, n’emifuubeeto gyombi, n’abisimbula okuva mu bifo byabyo, n’agyawo n’ekisiba, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi olutunuulidde Kebbulooni.
Awo oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi mu kiwonvu ky’e Soleki, erinnya lye Derira. Abakulembeze b’Abafirisuuti16:5 Abafirisuuti baabeeranga mu bibuga bitaano, buli kimu nga kirina omukulembeze waakyo. ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, “Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi16:5 ze kilo nga kkumi na ssatu.”
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza.” Samusooni n’amugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
Abakulembeze b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, n’azimusibya. Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa.
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” Awo Derira n’addira emiguwa emiggya, n’amusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. N’alyoka amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agyekutulako ku mikono ng’ewuzi.
Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.”
N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa.
Awo Derira n’amugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ng’omutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, n’otontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.” Bw’atyo omukazi n’amusendasendanga n’ebigambo bye ennaku zonna ng’amubuuza okutuusa lwe yamwetamwa.
Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu. N’amwebasa ku maviivi ge, n’ayita omusajja n’amumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, n’atandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ez’ekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga. Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera.
Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni16:23 Dagoni ye yali lubaale w’Abafirisuuti omukulu. Erinnya Dagoni mu Lwebbulaniya litegeeza empeke. Noolwekyo yali lubaale w’ebimera. Lubaale oyo yakolebwa mu kifaananyi, ekitundu nga kya muntu n’ekitundu ekirala nga kya kyannyanja., nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, “Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.” Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,
“Lubaale waffe agabudde omulabe waffe
mu mukono gwaffe,
oyo eyazikiriza ensi yaffe,
n’atta bangi ku ffe.”
Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”
Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi. Awo Samusooni n’agamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama.” Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene eky’abasajja n’abakazi nga mulimu n’abakulembeze bonna ab’Abafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ng’enkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu. Awo Samusooni n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri.” Samusooni n’akwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, n’azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, n’omukono ogwa kkono nga guli ku ndala. Samusooni n’ayogera nti, “Leka nfiire wamu n’Abafirisuuti.” N’asindika n’amaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, n’abantu bonna abaalimu naye, era n’atta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu.
Awo baganda be n’ennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati w’e Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.
Mikka n’Ebifaananyi bye Ebyole
Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka. N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi17:2 ze kilo nga kkumi na ssatu ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”
Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”
Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”
Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza17:4 ze kilo nga bbiri ne desimoolo ssatu, n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we. Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.
Ne wabaawo omuvubuka ow’omu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda. N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.
Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?”
Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”
Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi17:10 ze gulaamu nga kikumi mu kkumi ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye. Awo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omuvubuka n’aba gy’ali ng’omu ku batabani be. Awo Mikka n’ayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo n’abeera kabona we n’abeera mu nnyumba ya Mikka. Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”
Abadaani Bawamba ekibuga Layisi
Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe. Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.”
Ne batuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo. Bwe baali eyo okumpi n’ennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”
N’abategeeza Mikka bye yamukolera, n’abagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.” Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Katonda, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.” Awo kabona n’abaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”
Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.
Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola n’e Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”
Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi. Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gy’atadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”
Awo ekika ky’Abadaani ne basitula okuva e Zola n’e Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa. Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa n’okutuusa leero. Ne bava awo ne balaga mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.” Ne bakyama ne bagenda mu nnyumba y’omuvubuka Omuleevi eyali ewa Mikka ne bamulamusa. Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango. Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona n’abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.
Abasajja bwe bayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n’ababuuza nti, “Mukola ki?” Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona w’ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona w’ekika kya Isirayiri?” Kabona n’asanyuka, n’atwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekyole n’agenda nabo. Ne babaako we bakyama ne balekayo abaana baabwe abato n’ebisolo byabwe n’ebintu byabwe. Ne bagenda mu maaso.
Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani. Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?” N’abaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”
Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ng’abasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba n’ofiirwa obulamu bwo n’obw’abo ab’omu nnyumba yo.” Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.
Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro. Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.
Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo. Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali. Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa. Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.
Omuleevi ne mukazi we
Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri.
Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda. Naye mukazi we oyo n’ataba mwesigwa n’anoba ku bba, n’addayo mu nnyumba ya kitaawe e Besirekemu mu Yuda n’amalayo emyezi ena. Bba n’agolokoka n’agenda n’omuweereza we n’endogoyi bbiri okwogera ne mukazi we amukomyewo. Omukazi n’amutwala mu nnyumba ya kitaawe era kitaawe w’omuwala bwe yamulaba n’asanyuka era n’amwaniriza. Awo mukoddomi we, kitaawe w’omuwala n’amuwaliriza asigaleyo ennaku ssatu. Ne balya ne banywa ne basula eyo.
Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka mu makya, Omuleevi ne yeeteekateeka okugenda. Kyokka kitaawe w’omuwala n’agamba mukoddomi we nti, “Mwesanyuse mumale okulya ku mmere, mulyoke mugende.” Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.” Omusajja bwe yagolokoka okugenda, mukoddomi we n’amuwaliriza okusigala era n’asula ekiro ekyo. Ku lunaku olwokutaano, bwe yagolokoka mu makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Weesanyuse kaakano. Ojjira weesanyusa okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Ne balya bonna wamu.
Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we n’omugole we, mukoddomi we kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya n’oddayo ewuwo.” Naye omusajja n’atakkiriza. N’asitula n’agenda ne mukazi we, n’endogoyi ze zombi nga zeetisse, ku luuyi olw’e Yebusi, ye Yerusaalemi.
Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, n’obudde nga buyise, omuweereza n’agamba mukama we nti, “Jjangu tukyame tuyingire mu kibuga kino eky’Abayebusi tusule omwo.” Mukama we n’amuddamu nti, “Tetuukyame kuyingira mu kibuga ky’abatali baana ba Isirayiri, eky’abannaggwanga. Tujja kweyongerayo tulage e Gibea.” N’agamba omuweereza we nti, “Tusemberere ekimu ku bifo ebyo, tusule e Gibea oba mu Laama.” Ne beeyongerayo. Enjuba n’egwa nga basemberera Gibea ekya Benyamini. Ne bakyama eyo mu Gibea, gye baba basula. Ne balaga mu kifo ekigazi eky’ekibuga ne batuula eyo, kyokka ne wataba muntu n’omu eyajja okubatwala ewuwe.
Era laba, ne wajja omusajja omukadde eyali ava ku mirimu gye egy’omu nnimiro akawungeezi, ng’asibuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’abeera mu Gibea. Abantu b’e Gibea baayitibwanga Babenyamini. N’ayimusa amaaso ge n’alaba omusajja omutambuze, ng’ali mu kifo ekigazi eky’ekibuga. Omusajja n’amubuuza nti, “Ova wa era olaga wa?” N’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemu mu Yuda, ndaga mu byalo eby’ensi ey’ensozi eya Efulayimu gye mbeera. Nva mu Besirekemu mu Yuda, nzirayo mu nnyumba ya Mukama, naye tewali anyannirizza mu nnyumba ye.” Wabula nnina essubi n’emmere ey’endogoyi zange, ate naffe abaweereza bo tulina emmere ne wayini ebitumala nze, n’omuweereza wo omukazi, n’omuvubuka.
Omusajja omukadde n’abagamba nti, “Mbanirizza ewange mwenna. Temwetaaga kusula mu kifo ekigazi eky’ekibuga.” Awo n’abatwala mu nnyumba ye, n’aliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere19:21 Okunaaza ebigere by’omugenyi kyali kikolwa kya kwaniriza, kubanga abantu mu bitundu ebyo baatambuliranga mu sapatu mu nguudo ezirimu enfuufu., ne balya, ne banywa.
Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja ab’omu kibuga ekyo, abaana ab’obutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”
Nannyini nnyumba n’afuluma, n’abagamba nti, “Nedda mikwano gyange, temubeera bagwenyufu. Olw’okuba ng’omusajja ono azze mu nnyumba yange, temukola kintu kya buswavu bwe kityo. Mulaba muwala wange wuuno, mbeerera, ate n’omukazi w’omusajja naye nzija kubamuwa. Baabo mubakole kye mwagala. Naye omusajja ono temumukola kintu kya buswavu bwe kityo.”
Naye abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Omusajja kyeyava addira mukazi we, n’amufulumya, ne bamukwata ne bamusobyako ekiro kyonna, ne bamuta agende ng’emmambya esala. Omukazi n’addayo n’atuuka obudde nga bukya, n’agwa ku luggi lw’ennyumba, mukama we gye yali asuze, n’abeera awo okutuusa obudde bwe bwakya.
Mukama we bwe yagolokoka mu makya, n’aggulawo enzigi z’ennyumba ye n’afuluma agende ku lugendo lwe, laba, mukazi we ng’agudde mu maaso g’ennyumba, ng’emikono gye gikunukkiriza omulyango. N’agamba mukazi we nti, “Golokoka tugende.” Kyokka ne wataba kanyego. Omusajja n’amuteeka ku ndogoyi, n’agenda ewuwe.
Bwe yatuuka ewuwe, n’addira akambe, n’akwata mukazi we, n’amusalaasalamu ebifi kkumi na bibiri, n’abiweereza mu buli kitundu ekya Isirayiri. Awo buli muntu eyabirabangako n’agamba nti, “Ekikolwa ekiri nga kino tekikolebwanga so tekirabibwanga okuva ku lunaku abaana ba Isirayiri lwe baayambukirako okuva mu nsi y’e Misiri n’okutuusa leero. Mukirowoozeeko, mukifumiitirizeeko era tulabe eky’okukola.”
Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini
Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”
Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”
Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.
Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”
Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.
Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”
Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”
Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.
Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga Essanduuko ey’Endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”
Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.
Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.
Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.
Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.
Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.
Ababenyamini bafuna Abakazi
Abasajja ba Isirayiri baali beerayiridde e Mizupa nti, “Tewabanga n’omu ku ffe awaayo muwala we okufumbirwa Benyamini.”
Awo abantu ne bagenda e Beseri ne batuula eyo okutuusa akawungeezi nga bakaabira Katonda, nga bayimusa eddoboozi lyabwe, nga bakuba ebiwoobe, nga bakaaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, lwaki kino kituuse ku Isirayiri leero, ekika ekimu okubula ku Isirayiri?”
Awo ku lunaku olwaddirira, abantu ne bagolokoka ne bazimba ekyoto mu kifo ekyo, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Abaana ba Isirayiri ne beebuuza nti, “Ani ku bika byonna ebya Isirayiri atazze kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda?” Kubanga baali beerayiridde, ng’omuntu yenna alemwa okukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, ateekwa kuttibwa.
Abaana ba Isirayiri ne basaalirwa olwa Benyamini muganda waabwe nga bagamba nti, “Leero ekika ekimu ekya Isirayiri kisaliddwako. Tunaabakolera ki okubafunira abakazi, obanga ffe ffennyini twerayiridde eri Mukama obutabawa bawala baffe okubafumbirwa?” Ne beebuuza nti, “Kika ki ku bika bya Isirayiri ekitaayambuka Mizupa mu maaso ga Mukama Katonda?” Ne bazuula nga mu Yabesugireyaadi tewaavaayo muntu eyajja mu lukuŋŋaana. Bwe baalaba abantu, laba nga tewaliiwo mutuuze w’e Yabesugireyaadi.
Awo ekibiina ne kitumayo abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ne babalagira nti, “Mugende muzikirize n’ekitala abo bonna ababeera mu Yabesugireyaadi, obutalekaawo bakazi wadde abaana. Kino kye muba mukola. Mutte buli musajja na buli mukazi atali mbeerera.” Mu bantu abaabeeranga mu Yabesugireyaadi ne basangamu abawala ebikumi bina abaali embeerera, ne babatwala mu nkambi e Siiro mu nsi ya Kanani.
Awo ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye ne kiweereza abaana ba Benyamini abaali ku lwazi lwa Limoni obubaka obw’emirembe. Awo Ababenyamini ne bakomawo mu kiseera ekyo, era ne baweebwa abawala abaawonawo ku bawala ab’e Yabesugireyaadi, naye ne batabamala bonna.
Abantu ne basaalirwa olwa Benyamini kubanga Mukama Katonda yali abaawudde ku bika bya Isirayiri ebirala. Awo abakadde b’olukuŋŋaana ne bagamba nti, “Abakazi b’Ababenyamini baazikirizibwa, kaakano abasajja abasigaddewo, tunabalabira wa abakazi? Ababenyamini abaasigalawo bateekwa okufuna abasika, ekika kireme okusangulibwawo mu Isirayiri. Ate tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga ffe abaana ba Isirayiri tweyama nga tugamba nti, ‘Akolimirwe aliwa Omubenyamini muwala we okumuwasa.’ Kyokka waliwo embaga ya Mukama Katonda eya buli mwaka e Siiro, ekiri mu bukiikakkono bwa Beseri, n’obuvanjuba bw’oluguudo oluva e Beseri okudda e Sekemu, n’obukiikaddyo bwa Lebona.”
Awo ne bagamba abaana ba Benyamini nti, “Mugende mwekweke mu nnimiro z’emizabbibu, muteege. Laba abawala b’e Siiro bwe banaafuluma okwegatta ku mazina, mudduke okuva mu nnimiro z’emizabbibu, mwefunire buli muntu omukazi ku bawala b’e Siiro, muddeyo mu nsi ya Benyamini. Awo bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balyemulugunya gye tuli, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, era olwokubanga temwababawa, temulina musango.’ ”
Awo Ababenyamini ne bakola bwe batyo. Ne beewambira abawala ku abo abaali bazina, ne beddirayo mu busika bwabwe, ne baddamu okuzimba ebibuga byabwe ne babeera omwo. Mu kiseera ekyo n’abaana ba Isirayiri buli muntu mu kika kye ne yeddirayo mu busika bwe. Mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri; buli muntu yakolanga nga bw’ayagala.