- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Koseya
Koseya
Koseya
Kos
Ekitabo Ekiyitibwa
Koseya
Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
Koseya Afuna Amaka
Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.
Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”
Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe
Munenye nnyammwe,
mumunenye,
kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
nneme okumwambulira ddala
ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
ne mmussa ennyonta.
Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
kubanga baana ba bwenzi.
Nnyabwe yakola obwenzi,
n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
n’amafuta n’ekyokunywa.”
Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
bye yayambalanga.
Era kyenaava nyanika obukaba bwe
mu maaso ga baganzi be,
so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
Ndimubonereza olw’ennaku
ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
n’agenda eri baganzi be,
naye nze n’aneerabira,”
bw’ayogera Mukama.
Kale kyendiva musendasenda,
ne mmutwala mu ddungu,
ne njogera naye n’eggonjebwa.
Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli2:15 Akoli kitegeeza emitawaana oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“olimpita nti, ‘mwami wange;’
toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
bonna ne batuula mirembe.
Era ndikwogereza ennaku zonna,
ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
ne mu kwagala ne mu kusaasira.
Ndikwogereza mu bwesigwa,
era olimanya Mukama.
“Ku lunaku olwo,
ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
ensi erimeramu emmere ey’empeke,
ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,2:22 Yezuleeri kitegeeza Katonda asimba”
bw’ayogera Mukama.
“Ndimwesimbira mu nsi,
ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
Koseya Addiŋŋana ne Mukazi we
Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”
Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”
Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi. N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.
Okulabula eri Isirayiri
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
era bayiwa omusaayi obutakoma.
Ensi kyeneeva ekaaba,
ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
“Naye temuloopagana,
so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
ngivunaana gwe kabona.
Wakola ebibi emisana n’ekiro,
ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama4:5 maama kitegeeza Obwakabaka bwa Isirayiri wo.
Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.
“Kyemunaava mulema
okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
Gye beeyongera okuba abangi,
gye baakoma n’okukola ebibi;
baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
era basemba okwonoona kwabwe.
Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
“Balirya naye tebalikkuta,
balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
“Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.
“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.4:15 Besaveni kitegeeza ennyumba ey’abakozi b’ebibi
Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
Embuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
Isirayiri Asalirwa Omusango
Muwulire kino mmwe bakabona!
Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
Abajeemu bamaliridde okutta,
naye ndibabonereza bonna.
Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
ne Isirayiri yeeyonoonye.
Ebikolwa byabwe tebibaganya
kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
so tebamanyi Mukama.
Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
abaviiridde, abeeyawuddeko.
Tebabadde beesigwa eri Mukama;
bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
mutukulembere mmwe Benyamini.
Efulayimu alifuuka matongo
ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
mu bika bya Isirayiri.
Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
ng’omujjuzo gw’amazzi.
Efulayimu anyigirizibwa,
era omusango gumumezze,
kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
Ndiddayo mu kifo kyange,
okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
Obujeemu bwa Isirayiri
“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
olwokusatu alituzza buggya,
ne tubeera balamu mu maaso ge.
Tumanye Mukama;
tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
Nkukolere ki, Efulayimu?
Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
tebaali beesigwa.
Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
ne bazza emisango egy’obuswavu.
Ndabye eby’ekivve
mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
“Naawe Yuda,
amakungula gatuuse.
“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,
na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
bamenya ne bayingira mu mayumba,
era batemu abateega abantu mu makubo.
Naye tebalowooza
nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
era mbiraba.
“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
Bonna benzi;
bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
mu makya ne bwaka ng’omuliro.
Bonna bookya nga oveni,
era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
tewali n’omu ku bo ankowoola.
“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
naye takiraba.
Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
newaakubadde okumunoonya.
“Efulayimu ali ng’ejjiba,
alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
era bagenda eri Obwasuli.
Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
Zibasanze,
kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
naye banjogerako eby’obulimba.
Tebankaabira n’emitima gyabwe,
wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
naye ne banjeemera.
Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
naye bansalira enkwe.
Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
mu nsi y’e Misiri.”
Isirayiri Akungula Embuyaga
“Ffuwa ekkondeere.
Empungu eri ku nnyumba ya Mukama
kubanga abantu bamenye endagaano yange
ne bajeemera amateeka gange.
Isirayiri bankaabira nga boogera nti,
‘Katonda waffe, tukumanyi.’
Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi;
omulabe kyaliva abayigganya.
Balonda bakabaka nga sikkirizza,
balonda abakulembeze be sikakasizza.
Beekolera ebifaananyi ebyole
mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.
Obusungu bwange bubabuubuukirako.
Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
Bava mu Isirayiri.
Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola
so si Katonda.
Era ennyana eyo eya Samaliya
eribetentebwa.
“Basiga empewo,
ne bakungula embuyaga.
Ekikolo olw’obutaba na mutwe,
kyekiriva kirema okubala ensigo.
Naye ne bwe kyandibaze,
bannaggwanga bandigiridde.
Isirayiri amaliddwawo;
ali wakati mu mawanga
ng’ekintu ekitagasa.
Bambuse ne bagenda eri Obwasuli,
ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka.
Efulayimu aguliridde abaganzi.
Newaakubadde nga beetunze eri amawanga,
ndibakuŋŋaanya,
era ndibawaayo eri okubonaabona
nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi,
bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange,
naye ne babifuula ekintu ekigwira.
Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
ne balya ennyama yaabyo,
Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
Baliddayo e Misiri.
Isirayiri yeerabidde omutonzi we,
n’azimba embiri,
ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;
naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,
ne gwokya ebigo byabwe.”
Okubonerezebwa kwa Isirayiri
Tosanyuka ggwe Isirayiri;
tojaguza ng’amawanga amalala,
kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo,
weegomba empeera eya malaaya
ku buli gguuliro.
Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa,
ne wayini omusu alibaggwaako.
Tebalisigala mu nsi ya Mukama;
Efulayimu aliddayo e Misiri
n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,
so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.
Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,
ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.
Emmere eyo eriba yaabwe bo,
so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa,
ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
Ne bwe baliwona okuzikirira,
Misiri alibakuŋŋaanya,
ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
Nnabbi awamu ne Katonda wange
ye mukuumi wa Efulayimu,9:8 Efulayimu be bantu ba Katonda
newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye,
n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
Boonoonye nnyo nnyini
nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’ababonereza olw’ebibi byabwe.
We nasangira Isirayiri,
kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.
Bwe nalaba bajjajjammwe,
kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.
Naye bwe bajja e Baalipyoli,
beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,
ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
Ne bwe balikuza abaana baabwe,
ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
bwe ndibavaako.
Nalaba Efulayimu
ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
abaana be ne battibwa.
Bawe Ayi Mukama Katonda.
Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
obawe n’amabeere amakalu.
Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
Efulayimu balwadde,
emirandira gyabwe gikaze,
tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
Katonda wange alibavaako
kubanga tebamugondedde;
baliba momboze mu mawanga.
Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
Omutima gwabwe mulimba,
era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
era alizikiriza empagi zaabwe.
Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
yanditukoleddeyo ki?”
Basuubiza bingi,
ne balayirira obwereere
nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
n’obusozi nti, “Mutugweko.”
Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
Efulayimu nnyana ntendeke
eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
ne Yuda ateekwa okulima
ne Yakobo ateekwa okukabala.
Musige ensigo ez’obutuukirivu,
mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
n’abafukako obutuukirivu.
Naye mwasimba obutali butuukirivu
ne mukungula ebibi,
era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
n’abalwanyi bo abangi,
olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri
“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
era namuyita okuva mu Misiri.
Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
nga nze nabawonya.
Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
ne neetoowaza ne mbaliisa.
“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
era Obwasuli tebulibafuga
kubanga baagaana okwenenya?
Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
ne kikomya enteekateeka zaabwe.
Abantu bange bamaliridde okunvaako.
Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
taabagulumize.
“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
Baligoberera Mukama;
era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
Balijja nga bakankana
ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Ekibi kya Isirayiri
Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
Efulayimu alya mpewo;
agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
n’aweereza n’amafuta e Misiri.
Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
Yameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
Nayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
Gireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;12:12 Alamu bwe bukiikakkono obw’ebugwanjuba bwa Mesopotamiya
Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Mukama Asunguwalira Isirayiri
Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
Ne kaakano bongera okwonoona;
ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
“Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
“Nze Mukama Katonda wo
eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
so tewali mulokozi wabula nze.
Nakulabirira mu ddungu,
mu nsi ey’ekyeya ekingi.
Bwe nabaliisa, bakkuta;
bwe bakkuta ne beegulumiza,
bwe batyo ne banneerabira.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
kubanga munnwanyisa.
Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
era n’ekibi kye kimanyiddwa.
Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
tavaayo mu lubuto.
“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?
“Sirimusaasira,
ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Okwenenya Kuleeta Omukisa
Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
Mudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
Obwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.