- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Kaabakuuku
Kaabakuuku
Kaabakuuku
Kbk
Ekitabo Ekiyitibwa
Kaabakuuku
Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
Kaabakuuku Yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
naye n’otonnyamba?
Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.
Amateeka kyegavudde gatagonderwa
era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Okuddamu kwa Mukama
“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
gwe mutalikkiriza
newaakubadde nga mugubuuliddwa.
Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
Ba ntiisa, batiibwa,
be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
Weewaawo, basekerera bakabaka
ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri
Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
omuntu amusinga obutuukirivu?
Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
n’alya emmere ey’ekigagga.
Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?
Obulamu eri Abatuukirivu
Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,
“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
Kuwandiike bulungi
ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
Kwogera ku by’enkomerero
ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”
Akabi eri Aboonoonyi
Weewaawo, omwenge mulimba
guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
ne gugafuula abasibe.
“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,
“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
Oliba togudde mu mikono gyabwe?
Kubanga onyaze amawanga mangi,
abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
azimba ekisu kye waggulu,
okwekuuma obutatuukwako kabi!
Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.
Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
nga akola ebifaananyi ebitayogera!
Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
so tekiriimu bulamu n’akatono.
Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
Okusaba kwa Kaabakuuku
Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.
Katonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
Wasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.
Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.
Okusanyukira mu Mukama
Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
Mukama Katonda, ge maanyi gange;
afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.
Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.