- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Omubuulizi
Omubuulizi
Omubuulizi
Mub
Ekitabo Ekiyitibwa
Omubuulizi
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
Byonna butaliimu.
Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
Enjuba evaayo era n’egwa,
ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
era gye gyeyongera okukulukutira.
Ebintu byonna bijjudde obukoowu
omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
wadde okutu okukoowa okuwulira.
Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
“Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
mu mirembe egyatusooka?
Tewali kujjukira bintu byasooka
era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu
Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,
n’ekibulako tekibalibwa.
Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
Amasanyu Tegagasa
Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.
Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.
Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.
Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu
Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
nga bombi akabi kabatuukako.
Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,
“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
nga butaliimu.
Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.
Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo
Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,
mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
Ne njogera munda yange nti,
“Katonda aliramula
abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
era na buli mulimu.”
Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.
Amaziga g’Abanyigirizibwa
Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.
Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
kyokka nga tewali asobola kubagambako.
Ne ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
abo abakyali abalamu;
naye abasinga abo,
y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
obukolebwa wansi w’enjuba.
Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.
Omusirusiru awumba emikono gye,
ne yeezikiriza yekka.
Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu
okusinga okujjula okubonaabona
n’okugoberera empewo.
Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:
nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
era tekiriiko kye kigasa.”
Ababiri basinga omu,
kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
Kubanga singa omu agwa,
munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
bw’agwa tabaako amuyimusa.
Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
Omu awangulwa mangu,
kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Mutye Katonda
Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.
Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
ng’ate ggwe oli ku nsi;
kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere
Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
na kino nakyo butaliimu.
Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
okuggyako okusanyusa amaaso ge?
Otulo tuwoomera omupakasi
ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
tebumuganya kwebaka.
Okukola n’Essanyu
Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:
nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
Na kino kya bulumi bwereere:
nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.
Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa
Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
Buli muntu ateganira mumwa gwe,
naye tasobola kukkuta by’alina.
Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
agasibwa ki?
Amaaso kye galaba
kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
na kugoberera mpewo.
Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
Ebigambo gye bikoma obungi,
gye bikoma n’obutabaamu makulu;
kale ekyo kigasa kitya omuntu?
Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
Okulondawo Ekisinga Obulungi
Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
Okunakuwala kusinga okuseka,
kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
Okuseka kw’abasirusiru
kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu7:6 Amaggwa bwe gaba gookebwa, gatulikatulika, ne gavaamu n’omukka, kyokka ebbugumu ly’omuliro gwago tegubugumya bagwota mu biseera eby’obutiti.;
na kino nakyo butaliimu.
Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
n’enguzi efaafaaganya okutegeera.
Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.
Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
era kigasa abo abakyalaba enjuba.
Amagezi kiwummulo,
ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
Lowooza ku Katonda ky’akoze:
ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
mu nnaku ze ez’omu maaso.
Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:
omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
oleme okwezikiriza.
Tobanga mwonoonyi kakuzzi
wadde okuba omusirusiru;
oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.
Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
atakola bibi.
Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
ng’emirundi mingi okolimidde abalala.
Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,
“Mmaliridde okuba omugezi,”
wabula kino kyandi wala.
Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
kale ani ayinza okugavumbula?
Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
n’eddalu ery’obusirusiru.
Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:
“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
bwe nnali nga nkyanoonyereza
nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
Wabula kino kyokka kye nalaba:
Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
Obuwulize eri Abakulembeze
Ani afaanana omuntu omugezi
amanyi okunnyonnyola buli kintu?
Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,
ne gakyusa emitaafu gyamu.
Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira8:2 Ekirayiro ekyo bwe bweyamo obw’obwesigwa, abaweereza ba kabaka bwe baakolanga eri Katonda. mu maaso ga Katonda. Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”
Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,
omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,
newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.
Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,
kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;
bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.
Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,
bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.
Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.
Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.
Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.
Ekkubo Bonna lye Bakwata
Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.
Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,
era bwe kiri n’eri omwonoonyi;
Nga bwe kiri eri abo abalayira,
era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.
Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!
Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,
naye abafu tebaliiko kye bamanyi:
tebakyagasa
wadde okujjukirwa.
Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,
n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;
nga tebakyetaba mu ebyo byonna
ebikolebwa wansi w’enjuba.
Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. Yambalanga engoye ennyonjo9:8 Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu., era weesiigenga n’ebyakaloosa. Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.
Ate nalaba nga wansi w’enjuba,
ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.
Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.
Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
ebibatuukako nga tebabyetegekedde.
Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.
Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,
okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.
Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,
naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.
Omugezi n’Omusirusiru
Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
Ne bw’aba ng’atambula,
amanyibwa nga talina magezi,
era buli amulaba agamba nti musirusiru.
Mukama wo bw’akunyiigiranga,
tomulaganga busungu;
okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
Ekibi ekirala kye nalaba,
kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
Asima ekinnya alikigwamu,
n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
Oyo ayasa amayinja gamulumya,
n’oyo ayasa enku zimulumya.
Embazzi bwe tebaako bwogi,
n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
naye obumanyirivu bwe buwangula.
Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
omufuusa talina kyafunamu.
Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
Omusirusiru asavuwaza ebigambo.
Tewali amanyi birijja,
kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
ne wayini yeeyagaza obulamu,
naye ensimbi y’esobola byonna.
Tokolimira kabaka mu mutima gwo
newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo
Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
Ebire bwe bijjula amazzi,
bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
Oyo alabirira embuyaga talisiga;
n’oyo atunuulira ebire talikungula.
Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.
Ku makya siga ensigo zo,
n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
zino oba ziri,
oba zombi ziriba nnungi.
Ekitangaala kirungi,
era okulaba ku musana kisanyusa.
Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
nnyingi ezijja.
Ebyo byonna ebijja butaliimu.
Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
Katonda agenda kukusalira omusango.
Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,
kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
Ennaku ze Tumala ku Nsi
Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
n’emyaka nga teginnasembera,
mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
ng’enjuba n’obutangaavu,
omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;
nga n’ebire biweddemu enkuba;
abakuumi b’enju mwe balikankanira,
n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
nga batya buli kiwanvu
n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
n’abakungubazi ne babuna enguudo.
Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
“Buli kintu butaliimu.”
Ebikomererayo
Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi. Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo. Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.
Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
Kale byonna biwuliddwa;
eno y’enkomerero yaabyo:
Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,
kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;
ekyo ekyakwekebwa,
nga kirungi oba nga kibi.