- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Ekyamateeka Olwokubiri
Ekitabo Ekiyitibwa Ekyamateeka Olwokubiri
Ekyamateeka Olwokubiri
Ma
Ekitabo Ekiyitibwa
Ekyamateeka Olwokubiri
Musa Ayogera nga Katonda bw’Anaakulembera Abayisirayiri
Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu1:2 Mu biro biri entambula yali ya njawulo okuva e Kolebu1:2 Kolebu Erinnya ly’Olusozi Kolebu eddala ly’Olusozi Sinaayi. okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.
Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:
“Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’
Okulonda Abakulembeze
“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’
“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”
Alipoota y’Abakessi
Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwadde. Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”
Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”
Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.
Okwemulugunya kwa Isirayiri
“Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki1:28 Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja. nabo twabalabayo.’ ” Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”
Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.
Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, “Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”
Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”
Isirayiri Awangulwa mu Lutalo
Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.
Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”
Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.
Emyaka gye Baamala mu Ddungu
Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri.
Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono. Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo. Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira. Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”
Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.
Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.” Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki. Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi. Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. Mukama n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.
Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira. Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.
Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali. Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”
Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu. Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu. Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero. Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo. Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
Okuwangula Sikoni Kabaka w’e Kesuboni
Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti, “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono. Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere, nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.” Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi. Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula. Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala. Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba. Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe. Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.
Okuwangula Ogi Kabaka w’e Basani
Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei. Naye Mukama n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”
Bw’atyo Mukama Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu. Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge. Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna. Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni. Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri. Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.
Okugabana Ensi
Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu. Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa. Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri. Gireyaadi nagigabira Makiri. Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni. Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani. Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi, okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda. Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”
Musa Agaanibwa Okutuuka mu nsi Ensuubize
Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola? Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”
Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo. Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani. Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.” Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.
Musa Alagira Abantu Okuba Abawulize
Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka n’ebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.
Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza; naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu leero.
Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.” Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda b’abantu baalyo okumpi n’abantu abo, nga ffe bwe tulina Mukama Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola? Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?
“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe. Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’ Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga. Era mu kaseera ako Mukama Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.
Okusinza Bakatonda abalala Kuwerebwa
“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi, oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga, oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka. Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu. Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.
“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe. Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola. Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.
Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala
“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.
Isirayiri, Eggwanga Eddonde
“Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako? Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?
“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo. Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi. Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.
“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala. Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
Ebibuga eby’Obuddukiro
Awo Musa n’ayawula ebibuga bisatu ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa. Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye ky’Abalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye ky’Abagaadi; ne Golani mu Basani, nga ky’ekitundu ky’Abamanase abaagabana oluuyi olwo.
Musa Ayanjula Amateeka
Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isirayiri, era ono ye kalonda w’obujulirwa, n’amateeka, n’ebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri. Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego y’Ekiwonvu Alunoni n’okutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni, n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.
Amateeka Ekkumi
Awo Musa n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’abagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka n’ebiragiro bye nkutegeeza ng’owulira ku lunaku lwa leero.
Mubiyige era mubigobererenga n’obwegendereza. Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu. Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero. Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene. Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene.
N’abagamba nti:
“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe. Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Tottanga.
Toyendanga.
Tobbanga.
Towaayirizanga muntu munno.
Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
Katonda ne Musa ku Lusozi Sinaayi
Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.
Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna. Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro. Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu? Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”
Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi. Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna! Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe. Naye ggwe sigala wano nange, ndyoke nkutegeeze amateeka gonna n’ebiragiro, by’ojja okubayigiriza babikolerengako nga bali mu nsi gye mbawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bw’abalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono. Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe ly’abalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.”
Yagalanga Mukama Katonda wo
“Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Etteeka ly’Okwagala
“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
“Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka
“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
Isirayiri n’Amawanga Amalala
Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa. Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu. Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.
Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. Naye
abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;
tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.
Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.
Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.
Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa. Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga. Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa. Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda b’anaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.
Katonda Aliwangula Amawanga
Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna. Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya. Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala. Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa. Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi. Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga. Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza. Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.
Ekisa kya Mukama mu Ddungu
Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe. Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge. Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda. Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako n’ebigere byo tebyazimba. Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.
“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa. Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu. Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki; ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo. Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.
Okulabulwa Obutaba b’Amalala
“Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero. Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera; amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala, kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi. Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ng’akwetoowazisa era nga bw’akugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi. Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’ Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.
“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira. Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”
Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu. Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.
Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.
Ennyana eya Zaabu
Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino. Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza. Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano. Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu. Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”
Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi. Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde. Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.
Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza. Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo. Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo. Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.
Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera. Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.
Musa Yeegayirira Mukama ku lwa Isirayiri
Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza. Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi. Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo. Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.” Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.
Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri Okwawandiikwa Amateeka
Mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi. Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”
Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. Mukama Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda n’abinkwasa. Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.
Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona. Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi. Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero. Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.
Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza. Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”
Ebikulu Katonda bye Yeetaaga
Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?
Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.
Ekiragiro ky’Okwagalanga Mukama Katonda
Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama by’azze akola.
Ekiragiro ky’Okukwatanga Amateeka
Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.
Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.
Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.
Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka
Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.
Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.
Omukisa n’Ekikolimo
Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.
Ekyoto Kimu Kyokka eky’Ebiweebwayo
Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi. Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene, bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.
Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola. Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.
Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa. Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama. Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga. Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.
Ebiragiro ku Biweebwayo ebitali bya bulijjo
Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga. Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo. Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.
Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga. Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama. Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.
Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde. Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya. Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Okulabula ku Kusinza bakatonda abalala
Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.
Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.
Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.
Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa. Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Okuwera Empisa ez’Ekikaafiiri
Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa14:1 okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa egyo gyali mize gya kusinza balubaale., kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.
Ebyokulya Ebirongoofu n’Ebitali Birongoofu
Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo. Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi, enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko. Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu. Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli. Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.
Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba. Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.
Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga. Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi, wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, namuŋŋoona owa buli ngeri; ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo, ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu; n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo; ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira.
Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga. Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.
Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo.
Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako.
Ebiragiro ku Kitundu Ekimu eky’Ekkumi
Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi. Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo. Naye Mukama ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo, kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka. Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.
Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo. Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.
Omwaka ogw’Okusonyiyirwangamu Amabanja
Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule15:3 Obutafaanana ng’Abayisirayiri, bannaggwanga baalimanga ettaka lyabwe omwaka ogwo; noolwekyo baasobolanga okusasula amabanja gaabwe., naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga. Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
Okuwa Eddembe Abaddu Abagule
Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.
Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga15:17 Okuwumula okutu kaali nga kabonero ka buddu. mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.
Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa
Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo. Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.
Embaga ey’Okuyitako
Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.
Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
Embaga ey’Amakungula
Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka. Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde. Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe. Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza.
Embaga ey’Ensiisira
Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo. Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo. Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.
Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama. Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Abalamuzi
Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza. Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu. Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Obutasinzanga Bakatonda Balala
Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo; wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.
Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala.
Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama, era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga, ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa. Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka. Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.
Embuga Ezinaasalirwangamu Emisango
Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde. Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe. Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde. Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri. Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.
Eby’Obwakabaka
Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;” Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.
Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.
Abaleevi Bakabona
Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.
Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe. Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo. Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.
Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize
Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo. Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.
Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya
Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”
Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”
Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’anaabanga abyogedde?” Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.
Amateeka ku Bibuga eby’Okuddukirangamu
Mukama Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo, weeyawulirangako ebibuga bisatu19:2 ebibuga bisatu Bino byali bibuga bisatu ebirala eby’okuddukirangamu, nga biri mu bugwanjuba bwa Yoludaani. nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya. Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.
Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.
Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.
Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.
Ensalo z’Obwannannyini
Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
Etteeka ku Bajulizi
Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa. Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya, abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga Mukama Katonda awali bakabona n’abalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo. Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo n’obwegendereza. Omujulizi oyo bw’anaakakasibwanga nga mulimba, ng’obujulizi bw’awadde ku munne bugingirire, munaamukolangako nga naye bw’abadde ayagala munne akolweko. Bw’atyo n’omalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe. Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo. Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono n’ekigere olw’ekigere.
Amateeka g’Olutalo
Bw’onoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’eggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, anaabanga naawe. Bwe munaabanga muli kumpi okutandika okulwana, kabona anajjanga n’ayogera eri eggye ly’abaserikale, n’abagamba nti, “Wulira, Ayi Isirayiri! Olwa leero mugenda okutandika okulwana n’abalabe bammwe. Temuggwaamu mutima, so temutiitiira wadde okubatya. Kubanga Mukama Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi.”
Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza. Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro y’emizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’alya ebibala byamu. Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’awasa omukazi oyo.” Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.” Abaami bwe banaamalanga okwogera eri eggye, banaalondanga abakulu mu balwanyi abanaakulemberanga eggye eryo.
Bw’onoosembereranga ekibuga ng’ogenda okukirwanyisa, osookanga kulangirira mirembe eri abantu baamu. Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gy’ekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bw’onooyagalanga. Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga n’okizingiza. Mukama Katonda wo bw’anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga n’ekitala buli musajja yenna. Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gw’anaabanga akuwadde. Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebinaakubeeranga ewala ennyo, ebitaabenga bibuga bya mawanga gano.
Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala. Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bw’akulagidde, balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.
Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize? Naye emiti gy’omanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kw’onoosinziiranga okulwananga n’ekibuga ky’onoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.
Etteeka ku Butemu ng’Eyatemula Tamanyiddwa
Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa, bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde. Kale nno abakadde abakulembeze b’ekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana n’omulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo, ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo y’ente eyo ne bagimenya. Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi. Awo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu21:6 Ke kabonero akalaga ng’omuntu yejeeredde omusango gw’obussi., ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa. Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo. Bw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.
Okuwasa Omukazi Omunyage
Bw’ogendanga okutabaala balabe bo, Mukama n’abagabula mu mikono gyo n’onyagayo abantu, mu abo abanyagiddwa bw’onoolabangamu omukazi alabika obulungi n’omwagala, n’oyagala okumuwasa, omutwalanga mu maka go, n’omulagira okumwa omutwe gwe, n’okusalako enjala ze, n’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo. Kyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.
Eddembe ery’Obwebange ery’Omwana Omubereberye
Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe; bw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye. Anaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.
Abaana Abakakanyavu Abatawulira
Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira, kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo. Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.” Kale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.
Amateeka Agatali Gamu
Omuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti, omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.
Okuyambagana
Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo. Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza. Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.
Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.
Omusajja Okwefaanaanyiriza Omukazi, oba Omukazi Okwefaanaanyiriza Omusajja
Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.
Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.
Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.
Akasenge ak’Okukugira Akasolya
Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu22:8 akasolya akatereevu Ennyumba ez’omu bitundu ebyo zaalinanga akasolya akatereevu, omuntu kwe yayinzanga okutambulira, oba oluusi n’okwebakako ng’obudde bw’ekiro bwa bbugumu nnyo akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.
Obutatabulatabulanga Bintu bya Njawulo
Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.
Ente n’endogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu eky’ekyuma kye munaabanga mulimisa.
Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.
Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ez’eminagiro gyammwe gye munaayambalanga.
Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi
Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo. Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu. Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi22:19 sekeri za ffeeza kikumi zenkanankana kilo emu; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.
Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.
Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.
Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga. Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.
Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo, omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano.22:29Sekeri eza ffeeza amakumi ataano zenkanankana nga kitundu kya kilo Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.
Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.
Abatakkirizibwenga mu Kuŋŋaaniro lya Mukama
“Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
“Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira. Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo. Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu.
“Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri n’omu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Obutali Bulongoofu mu Lusiisira
“Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe. Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru. Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.
“Onootegekanga ekifo ebweru w’olusiisira ky’onoolagangamu okweteewuluza. Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo. Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.
Amateeka Agatali Gamu
“Omuddu omugule bw’anaabombanga n’ava ku mukama we mu nsi endala, n’ajja ne yeekweka gy’oli, tomuzzangayo wa mukama we. Omulekanga n’abeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo ky’aneerobozanga. Tomujooganga.
“Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri. Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.
“Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.
“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.
“Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”
Amateeka g’Ebyobufumbo
Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.
Amateeka Agatali Gamu
Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.
Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.
Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.
Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde. Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.
Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.
Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga. Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu. Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu. Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
Abantu babiri bwe banaabanga n’enkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga z’amateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze n’oyo gwe gusinze. Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza, naye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.
Ente25:4 Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga. temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.
Obuvunaanyizibwa eri Owooluganda Afudde
Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.
Ebiragiro Ebirala
Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi w’omu bw’anajjanga okutaasa bba ku mulabe we n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, omutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.
Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.
Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.
Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye
Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe26:5 Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo. yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.
Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo. Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira. Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”
Mugonderenga Amateeka ga Mukama
Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna. Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga. Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.
Ekyoto ku Lusozi Ebali
Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga. Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma. Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo. Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo. Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”
Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”
Ebikolimo Ekkumi n’Ebibiri
Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti, Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini. Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali. Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:
“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Emikisa Eri Abawulize
Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:
Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.
Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.
Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.
Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.
Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.
Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.
Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.
Ebikolimo olw’Obutawulira
Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:
Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.
Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.
Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.
Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.
Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse. Mukama alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye. Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira. Eggulu waggulu w’omutwe gwo liribeera ng’ekikomo, n’ettaka wansi wo liriba ng’ekyuma. Mukama alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa.
Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi. Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako. Mukama anaakulwazanga amayute g’e Misiri, n’ebizimba, n’amabwa, n’obuwere, by’otoowonyezebwenga. Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, n’okukutabulatabulanga mu ndowooza yo. Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.
Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu. Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza. Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola. Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera. Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu. Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe.
Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja. Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gy’anaabanga akulazizza. Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna. Onoosimbanga essamba z’emizabbibu n’ogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku nvinnyo wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga. Onoobeeranga n’emiti egy’emizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi. Olizaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe. Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna n’ebibala eby’omu ttaka lyo.
Bannamawanga b’onoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi. Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira.
Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga. Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna. Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu. Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala.
Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera. Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato. Balirya abaana b’ebisolo by’omu malundiro go, n’ebibala eby’omu ttaka lyo okutuusa lw’olizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku nvinnyo oba ku mafuta, wadde ku nnyana ez’ebiraalo byo, oba ku baana b’endiga ab’ebisibo byo, okutuusa lw’olizikirira. Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Olw’okubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala by’olubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo b’anaabanga akuwadde. Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo; taawengako n’omu ku nnyama y’abaana be b’anaabanga alya. Kubanga nga takyalina ky’asigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kw’anaabanga akutuusizzaako ng’akuzingirizza mu bibuga byo byonna. Omukazi asinga obuntubulamu n’eggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we, ku mwana gw’anaabanga y’akazaala ow’omu lubuto lwe, n’abaana b’anaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olw’okubulwako ekyokulya ekirala mu biseera eby’okuzingizibwa era eby’ennaku enzibu ennyo, omulabe wo by’anaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.
Bw’otoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n’ototya era n’otossaamu kitiibwa erinnya lino ery’ettendo era ery’entiisa, eriyitibwa: Mukama Katonda wo, kale nno, Mukama anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe n’eri ezzadde lyo; endwadde ez’olutentezi era enkambwe ennyo ez’olukonvuba. Anaakuleeteranga endwadde zonna ez’e Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako. Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa. Era mulisigala ng’omuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ng’emmunyeenye ez’oku ggulu olw’obungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo. Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya.
Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako. Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi. Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa. Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga. Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ng’oli eyo oneewangayo weetunde ng’omuddu omusajja oba ng’omuddu omukazi, naye toofunengayo muntu n’omu akugula.
Okuzza Obuggya Endagaano
Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.
Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.
Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.
Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.
Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.
Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”
Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”
Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.
Obwesigwa bwa Mukama Katonda Obutajjulukuka
Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, n’okyuka n’odda eri Mukama Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza. Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo. Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo. Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu. Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga. Bw’otyo n’oddamu okugonderanga Mukama Katonda ng’okwata amateeka ge, ge nkulagira leero. Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.
Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa
Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere. Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.
Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.
Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo: ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.
Musa Alaamiriza Yoswa
Awo Musa n’agenda n’abuulira Isirayiri yonna ebigambo bino, n’agamba nti, “Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. Mukama Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’ Mukama Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye. Era nga Mukama Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abamoli n’ensi yaabwe, n’abazikiriza, ne bano bw’alibakola. Mukama Katonda agenda kubagabula gye muli, era kiribagwanira okubakolako nga mugobererera ddala ebiragiro byange bye mbawadde nga bwe biri. Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.” Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira. Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”
Amateeka Ganaasomwanga Buli Mwaka ogw’Omusanvu
Awo Musa n’awandiika amateeka ago, n’agakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda, era n’awaako n’abakadde bonna abakulembeze b’abaana ba Isirayiri. Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira, Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira. Okuŋŋaanyanga31:12 Ye mbaga yokka eyabeerangako abakyala n’abaana, nga bazze okuwuliriza ebyasomebwanga mu Mateeka. abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”
Ebiragiro bya Mukama Ebyasembayo eri Musa
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Obudde bwo obw’okufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.”
Awo Mukama Katonda n’alabikira mu Weema ng’ali mu mpagi ey’ekire; empagi ey’ekire n’eyimirira waggulu w’omulyango gw’Eweema. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda ab’omu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo. Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’ Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olw’ebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala.
“Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri. Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange. Obubenje obw’akabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ng’omujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga n’okubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.” Bw’atyo, ku lunaku olwo, Musa n’awandiika oluyimba luno n’aluyigiriza abaana ba Isirayiri.
Awo Mukama n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.”
Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo eby’amateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero, Musa n’alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama, ng’agamba nti, “Mutwale Ekitabo ky’Amateeka kino mukiteeke awali Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ng’omujulirwa gy’oli. Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo! Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza. Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”
Oluyimba Mukama lwe yalagira Musa
Awo Musa n’ayogera, ebigambo by’oluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo n’okulutuusa ku nkomerero ng’ekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.
Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
omwenkanya era omutereevu mu byonna.
Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
baswavu era tebakyali baana be,
wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
n’akussaawo n’akunyweza?
Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
so tewabangawo katonda mulala.
Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
eri bakatonda be batamanyangako,
bakatonda abaggya abaali baakatuuka
bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
Weerabira Olwazi eyakuzaala,
weerabira Katonda eyakuzaala.
Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako
kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
abaana abatalinaamu bwesigwa.
Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,
ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.
Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,
ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,
ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,
gusenkenya ensi n’ebibala byayo,
ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.
Nzija kubatuumangako emitawaana
ne mbayiwangako obusaale bwange.
Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,
n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;
ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu
n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya
wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,
kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,
ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde,
Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”
Lye ggwanga omutali magezi,
mu bo temuliimu kutegeera.
Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
abalabe baffe bakiriziganya naffe.
Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
ebirimba byazo bikaawa;
wayini waazo bwe butwa bw’emisota
obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
Ekyo saakyeterekera,
nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
olwazi mwe beekweka.
Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
kale babawe obubudamo babakuume!
Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,
kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,
aliwalana abalabe be,
era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
Okufa kwa Musa Kulangibwa
Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, “Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”
Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo
Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. Yagamba nti,
“Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
Mazima gw’oyagala abantu,
abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.
Bavuunama wansi ku bigere byo
ne bawulira ebiragiro by’obawa.
Ge mateeka Musa ge yatuwa
ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo
n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
Kino kye yayogera ku Yuda:
“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;
omuleete eri abantu be.
Yeerwaneko n’emikono gye.
Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
Bino bye yayogera ku Leevi:
“Sumimu wo ne Ulimu wo
biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.
Wamukebera e Masa
n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,
‘Abo sibafaako.’
Baganda be teyabategeeranga
wadde okusembeza abaana be;
baalabiriranga ekigambo kyo
ne bakuumanga endagaano yo.
Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo
ne Isirayiri amateeka go.
Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,
n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,
era okkirize emirimu gy’emikono gye.
Okubirenga ddala abo abamugolokokerako
okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
Bye yayogera ku Benyamini:
“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,
Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,
omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
Yayogera bw’ati ku Yusufu:
“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,
n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu
n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,
n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,
n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,
n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.
Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,
mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
nga ze nkumi za Manase.”
Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:
“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;
ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi
ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,
banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,
nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
Yayogera bw’ati ku Gaadi:
“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,
Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma
ng’ayuza omukono n’omutwe.
Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,
omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.
Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
ye yabasalira emisango gya Mukama,
n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
Yayogera bw’ati ku Ddaani:
“Ddaani mwana gwa mpologoma,
ogubuuka nga guva mu Basani.”
Yayogera bw’ati ku Nafutaali:
“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda
era ng’ojjudde emikisa gye,
onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
Yayogera bw’ati ku Aseri:
“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,
ku baganda be gwe babanga basinga okwagala
era emizabbibu33:24 Waabangawo amafuta agaggibwanga mu mizabbibu, era amafuta ago kaali kabonero akalaga obugagga. gigimuke nnyo mu ttaka lye.
Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo
n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
ne ku bire mu kitiibwa kye.
Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,
ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,
mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,
eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
Ani akufaanana,
ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
era onoobalinnyiriranga.”
Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu
Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”
Awo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.
Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.