- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Ebikolwa by’Abatume
Ekitabo Ekiyitibwa Ebikolwa by’Abatume
Ebikolwa by’Abatume
Bik
Ekitabo Ekiyitibwa
Ebikolwa by’Abatume
Yesu Atwalibwa mu Ggulu
Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”
Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”
Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:
Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,
ne Firipo ne Tomasi,
ne Battolomaayo, ne Matayo,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote1:13 Omuzerote Abazerote be baayeekeranga gavumenti y’Abaruumi mu biro ebyo”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
Matiya Asikira Yuda
Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, “Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,
“ ‘Ekibanja kye kizike,
so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.
Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote
Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”
Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”
Okwogera kwa Peetero
Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
baliwa obunnabbi.
Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
n’obubonero ku nsi wansi,
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
Enjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
alirokolebwa.’
“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. Kubanga Dawudi amwogerako nti,
“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
nneme okusagaasagana.
Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
Wandaga amakubo g’obulamu,
era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’
“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.
Obulamu bw’Abakkiriza
Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
Peetero Awonya Omulema
Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.
Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.
Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu
Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’
“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
Okusaba kw’Abakkiriza
Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:
“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
Bakabaka b’ensi
n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
n’okulwanyisa Kristo we.’
Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
Abakkiriza Okugabanira Awamu Ebyabwe
Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.
Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo, n’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.
Ananiya ne Safira
Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.
Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi. Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo. Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
Abatume Bawonya Abantu Bangi
Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo. Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
Abatume Bayigganyizibwa
Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya. Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna. Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya, n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”
Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.
Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.” Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.
Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja. Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu. Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi. Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta. Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru. N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako. Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo. Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako. Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma. Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya. Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.
Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi. Awo ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere. Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ng’abantu b’amagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo. Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, n’okubuulira n’okuyigiriza.”
Ebigambo ebyo byonna abaakuŋŋaana ne babisiima. Ne balonda Suteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo eyava mu Antiyokiya, ne babanjula eri abatume. Abatume ne babasabira, ne babasaako emikono.
Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna n’omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza.
Okukwatibwa kwa Suteefano
Suteefano, ng’ajjudde ekisa kya Katonda n’amaanyi, n’akolanga ebyamagero bingi n’obubonero mu bantu. Naye abamu ku b’omu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, n’Abakuleene n’Abalegezanderiya, n’Abakirukiya n’Abasiya, ne bawakana ne Suteefano. Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi n’Omwoyo bye yayogeza.
Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.
Abantu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu. Abajulizi ab’obulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu n’amateeka. Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”
Ab’Olukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ng’amasamasa ng’aga malayika!
Okwogera kwa Suteefano mu Lukiiko
Awo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani. N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano. Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana! Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina. Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’ Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye, n’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
“Awo enjala n’egwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, n’ereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere. Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano n’atumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka. Ku mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era n’ayanjulira Falaawo baganda be. Bw’atyo Yusufu n’atumya kitaawe, Yakobo, era n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano. Bw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe. Oluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gw’effeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.
“Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri. Awo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri. Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu. Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we. Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.
“Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri. N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa. Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera. Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
“Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
“Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka. Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti, ‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu. Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe. Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu7:36 ye Nnyanja ey’Ebitoogo, n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’ Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri. Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’ Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe. Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,
“ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana,
ggw’ennyumba ya Isirayiri?
Muzimbye essabo lya Moloki,
ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani,
nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze.
Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.
“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. Naye Sulemaani ye yagizimba.
“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,
“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’
“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
Suteefano Akubwa Amayinja
Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji. Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.
Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
Ekkanisa Eyigganyizibwa
Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.
Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Firipo Abuulira mu Samaliya
Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; ekibuga ne kijjula essanyu.
Simooni Omufumu
Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Firipo n’Omwesiyopya
Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Okukyuka kwa Sawulo
Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
Ayineya ne Doluka
Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.
Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.
Koluneeriyo Atumya Peetero
Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano. Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo. Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”
Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”
Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira. Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire. Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”
Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza, n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.
Peetero Alabikirwa
Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”
Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”
Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.
Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”
Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.
Peetero mu Maka ga Koluneeriyo
Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.
Awo Peetero n’agamba nti, “Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
Peetero Annyonnyola
Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”
Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’
“Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.
“Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’
“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
Ekkanisa mu Antiyokiya
Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
Balunabba ne Sawulo Batumibwa mu Yerusaalemi
Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi. Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo. Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola, ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.
Peetero Aggyibwa mu Kkomera
Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode n’atandika okuyigganya abamu ku bakkiriza ab’omu Kkanisa. N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala. Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.
Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.
Ekiro ekyo, ng’enkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, nga ne ku mulyango gw’ekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.
Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”
Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo. Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”
Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”
Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo. N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.
Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ng’abaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?” Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya n’ababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa n’alagira babafulumye babatte.
Okufa kwa Kerode
Oluvannyuma Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda abeera e Kayisaliya. Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.
Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna. Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.
Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.
Balunabba ne Sawulo Baddayo mu Antiyokiya
Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.
Balunabba ne Sawulo Batumibwa
Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”
Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
Balunabba ne Pawulo mu Antiyokiya eky’e Pisidiya
Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro. Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize! Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi, n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu. N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe, okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano.
“Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri. Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana. Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’
“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya. Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,
“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.
Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, “Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.
Balunabba ne Pawulo Badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya
Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.
Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.
Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi
Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.
Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.
Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”
Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga. Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize. Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa. Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,
“ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo,
ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa.
Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,
n’abantu abalala
basobole okunoonya Mukama,
era n’abamawanga be nayita okuba abantu bange.
Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’
“Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya. Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi. Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”
Ebbaluwa y’Olukiiko eri Abaamawanga Abakkiriza
Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira. Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti:
Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa,
Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya:
Abooluganda tubalamusizza.
Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima. Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo, abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe. Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno. Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi.
Mweraba.
Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo. Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu. Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe. Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza. Naye Siira n’asalawo okusigalayo. Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.
Pawulo ne Balunabba Baawukana
Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.
Timoseewo Yeegatta ku Pawulo ne Siira
Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani, abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere. Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani. Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga. Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
Okwolesebwa kwa Pawulo
Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza. Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Pawulo ne Siira Basibwa mu Kkomera
Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi. N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.” Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”
Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.
Pawulo mu Sessaloniika
Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
Pawulo mu Beroya
Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe. Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima. Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.
Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina. Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
Pawulo mu Asene
Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala. N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale. Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.” Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago17:19 Aleyopaago kaali kasozi okwali lubaale ow’olutabaalo Ale. nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya, kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.” Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:
Kya Katonda Atamanyiddwa.
Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.
“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna. Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago. Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.” Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe. Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.
Pawulo mu Kkolinso
Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso. Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi. Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo. Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro. Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.” Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.” Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.” Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
Pulisikira ne Akula
Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze. Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza. N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso. Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
Apolo mu Efeso ne mu Kkolinso
Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa, kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
Pawulo mu Efeso
Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko, n’ababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.” N’ababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.” Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi. Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.
Pawulo n’ayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ng’abuulira n’obuvumu bungi okumala emyezi esatu, n’abategeezanga ekyo ky’akkiriza era n’ensonga kyava akkiriza, n’asendasenda bangi okukkiriza ebintu by’obwakabaka bwa Katonda. Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika n’okwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo n’abaviira, n’atwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge ky’essomero lya Tulaano buli lunaku. Ne bamala emyaka ebiri n’okusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna n’Abayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.
Batabani ba Sukewa
Katonda n’akozesanga Pawulo eby’amagero eby’ekitalo. Obutambaala bwe n’ebiwero eby’engoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.
Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira, nkulagira omuveeko.” Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo. Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni n’abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe b’ani?” N’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, n’abataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.
Ebigambo ebyo ne bibuna mangu mu Bayudaaya ne mu Bayonaani abaali mu Efeso, era bonna ne bakwatibwa entiisa nnene, n’erinnya lya Mukama waffe Yesu ne liweebwa ekitiibwa kingi. Bangi mu abo abakkiriza ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu ne baatula n’ebikolwa byabwe. Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ng’abantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gw’ensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi. Awo ekigambo kya Mukama ne kyeyongera okubuna mu maanyi n’okunywera.
Akasasamalo mu Efeso
Oluvannyuma lw’ebyo okutuukirira Pawulo n’alowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ng’ayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. N’agamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.” N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.
Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo ak’amaanyi ku bigambo by’ekkubo. Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga y’akola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi. Awo Demeteriyo n’ayita abakozi be bonna wamu n’abo abakola emirimu egikwatagana n’egigye, ne bakuba olukuŋŋaana. N’alyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga. Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda. Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”
Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese. Pawulo n’ayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza. N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.
Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza. Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba. Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.
Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu. Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe. Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi n’ekimu, wadde okumunyoomoola. Obanga Demeteriyo n’abakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga z’amateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole. Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lw’Ekibuga olwa bulijjo. Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.” Awo n’abasiibula, ne basaasaana.
Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani
Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa
Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.
Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.
“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.
Pawulo Agenda e Yerusaalemi
Awo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala. Okuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya. Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu. Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba. Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.
Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu. Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka. Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.
Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya. Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”
Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.” Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”
Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi. Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza. Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.
Pawulo Akyalira Yakobo
Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo. Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.
Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya. Baategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya. Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa. Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa. Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”
Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.
Pawulo Akwatibwa
Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.” Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.
Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo. Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.
Awo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?” Ne bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale. Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo. Ekibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”
Pawulo Ayogera n’Ekibiina
Awo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, n’asaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?”
N’amuddamu nti, “Omanyi n’Oluyonaani? Ye si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, n’okulembera abatemu enkumi nnya n’obalaza mu ddungu?”
Pawulo n’addamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere n’abantu bano.”
Awo omuduumizi w’abaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’akoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, n’alyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ng’abagamba nti:
“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.” Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala. Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero. Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera. Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola. Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
“Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’
“N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’ Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.
“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’
“Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’ Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.
“Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa, n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!
“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke. Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde. Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase, ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’
“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera. Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’
“Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ”
Pawulo Omuruumi
Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!” Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga. Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?”
Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.”
Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”
Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
Olukwe Okutta Pawulo
Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”
Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.
Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”
Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”
Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya
Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”
Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:
Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.
Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.
Pawulo Awozesebwa mu Maaso ga Ferikisi
Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo. Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go. Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde. Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.
“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo. N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira, naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi, n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”
Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.
Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.
“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”
Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.
Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.
Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.
Pawulo Ajulira ewa Kayisaali
Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ng’azze okutandika emirimu gye emiggya, n’asitula okugenda e Yerusaalemi. Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo. Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo. Naye Fesuto n’abaddamu nti, “Nga Pawulo bw’ali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono, abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gw’azizza baguleete mu mbuga z’amateeka awozesebwe.
Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka. Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo. Pawulo n’awoza ng’agamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya n’akamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.” Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”
Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya. Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.” Fesuto, bwe yamala okuteesaamu n’abamuwa amagezi, n’addamu nti, “Nga bw’ojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”
Fesuto Yeebuuza ku Kabaka Agulipa
Awo bwe waayitawo ennaku Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka mu Kayisaliya okukyalira Fesuto. Ku bugenyi baamalako ennaku nnyingi, era mu bbanga eryo Fesuto n’ategeeza kabaka eby’omusango gwa Pawulo. N’amugamba nti, “Waliwo omusajja wano Ferikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe. Bwe nnali mu Yerusaalemi, bakabona ne bantegeeza emisango gye baali bamuvunaana, ne bansaba musalire omusango gumusinge era abonerezebwe.
“Ne mbannyonnyola nti mu mateeka g’Ekiruumi, omuntu tasalirwa musango kumusinga nga tamaze kuwozesebwa n’aweebwa omukisa okuwoza n’abamuwawaabira. Bwe bajja wano okuwoza omusango ogwo, enkeera ne mpita Pawulo n’ajja mu mbuga z’amateeka. Naye emisango gye baamuwawaabira si gye gyo gye nnali nsuubira. Gyali gikwata ku bya ddiini yaabwe, ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gw’ategeeza abantu nti mulamu! Ebyo ne binnemesa. Kwe ku mubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi. Naye Pawulo n’ajulira eri Kayisaali! Bwe ntyo ne mmuzzaayo mu kkomera, nteeketeeke okumuweereza eri Kayisaali.”
Agulipa n’agamba nti, “Nange nandiyagadde okuwulira ku musajja ono by’agamba.” Fesuto n’addamu nti, “Enkya onoomuwulira.”
Pawulo mu Maaso ga Agulipa
Awo ku lunaku olwaddirira Agulipa ne Berenike ne bayingira n’ekitiibwa kinene nnyo mu kisenge ekinene we batuukira, nga bawerekerwako abaserikale n’abantu abatutumufu mu kibuga. Fesuto n’alagira ne baleeta Pawulo. Fesuto n’alyoka agamba nti, “Kabaka Agulipa, nammwe mwenna abali wano ono ye musajja, Abayudaaya aba kuno n’abo ab’omu Yerusaalemi, gwe bansabye attibwe! Nze nga bwe ndaba, talina ky’akoze kimusaanyiza kufa. Naye bwe yajulira eri Kayisaali, nange kwe kusalawo okumuweereza e Ruumi. Naye bye nnassa mu bbaluwa emutwala eri Kayisaali nange bimbuze, kubanga taliiko musango gwennyini gwe yazza! Kyenvudde muleeta mu maaso gammwe mwenna, n’okusingira ddala gy’oli, Kabaka Agulipa, nga neesiga ng’okuva mu ebyo bye munaamubuuza, naye by’anaddamu, nzija kufunamu bye nnassa mu bbaluwa ya Kayisaali. Kubanga sirowooza nti kirungi okuweereza omusibe eri Kayisaali ng’omusango gw’azizza tegunnyonnyose.”
Empoza ya Pawulo mu Maaso ga Agulipa
Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n’agolola omukono gwe, n’awoza nti, “Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana, kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.
“Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi. Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina eky’Abafalisaayo, eky’omu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga ey’Ekiyudaaya. Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe, ebika byaffe ekkumi n’ebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana n’ekiro; era olw’essuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana. Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?
“Nze ku lwange nalowooza nti kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, n’obukambwe bungi. Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira. Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.
“Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga eky’enjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo. Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’ Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’addamu nti, ‘Nze Yesu, gw’oyigganya. Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga. Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’
“Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu, naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira. Eyo y’ensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako n’okunzita. Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”
Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”
Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima. Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso! Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”
Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?” Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma. Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”
Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”
Pawulo Agenda e Ruumi
Awo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo n’abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali ow’omu kibinja kya Kayisaali Agusito. Ekyombo eky’e Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni ow’e Sessaloniika ali naffe.
Ku lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo n’akolera Pawulo eky’ekisa n’amukkiriza n’agenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza. Bwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo. Bwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogw’e Lukiya. Eyo omukulu w’ekitongole n’alabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, n’atusaabaza omwo. Twamala ennaku nnyingi ng’ennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lw’e Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ng’omuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone. Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi n’ekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.
Okulabula kwa Pawulo Kulagajjalirwa
Bwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi, ng’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.” Naye omukulu w’ekitongole n’awalirizibwa okugondera amagezi g’omugoba w’ekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.
Omuyaga
Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete. Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo. Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala. Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali g’akazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana, ne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo n’emiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olw’okutya nti ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga. Olunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.
Obuvumu bwa Pawulo n’Okukkiriza kwe
Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa! Naye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali n’omu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira. Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, n’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’ Noolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”
Ekyombo Kisaanawo
Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi. Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu. Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya. Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo. Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.” Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.
Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya. Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.” Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya. Amangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere. Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo. Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu. Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba. Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu, n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.
Pawulo mu Merita
Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
Pawulo Atuuka mu Ruumi
Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti. Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu. Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli. Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi. Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
Pawulo Abuulira mu Ruumi nga bw’Akuumibwa
Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma. Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
N’amatu gaabwe gazibikidde,
n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
ne bawulira n’amatu gaabwe,
ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.