- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 2 Ebyomumirembe Ekitabo Ekiyitibwa Ebyomumirembe Ekyokubiri 2 Ebyomumirembe 2By Ekitabo Ekiyitibwa Ebyomumirembe Ekyokubiri Sulemaani Asaba Amagezi Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo. Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe. Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu. Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema. Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama. Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi. Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.” Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we. Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo. Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?” Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe, amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.” Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri. Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga. Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi. Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo. Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli. Enteekateeka z’Okuzimba Yeekaalu Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga. Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri. “Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge? “Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka. “Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.” Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.” N’ayongerako na kino nti, Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri. “Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi. “Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.” Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga. Sulemaani Azimba Yeekaalu Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe. Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge. N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu. Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi. Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini3:17 Yakini amakulu nti yeeteekawo, n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi3:17 Bowaazi amakulu nti mu ye mwe muli amaanyi. Ebintu Ebyole ebya Yeekaalu Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu. N’akola Ennyanja ensaanuuse, nga neekulungirivu, nga ya mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ng’obugulumivu eri mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate ng’obwetooloovu eri mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga. Ennyanja yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n’essatu endala nga zitunuulira ebugwanjuba, n’essatu endala nga zitunuulira obukiikaddyo, n’essatu endala nga zitunuulira ebuvanjuba. Ennyanja yatuulanga ku zo waggulu, n’amagulu gaazo ag’emabega nga gatunudde munda, wakati waayo. Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga. N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu. N’akola ebikondo eby’ettaala ez’omukono kkumi nga bya zaabu, ng’ekiragiro kyabyo bwe kyali, n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu. N’akola oluggya lwa bakabona, n’oluggya olunene ddala, n’enzigi ez’oluggya, n’enzigi n’azisaaba n’ekikomo. Ennyanja n’agiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba mu yeekaalu. N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli. Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda: empagi bbiri, n’emitwe egifaanana ng’ebakuli ku mitwe gy’empagi, n’ebitimba bya mirundi ebiri nga bibeera ku mitwe egyali ku mpagi, n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi. N’akola n’ebiyimirirwako, n’amabensani gaakwo, n’Ennyanja n’ebifaananyi by’ente ennume emumbe, n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama yabizigula n’ekikomo. Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zereda. Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa. Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda: ekyoto ekya zaabu, n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga, n’ebikondo eby’ettaala ez’omukono nga bya zaabu, wamu ne ttaala zaabyo, okwakiranga mu maaso g’awaayimirirwanga okwogera, ng’ekiragiro bwe kyali, n’ebimuli, ne ttaala, ne wuuma nga byonna zaabu ntuukirivu, n’ebisalako ebisirinza, ne bensani, ne bbakuli ez’okumansira akaloosa, ne fulampeni nga bya zaabu ennongoose, n’enzigi za yeekaalu, n’enzigi ez’omunda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n’enzigi ez’ekisenge ekinene, nga byonna bya zaabu. Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda. Essanduuko Ereetebwa mu Yeekaalu Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi. Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu. Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko, ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula. Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo. Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo. Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero. Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri. Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe. Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere. Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire. Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama. Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “Mukama eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte; nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.” Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa. N’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti, “ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’  “Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo, naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’  “Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.” Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwonga Eyeekaalu Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye. Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu. N’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna. Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero. “Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’ Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire. “Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu? Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli. Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino. Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga. “Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga. “Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno, kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe. “Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo, kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo. “Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki, ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu; balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe. “Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno, kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo. “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo, kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu. “Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi, oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’ era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo, kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye. “Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino. “Era kaakano, Ayi Mukama Katonda golokoka, okke mu kifo kyo eky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go. Bakabona bo Ayi Mukama Katonda, bambazibwe obulokozi, era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo. Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta. Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.” Okuwongebwa kwa Yeekaalu Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo kabaka n’abantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. Kabaka Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ey’ente ezawera emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Awo kabaka n’abantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama. Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira. Sulemaani n’atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe kubanga ku kyoto eky’ekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa n’ebiweebwayo ebyobutta, n’ebitundu n’amasavu. Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri. Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu. Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri. Mukama Alabikira Sulemaani Omulundi Ogwokubiri Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka, Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka. “Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino. Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna. “Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange, ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’  “Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza, ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna. Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ” Ebirala Sulemaani bye Yakola Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu. Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba. Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi. N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi, n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga. Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri, be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero. Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze. Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu. Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.” Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza, nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira. N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo. Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi. Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu. Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu. Okukyala kwa Kabaka Omukazi w’e Seeba Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola. Awo Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani, n’olubiri lwe yali azimbye, n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, n’aggwaamu omwoyo. N’agamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo n’amagezi go bya mazima, naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira. Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa! Mukama Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.” N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. Abasajja ba Kulamu n’abasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga n’emitoogo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda. Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye. Obugagga bwa Sulemaani Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano, okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza. Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube. N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni. Kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene nga ya masanga, n’agibikkako zaabu ennongoose. Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna. Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi. Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi. Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna ab’ensi. Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu. Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi n’amagaali; n’abavuzi ab’amagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali, n’abamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi. Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri. Kabaka n’afuula ffeeza okuba ekya bulijjo ng’amayinja mu Yerusaalemi era n’emivule ne giba mingi ng’emisukamooli egiri mu biwonvu. Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri n’ensi endala. Okufa kwa Sulemaani Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati? Sulemaani n’afugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. N’afa era n’aziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we n’amusikira. Isirayiri Ejeemera Lekobowaamu Lekobowaamu n’agenda e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka. Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, n’akomawo. Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isirayiri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti, “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekinene, naye kaakano tukendeereze ku lyanyi n’ekikoligo kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.” N’abaddamu nti, “Mulikomawo gye ndi mu nnaku ssatu.” Abantu ne bagenda. Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?” Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.” Naye Lekobowaamu n’aggaya amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, ate nga be bamuweereza mu kiseera ekyo. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” Abavubuka be yali akuze nabo ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abakugambye nti, ‘Ekikoligo kitaawo kye yatuteekako kyali kizito, naye kaakano kitukendeerezeko,’ nti, ‘Nasswi wange asinga ekiwato kya kitange obunene. Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kwongera ku kikoligo kyammwe obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.’ ” Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu n’abantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lw’ennaku ssatu.” Kabaka n’addamu n’ebboggo. N’agaana okuwuliriza amagezi g’abakadde, n’agoberera amagezi ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.” Kabaka n’atawuliriza bantu kubanga bw’atyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro. Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese? Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri! Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.” Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe. Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu n’asigala ng’abafuga. Kabaka Lekobowaamu n’atuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egy’ekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye n’ayanguwa okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. Awo Isirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero. Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu. Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu. Lekobowaamu Anyweza Yuda Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye. Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe, nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye. N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani. Ennyumba ya Lekobowaamu Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga. Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi. Sisaki Alumba Yerusaalemi Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama. Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama. N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri. N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi. Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ” Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.” Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki. Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.” Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka. Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi. Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe. Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira. Abiya Kabaka wa Yuda Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana. Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize! Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo? Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera. Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina. “Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala? Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala. “Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi. Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako. Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.” Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda. Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere. Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Yuda. Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa. Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama n’alwaza Yerobowaamu n’afa. Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga. Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo. Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi. Asa kabaka wa Yuda Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we. N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema. N’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye. Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe. N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna. N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala. Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira. Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa. Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa. Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.” Awo Mukama n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka. Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi. Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi. Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi. Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi, n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga. Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda ow’amazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba n’amateeka. Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba. Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo. Amawanga n’amawanga gaalwanagananga, n’ebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo. Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.” Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama. N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye. Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Asa. Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu. Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna. Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja. Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery’omwanguka, wamu n’okufuuwa amakondeere n’eŋŋombe. Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza n’okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama n’abawa emirembe enjuuyi zonna. Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni. Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna. Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga. Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egy’obufuzi bwa Asa. Emyaka gya Asa egyasembayo Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda, n’azimba ebigo ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuyingira wadde okufuluma mu nsalo ya Asa kabaka wa Yuda. Awo Asa n’addira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebyali mu lubiri lwa kabaka, n’abiweereza Benikadadi kabaka w’e Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, n’aweereza n’obubaka nti, “Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng’eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.” Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa, era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne bawamba Yiyoni, ne Ddaani ne Aberumayimu, n’ebibuga byonna eby’amaterekero ebya Nafutaali. Awo Baasa bwe yawulira ekyo, n’alekeraawo okuzimba mu Laama, n’omulimu n’agukomya. Kabaka Asa n’aleeta Yuda yenna e Laama, ne baggyayo amayinja n’embaawo Baasa bye yali azimbisa, Asa n’abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa. Mu biro ebyo Kanani omulabi n’ajja eri Asa kabaka wa Yuda, n’amugamba nti, “Olw’okwesiga kabaka w’e Busuuli mu kifo ky’okwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w’e Bwasuli kyelivudde likuddukako. Abaesiyopiya n’Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n’abeebagala embalaasi bangi? Naye, olwokubanga weesiga Mukama, kyeyava abagabula mu mukono gwo. Kubanga amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala. Ky’okoze kya busirusiru, era okuva ne leero ojja kubeeranga n’entalo.” Awo Asa n’anyiigira nnyo omulabi, n’amuteeka ne mu kkomera. Mu kiseera kye kimu Asa n’ayisa bubi nnyo abantu abamu. Ebyafaayo eby’obufuzi bwa Asa okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwe, Asa n’alwala ebigere. Newaakubadde ng’obulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka. Awo mu mwaka ogw’amakumi ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe, Asa ne yeebakira awamu ne bajjajjaabe. N’aziikibwa mu ntaana gye yali yeezimbidde mu kibuga kya Dawudi. Ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko obuloosa obwenjawulo n’obuwoowo obwa buli kika, ne bamukumira n’ekyoto ky’omuliro kinene nnyo okujjukira bye yakola. Yekosafaati Kabaka wa Yuda Yekosafaati mutabani wa Asa n’asikira Asa bw’atyo n’afuuka kabaka, n’okwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri. N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye. Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda. Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda. Ne wabaawo n’Abaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu. Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu. Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati. Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu. Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, n’azimba ebigo n’ebibuga eby’amaterekero mu Yuda, n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira. Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000), n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000); n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000). Okuva mu Benyamini: Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000), n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000). Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna. Mikaaya Ayogera Ebyobunnabbi Akabu Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu. Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi. Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.” Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.” Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?” Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.” Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.” Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ” Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.” Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.” Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.” Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.” Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?” Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ” Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?” Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri. Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’ “Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’ “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.” Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?” Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.” Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira, mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ” Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.” Akabu Afiira e Lamosugireyaadi Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo. Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.” Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo. Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba. Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa. Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako. Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.” Yekosafaati Alonda Abalamuzi Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe. N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.” Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu. N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu. Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango. “Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.” Yekosafaati Awangula Abamowaabu n’Abamoni Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa. Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,” Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna. Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda. Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go. Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna? Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti, ‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’ “Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza, laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe. Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.” Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama. Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana. N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda. Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri. Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ” Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza. Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka. Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.” Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti, “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa. Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana. Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo. Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo. Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero. Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe. Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere. Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri20:29 Isirayiri, ssoma Yuda, kubanga Yekosafaati yafuganga Yuda. Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna. Enkomerero ey’Obufuzi bwa Yekosafaati Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki. N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe. Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri. Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi. N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba. Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi. Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda. Yekolaamu Kabaka wa Yuda Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.21:4 Isirayiri, ssoma Yuda. Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama. Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna. Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye. Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ” Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda. Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe. Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka. Akaziya Kabaka wa Yuda Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda. Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli. Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu. Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako. Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu. Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta. N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka. Asaliya ne Yowaasi Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda. Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya. Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi. Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi. Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda. Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki, ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama. Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira. Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.” Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo. N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda. Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu. Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama. N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!” Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo. Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama. Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali. Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira. N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka. Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala. Yowaasi Addaabiriza Yeekaalu Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba. Yowaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona. Yekoyaada n’amulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n’ayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo. Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?” Mu biro eby’emabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali. Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama. Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu. Abakungu bonna n’abantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga. Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi. Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza. Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada. Yekoyaada n’akaddiwa, n’awangaala nnyo, n’afa ng’aweza emyaka kikumi mu asatu egy’obukulu. N’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye. Enneeyisa Embi eya Yowaasi Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza. Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi. Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo. Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ” Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.” Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko. Newaakubadde ng’eggye ery’Abasuuli ly’ajja n’abasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gw’Abasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi. Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka. Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira. Amaziya Kabaka wa Yuda Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde. Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe. Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.” Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala. Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza. Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu. Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.” Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.” Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo. Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri. Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi. Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi. Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?” Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.” Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.” Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?” Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu. Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe. Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu. N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya. Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri? Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo. Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda. Uzziya Kabaka wa Yuda Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa. Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa. N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo. Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima. Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo. Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.” Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo. Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye. Yosamu Kabaka wa Yuda Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki. Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama. N’addaabiriza Omulyango ogw’Ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era n’akola omulimu munene ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Oferi. N’azimba n’ebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira n’azimbamu ebigo n’asimbamu n’eminaala. Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu. Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we n’amusikira. Akazi Kabaka wa Yuda Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali. N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi. Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko. Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene. Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka. Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi. Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu. Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe? Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.” Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo. Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.” Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna. Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya. Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe, kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe. Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera. Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda. Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba. Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba. Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama. N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna. Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe. Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira. Keezeekiya Atukuza Yeekaalu Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza. N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu. Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega. Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri. Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe. Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe. Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko. Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.” Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali: Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi, ne Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali, ne Yowa mutabani wa Zimma, ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni, ne Simuli ne Yeyeri bazzukulu ba Erizafani, ne Zekkaliya ne Mattaniya, bazzukulu ba Asafu, ne Yekweri ne Simeeyi, bazzukulu ba Kemani, ne Semaaya ne Wuziyeeri bazzukulu ba Yedusuni. Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama. Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni. Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza. Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna. N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.” Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya n’akuŋŋaanya abakungu ab’omu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya Mukama. Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama. Awo ne batta ente ennume, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto, oluvannyuma ne batta endiga ennume ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto, n’oluvannyuma ne batta n’endiga ento ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto. Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe, n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna. N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ng’ayita mu bannabbi be. Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere. Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga. Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa. Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza. Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza. Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa. Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu. Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona. Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa. Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo. Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo. Keezeekiya Atukuza Embaga ey’Okuyitako Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri. Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri; baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. Enteekateeka eyo n’erabika nga nnungi eri kabaka n’ekibiina kyonna. Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa. Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli. Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba. So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko. Bwe munadda eri Mukama, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.” Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira. Kyokka abamu ku bantu ab’e Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi. Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama. Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n’ebyoto byonna eby’okwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni. Ne batta Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogwokubiri. Bakabona n’Abaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama. Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi. Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama. Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.” Mukama n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza. Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba n’ebivuga eby’okumutendereza. Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okweyongerayo ennaku endala musanvu nga bali ku mbaga; bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga bajaguza. Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu. Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi. Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu. Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe. Ebirabo eby’Okusinza Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama. N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama. Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu. Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu. Awo Keezeekiya n’abakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza Mukama, ne basabira n’abantu be, Isirayiri, omukisa. Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu. Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.” Awo Keezeekiya n’alagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya Mukama, ne bagateekateeka. Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we. Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda. Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga. Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato. Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe. Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali. Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu. Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana. Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we. Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa. Sennakeribu Atiisatiisa Okulumba Yerusaalemi Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira. Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi, n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola. Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?” N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi. N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti, “Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera. Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa? Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta? Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”? “ ‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange? Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange? Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ” Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya. Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.” Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga. Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu. Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala. Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna. Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna. Amalala ga Keezeekiya, Obuwanguzi bwe, n’Okufa kwe Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero. Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya. Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo. N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga. Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini. Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga. Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira. Manase Kabaka wa Yuda Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama. N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri. Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda. Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi. Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira. Amoni kabaka wa Yuda Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola. Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama. Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe. Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye. Enkyukakyuka Yosiya ze yaleeta Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu. Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi. N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka. N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi. Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola, n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi. Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we. Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi. Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu. Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza. Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi. Ekitabo ky’Amateeka Kirabibwa Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga Mukama agaaweebwa Musa. Awo Kirukiya kabona n’agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo eky’amateeka mu yeekaalu ya Mukama.” N’akiwa Safani. Safani n’akitwalira kabaka, n’amutegeeza ne ku by’omulimu ng’agamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola. Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira n’abakozi.” Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka. Kabaka bwe yawulira ebigambo by’amateeka, n’ayuza ebyambalo bye. N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti, “Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.” Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri. N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’ Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde. Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ” Ne bazaayo obubaka eri kabaka. Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo. Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba. Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Yosiya Akwata Embaga ey’Embaga ey’Okuyitako Awo Yosiya n’akwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gw’endiga, ogw’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. N’alonda bakabona mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwabwe, n’abakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama. N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri, mweteeketeeke ng’ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika. “Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo. Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.” Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe. Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu. Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako. Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira. Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga. Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente. Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo. Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni. N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera. Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira. Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga ey’Okuyitako, ne bafumba n’embaga ey’Emigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu. Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi. Embaga ey’Okuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogw’okufuga kwa Yosiya. Okufa kwa Yosiya Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale. Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.” Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo. Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.” Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira. Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga. Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama, ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Awo abantu b’ensi eyo ne balonda Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya, n’asikira kitaawe mu Yerusaalemi. Yekoyakaazi Kabaka wa Yuda Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyezi esatu. Kabaka w’e Misiri yamugoba ku ntebe ey’obwakabaka mu Yerusaalemi, n’asalira Yuda obusuulu obwa ttani ssatu n’obutundu buna obwa ffeeza ne kilo amakumi asatu mu nnya eza zaabu. Kabaka w’e Misiri n’afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu, naye n’atwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri. Yekoyakimu Kabaka wa Yuda Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we. Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni. Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira. Yekoyakini Kabaka wa Yuda Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyezi esatu n’ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi. Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama. N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri. Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi. Okugwa kwa Yerusaalemi Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera. Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira. Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza. Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be. Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna. N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi. Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya. Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ng’ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okuwandiika nti, “Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, “ ‘Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ”