- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
1 Timoseewo
Ebbaluwa ya Pawulo Omutukuvu ey’Olubereberye eri Timoseewo
1 Timoseewo
1Ti
Ebbaluwa ya Pawulo Omutukuvu ey’Olubereberye eri
Timoseewo
Okulamusa
Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
Okwerinda Enjigiriza Enkyamu
Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
Okwebaza Katonda olw’Ekisa kye
Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Okusaba
Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka. Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi. Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.
Abalabirizi b’Ekkanisa
Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
Abadiikoni
Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.
Ekyama Ekikulu
Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:
“Yalabisibwa mu mubiri,
n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”
Abayigiriza ab’Obulimba
Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni, nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.
Omuweereza Omulungi owa Kristo Yesu
Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera. Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.
Obuvunaanyizibwa bw’Abakkiriza
Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.
Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.
Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.
Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.
Eby’abaddu ne Bakama Baabwe
Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi.
Omugaso gw’Okussaamu Katonda Ekitiibwa
Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga. Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda, aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira, n’okukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ng’okufuna amagoba kwe kutya Katonda. Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Okulabula
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.
Okulabula Abagagga
Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe.