- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
1 Basessaloniika
Ebbaluwa ya Pawulo Omutukuvu ey’Olubereberye eri Basessaloniika
1 Basessaloniika
1Bs
Ebbaluwa ya Pawulo Omutukuvu ey’Olubereberye eri
Basessaloniika
Nze Pawulo ne Sirwano1:1 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.
Okwebaza olw’Okukkiriza kw’Abasessaloniika
Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
Obuweereza bwa Pawulo mu Sessaloniika
Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ng’okujja kwaffe gye muli tekwafa busa. Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, n’okuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi. Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa, naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe. Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi, newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, tulyoke tulabike ng’abatume ba Kristo ab’amaanyi. Naye twefuula ng’abaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina w’abaana bwe yandyagadde abaana be, bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe. Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.
Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe, nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza. Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya. Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna, era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.
Pawulo Okwagala Okulaba Abasessaloniika
Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako. Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi n’emirundi, naye Setaani n’atuziyiza. Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe? Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.
Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
Lipoota ya Timoseewo Ezzaamu Amaanyi
Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Obulamu Obusanyusa Katonda
Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.
Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.
Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.
Okujja kwa Mukama waffe
Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.
Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Ebiragiro Ebisembayo
Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
Musabenga obutayosa. Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.