- Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 1 Ebyomumirembe Ekitabo Ekiyitibwa Ebyomumirembe eky’Olubereberye 1 Ebyomumirembe 1By Ekitabo Ekiyitibwa Ebyomumirembe eky’Olubereberye Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi; Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi; Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka, Lameka n’azaala Nuuwa. Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Batabani ba Yafeesi baali: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. Batabani ba Gomeri baali: Asukenaazi, ne Difasi1:6 Difasi era ye Lifasi; laba mu Lub 10:3 ne Togaluma. Batabani ba Yavani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu. Batabani ba Kaamu baali: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti1:8 Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, ne Kanani. Batabani ba Kuusi baali: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani. Kuusi n’azaala Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi. Mizulayimu n’azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu; ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu. Kanani n’azaala Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi; n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi; n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini; n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi. Batabani ba Seemu baali: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. Ate batabani ba Alamu baali: Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.1:17 Meseki era ye Masi; laba mu Lub 10:23 Alupakusaadi n’azaala Seera, Seera n’azaala Eberi. Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi, erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani. Yokutaani n’azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani. Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera, Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu. Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera, Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu. Batabani ba Ibulayimu baali Isaaka ne Isimayiri. Luno lwe lulyo lwabwe: Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri. Ezadde lya Ketula Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. Ate batabani ba Yokusaani baali Seeba ne Dedani. Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula. Ezadde lya Sala Ibulayimu n’azaala Isaaka; batabani ba Isaaka baali Esawu ne Isirayiri. Batabani ba Esawu baali Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola. Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi, ne Timuna ne Amaleki. Batabani ba Leweri baali Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza. Batabani ba Seyiri baali Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani. Batabani ba Sobali baali Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu. Ne batabani ba Zibyoni baali Aya ne Ana. Mutabani wa Ana yali Disoni, batabani ba Disoni nga be ba Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani. Batabani ba Ezeri baali Birukani, ne Zaavani ne Yaakani; batabani ba Disani baali Uzi ne Alani. Bakabaka ba Edomu Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga: Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba. Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka. Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka. Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi. Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye. Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye. Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye. Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu. Kadadi naye n’afa. Abakungu ba Edomu baali Timuna, ne Aliya, Yesesi, ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali, ne Magudyeri, ne Iramu. Abo be baali abakungu ba Edomu. Abaana ba Isirayiri Bano be baali batabani ba Isirayiri: Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri. Batabani ba Yuda baali Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani. Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta. Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano. Batabani ba Perezi baali Kezulooni ne Kamuli. Batabani ba Zeera baali Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano. Mutabani wa Kalumi ye yali Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa. Mutabani wa Esani ye yali Azaliya. Batabani ba Kezulooni baali Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi. Laamu n’azaala Amminadaabu, Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda. Nakusoni n’azaala Saluma, ne Saluma n’azaala Bowaazi, Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese. Yese n’azaala Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri, Simeeyi nga ye wookusatu, Nesaneeri nga ye wookuna, Laddayi nga ye wookutaano, Ozemu n’aba ow’omukaaga, Dawudi nga ye wa musanvu. Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri. Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri. Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi. Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba. Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli. Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri. Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu. Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi. Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi. Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa. Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu. Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali Maazi, ne Yamuni ne Ekeri. Batabani ba Onamu be baali Sammayi ne Yada, ate batabani ba Sammayi nga be ba Nadabu ne Abisuli. Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi. Batabani ba Nadabu be baali Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana. Mutabani wa Appayimu yali Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi. Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana. Batabani ba Yonasaani be baali Peresi ne Zaza. Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri. Sesani ye yalina baana ba buwala bokka, ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi. Attayi n’azaala Nasani, ne Nasani n’azaala Zabadi. Zabadi n’azaala Efulali, ne Efulali n’azaala Obedi. Obedi n’azaala Yeeku, ne Yeeku n’azaala Azaliya. Azaliya n’azaala Kerezi, ne Kerezi n’azaala Ereyaasa. Ereyaasa n’azaala Sisumaayi, ne Sisumaayi n’azaala Sallumu. Sallumu n’azaala Yekamiya, ne Yekamiya n’azaala Erisaama. Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri, ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu. Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni. Batabani ba Kebbulooni baali Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema. Sema n’azaala Lakamu, ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu. Lekemu n’azaala Sammayi. Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni, ne Mawoni n’azaala Besuzuli. Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira Kalani, ne Moza ne Gazezi. Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi. Batabani ba Yadayi baali Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu. Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira Seberi ne Tirukaana. Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna. Seva n’azaala Makubena ne Gibea. Muwala wa Kalebu ye yali Akusa. Abo be baali bazzukulu ba Kalebu. Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda, Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi. Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli. Batabani ba Saluma baali Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu. Ennyumba ya Dawudi Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni: Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri; owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli; n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi. Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula. Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, era bano be baana be yazaalira eyo: Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri. N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda. Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe. Olulyo lwa Sulemaani Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu, ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu, ne Asa nga ye mutabani wa Abiya, ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa, ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati, ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu, ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya, Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi, ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya, ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya. Akazi yali mutabani wa Yosamu, ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi, ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya. Amoni yali mutabani wa Manase, ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni. Batabani ba Yosiya baali Yokanaani omuggulanda, ne Yekoyakimu ye yali owookubiri, ne Zeddekiya nga wa wakusatu, ne Sallumu nga wakuna. Batabani ba Yekoyakimu baali Yekoniya ne Zeddekiya. Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba: Seyalutyeri mutabani we, ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya. Batabani ba Pedaya baali Zerubbaberi ne Simeeyi. Batabani ba Zerubbaberi baali Mesullamu ne Kananiya, ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi. Batabani ba Kananiya baali Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya. Ab’olulyo lwa Sekaniya baali Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga. Batabani ba Neyaliya baali Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu. Batabani ba Eriwenayi baali Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu. Ebika Ebirala ebya Yuda Bazzukulu ba Yuda abalala baali Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali. Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi. Ne bano, be baali baganda ba Etamu, ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa. Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu. Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala. Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala. Keera n’amuzaalira Zeresi, ne Izukali, ne Esumani ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu. Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe. Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka. Batabani ba Kenazi baali Osuniyeri ne Seraya. Batabani ba Osuniyeri baali Kasasi ne Myonosaayi. Myonosaayi n’azaala Ofula. Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi. Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali Iru, ne Era ne Naamu. Ne Era n’azaala Kenazi. Batabani ba Yekalereri baali Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri. Batabani ba Ezula baali Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza. Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona. Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi. Batabani ba Simoni baali Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. N’ab’ennyumba ya Isi baali Zokesi ne Benizokesi. Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya, Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera. Ekika kya Simyoni Batabani ba Simyoni baali Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli. Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma. Mutabani wa Misuma yali Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi. Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali. Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe. Mesobabu, ne Yamulaki, ne Yosa mutabani wa Amonya; ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri. Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya, ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya. Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe. Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda. Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero. Ekika kya Lewubeeni Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi. Ab’enda ya Yoweeri baali Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we, ne Simeeyi muzzukulu we. Mikka yali mutabani wa Simeeyi, ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we. Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse. Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano: Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri. Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo. Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi. Ekika kya Gaadi Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka. Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani. Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu. Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi. Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe. Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo. Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri. Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa. Ekitundu ky’Ekika kya Manase Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni. Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero. Ekika kya Leevi Batabani ba Leevi baali Gerusoni, ne Kokasi ne Merali. Batabani ba Kokasi ne baba Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Ate abaana ba Amulaamu baali Alooni, ne Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. Eriyazaali n’azaala Finekaasi, ate Finekaasi n’azaala Abisuwa; Abisuwa n’azaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi; Uzzi n’azaala Zerakiya, ne Zerakiya n’azaala Merayoosi; Merayoosi n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu; Akitubu n’azaala Zadooki, ate Zadooki n’azaala Akimaazi; Akimaazi n’azaala Azaliya, ne Azaliya n’azaala Yokanaani; Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi); Azaliya n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu; Akitubu n’azaala Zadooki, ne Zadooki n’azaala Sallumu; Sallumu n’azaala Kirukiya, ne Kirukiya n’azaala Azaliya; Azaliya n’azaala Seraya, ne Seraya n’azaala Yekozadaki; Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza. Batabani ba Leevi baali Gerusomu, ne Kokasi ne Merali. Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu, ne Libuni ne Simeeyi. Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri. Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe: Abaava mu Gerusomu baali Libuni mutabani we, ne Yakasi, ne Zimura, ne Yowa, ne Iddo, ne Zeera, ne Yeyaserayi. Bazzukulu ba Kokasi baali Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we, Assiri muzzukulu we; Erukaana muzzukulu we, Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we; Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we. Batabani ba Erukaana baali Amasayi ne Akimosi, ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi, ne Nakasi, ne Eriyaabu, ne Yerokamu, ne Erukaana ne Samwiri. Batabani ba Samwiri baali Yoweeri omuggulanda we, n’owokubiri nga ye Abiya. Bazzukulu ba Merali baali Makuli, ne Libuni, ne Simeeyi, ne Uzza, ne Simeeyi, ne Kaggiya ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana. Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa. Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe: Okuva mu Abakokasi; Kemani, omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri, muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu, muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa, muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi; muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya, muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi, muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri. Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati: Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya, muzzukulu wa Malukiya, muzzukulu wa Esuni, muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya, muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Yakasi, muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi. Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi, Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi, muzzukulu wa Malluki, muzzukulu wa Kasukabiya, muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Semeri, muzzukulu wa Makuli, muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali, mutabani wa Leevi. Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda. Ennyumba ya Alooni Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira. Bano be baava mu nda ya Alooni: mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi, muzzukulu we Abisuwa, muzzukulu we Bukki, muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya, muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya, muzzukulu we Akitubu, muzzukulu we Zadooki, ne muzzukulu we Akimaazi. Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo. Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo. Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni6:60 Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu. Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu. Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani. Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni. Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo. N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu. Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu. Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, ne Yokumyamu, ne Besukolooni, ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo. N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi. Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako. Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako); okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo; n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako. Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo; okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo; n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo. Ekika kya Isakaali Abaana ba Isakaali baali bana: Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni. Batabani ba Tola baali Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. Uzzi n’azaala Izulakiya. Izulakiya n’azaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu. Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga. Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu. Ekika kya Benyamini Benyamini yalina abatabani basatu, Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri. Batabani ba Bera baali Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana. Batabani ba Bekeri baali Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri. Mutabani wa Yediyayeri, yali Birukani, ate batabani ba Birukani nga be ba Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali. Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri. Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri. Ekika kya Nafutaali Batabani ba Nafutaali baali Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka. Ekika kya Manase Bano be baali bazzukulu ba Manase: Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi. Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka. Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka. Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu. Mutabani wa Ulamu yali Bedani, era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula. Batabani ba Semida baali Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu. Ekika kya Efulayimu Mutabani wa Efulayimu yali Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi, mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda, mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi, mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera. Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente. Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako. Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana. Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera. Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu, Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani, Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi, Ladani n’azaala Erisaama, Erisaama n’azaala Nuuni, Nuuni n’azaala Yoswa. Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde. Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye. Ekika kya Aseri Abaana ba Aseri baali Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe. Batabani ba Beriya baali Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi. Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa. Batabani ba Yafuleti baali Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. Batabani ba Semeri baali Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu. Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali. Batabani ba Zofa baali Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula, ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera. Batabani ba Yeseri baali Yefune, ne Pisupa ne Ala. Batabani ba Ulla baali Ala, ne Kanieri ne Liziya. Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga. Ekika kya Benyamini Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye, Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu; Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano. Batabani ba Bera baali Addali, ne Gera, ne Abikudi, ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu. Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano: Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi. Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala. Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu, ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe. Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali. Batabani ba Erupaali baali Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde, Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi. Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi, ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu. Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi. Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, Sasaki ne Ifudeya ne Penueri. Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli. Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi. Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni, ne mukyala we ye yali Maaka. Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu, ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi. Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali. Mutabani wa Yonasaani yali Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka. Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi. Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza. Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri. Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani. Batabani ba muganda we Eseki baali Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu. Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala. Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini. Ebika Ebyava mu Buwaŋŋanguse mu Babulooni Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu. Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali: Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda. Ku Basiiro, Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be. Ku bazzukulu ba Zeera, Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda. Ku bazzukulu ba Benyamini, Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa, ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya. Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe. Ku bakabona abaakomawo kwaliko Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini, ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda; ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri. Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda. Ku baleevi kwaliko: Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali, ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu, ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni; ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa. Abaggazi ba wankaaki baali, Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi. Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera. Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye. Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo. Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza. Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole. Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi. Enda ya Sawulo Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni, n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi. Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali. Mutabani wa Yonasaani ye yali Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka. Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi. Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri. Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe: Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Sawulo Yetta Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa. Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa. Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako. Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta. Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa. Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa. Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago. Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni. Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo, abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu. Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako, mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese. Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri Yonna Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri. Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi. Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo. Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga. Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye. Abasajja Abazira aba Dawudi Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali; Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu. Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu. Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti. Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi. Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu. Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.” Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama. N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa. Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo. Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu. Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu. Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma. Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa. Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi. Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be. Abasajja abazira ab’eggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu, ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu, ne Sammosi Omukalooli, ne Kerezi Omuperoni; ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, ne Abiyezeeri Omwanasosi, ne Sibbekayi Omukusasi, ne Irayi Omwakowa, ne Makalayi Omunetofa, ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa, ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini, ne Benaya Omupirasoni, ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi, ne Abiyeeri Omwalubasi, ne Azumavesi Omubakalumi, ne Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Kasamu Omugizoni, ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali; ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ne Erifali mutabani wa Uli, ne Keferi Omumekera, ne Akiya Omuperoni, ne Kezulo Omukalumeeri, ne Naalayi mutabani wa Ezubayi, ne Yoweeri muganda wa Nasani, ne Mibukali mutabani wa Kaguli; ne Zereki Omwamoni, ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, ne Ira Omuyisuli, ne Galebu Omuyisuli, ne Uliya Omukiiti, ne Zabadi mutabani wa Akulayi, ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye, ne Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumisuni, ne Uzziya Omwasutaloosi, ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri, ne Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi, ne Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu, ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba. Abawagizi ba Dawudi Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo. Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini. Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya; Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi; Beraka, ne Yeeku Omwanasoni, ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe; ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi; ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu; ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola; ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli. Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi. Ezeri ye yali omukulu waabwe, ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu, ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano, ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu, ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda, ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu. Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi. Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba. Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye. Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.” Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti, “Ffe tuli babo, Dawudi! Tuli naawe, Omwana wa Yese! Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli; era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba, kubanga Katonda wo ajja kukubeera.” Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye. Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase. Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye. Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi. Abasajja Abeegatta ku Dawudi e Kebbulooni Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali: abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana; abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi; abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga; ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu; ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri. Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo; abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana; abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana; abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga; abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano; abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu; abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga; abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena; emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri. Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe. Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna. Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde. Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri. Essanduuko Ekomezebwawo Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi. N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko. Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.” Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna. Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu. Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama. Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera. Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere. Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda. Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero. Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?” Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa. Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri. Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.” Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo. Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri. Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi. Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.” Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde. N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi: ku bazzukulu ba Kokasi, Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri; ku bazzukulu ba Merali, Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri; ku bazzukulu ba Gerusomu, Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu; ku bazzukulu ba Erizafani, Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri, ku bazzukulu ba Kebbulooni, Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana; ku bazzukulu ba Wuziyeeri, Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri. Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri. Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali. Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa. Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo. Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga. Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe. Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama. Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda. Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti: Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna. Erinnya lye ligulumizibwe, n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke. Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna. Mujjukire ebyewuunyo by’akoze, n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira, mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be, mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. Ye Mukama Katonda waffe; okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna. Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi, gye yakola ne Ibulayimu, era n’agirayiza Isaaka. N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo, n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera, ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.” Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono, era omutono ddala, nga batambuze mu yo, baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala, n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala. Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe: ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so bannabbi bange temubakolanga akabi.” Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku. Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna. Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna. Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu. Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge, amaanyi n’essanyu biri wamu naye. Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna, mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge. Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe. Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa. Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!” Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna, n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo! Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama n’essanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango. Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo.” Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri ow’emirembe n’emirembe. Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.” Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi. Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki. Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa. Okusuubiza kwa Mukama eri Dawudi Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.” Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti, “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala. Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’  “Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi. Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna. “ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba: Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna. Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka. Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ” Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo. Esaala ya Dawudi Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano? Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda. “Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo. Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo. “Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe. Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri? Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe. “Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna. Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go. “Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza. Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo. Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.” Obuwanguzi bwa Dawudi Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu. Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati. Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi. Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga. Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi. Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala. Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo. Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki. Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo. Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga. Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna. Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye; Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza; Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali muwandiisi; Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi; ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka. Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira. Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa. Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza, abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?” Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo. Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.” Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi. Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala. Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale. Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli. Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni. Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere. Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.” Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi. Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde. Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa. Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe. Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate. Labba Kiwambibwa Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi. Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti. Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye. Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta. Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be. Okubalibwa kw’Abayisirayiri Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri. Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.” Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?” Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda. Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu. Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri. Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.” Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti, “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ” Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.” Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.” Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe. Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.” Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka. Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka. Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira. Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.” Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.” Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.” Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu. Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo. Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo. Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda. Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.” Enteekateeka ey’okuzimba Yeekaalu Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama. Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito. Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera. Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa. Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba. Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange. Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange. Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’  “Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka. “Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako. Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.” Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti, Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be. Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.” Abaleevi Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri. Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.” Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali. Abaana ba Gerusoni baali Ladani ne Simeeyi. Batabani ba Ladani baali Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu. Batabani ba Simeeyi baali Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu, era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani. Batabani ba Simeeyi omulala Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya, be bana bonna awamu. Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu. Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana. Batabani ba Amulaamu baali Alooni ne Musa. Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi. Batabani ba Musa baali Gerusomu ne Eryeza. Mu bazzukulu ba Gerusomu, Sebweri ye yali omukulu. Mu bazzukulu ba Eryeza, Lekabiya ye yali omukulu. Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala. Mu batabani ba Izukali, Seromisi ye yali omukulu. Mu batabani ba Kebbulooni, Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna. Mu batabani ba Wuziyeeri, Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri. Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli baali Eriyazaali ne Kiisi. Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa. Batabani ba Musi baali Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu. Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama. Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo. Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa. Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama. Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti: Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona. Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe. Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba. Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali. Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali. Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu, n’akokubiri ku Yedaya, n’akokusatu ku Kalimu, n’akokuna ku Seyolimu, n’akookutaano ku Malukiya, n’ak’omukaaga ku Miyamini, n’ak’omusanvu ku Kakkozi, n’ak’omunaana ku Abiya, n’ak’omwenda ku Yesuwa, n’ak’ekkumi ku Sekaniya, n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu, n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu, n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa, n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu, ak’ekkumi noobutaano ku Biruga, n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri, n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri, n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi, n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya, n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri, ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini, n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli, n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya, n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya. Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. Abaleevi Abalala Bazzukulu ba Leevi abalala baali: okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri; okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya. Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda. Ku Bayizukaali Seromosi, ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi. Ku batabani ba Kebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna. Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka; ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri. Muganda wa Mikka ye yali Issiya, ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya. Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno. Batabani ba Merali, mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli. Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi. Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri. Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi. Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto. Abayimbi Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali: Ku batabani ba Asafu: Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka. Ku batabani ba Yedusuni: Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama. Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka: Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu. Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka. Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka. Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri. Ebibinja eby’Abaggazi Ebibinja by’Abaggazi byali: Mu Bakola, waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga Zekkaliya ye w’olubereberye, ne Yediyayeri nga wakubiri, ne Zebadiya nga wakusatu, ne Yasuniyeri nga wakuna, ne Eramu nga wakutaano, ne Yekokanani nga wamukaaga, ne Eriwenayi nga wa musanvu. Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga Semaaya ye w’olubereberye, ne Yekozabadi nga wakubiri, ne Yowa nga wakusatu, ne Sakali nga wakuna, ne Nesaneeri nga wakutaano, ne Ammiyeri nga wamukaaga, ne Isakaali nga wa musanvu, Pewulesayi nga wa munaana, Katonda gwe yawa omukisa. Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi. Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri. Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana. Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu; Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu, ne Zekkaliya nga wakuna. Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu. Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali. Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi. Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be. Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa. Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe. Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku, ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku, ne ku ggwanika babiri babiri. Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri. Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali. Abawanika n’Abakungu Abalala Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama. Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri: Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be. Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze. Ku Bayizukaali, Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri. Ku Bakebbulooni, Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe. Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka. Ebibinja eby’Eggye Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo. Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo. Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Abataka ab’Ebika Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali: eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli; eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka; eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri; eyafuganga Alooni yali Zadooki; eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi; eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri; eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya; eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri; eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya; eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya; eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya; eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri; n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri. Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi. Abalabirizi ba Kabaka Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo. Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro. Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu, ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge. Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba; ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta. Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni, ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu. Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira, ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi. Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga. Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye. Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi, ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira. Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka, ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo. Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi. Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka. Enteekateeka ya Dawudi ku Bikwata ku Yeekaalu Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira. Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’ “Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’ “Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna. “Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna. Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.” Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira. Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe. Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama. Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi; n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo; n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza; n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza; n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama. Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.” Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde. Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.” Ebirabo eby’Okuzimba Yeekaalu Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda. Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo. Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange; ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe, n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?” Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda. Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini. Essaala ya Dawudi Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti, “Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda, Katonda wa jjajjaffe Isirayiri, emirembe n’emirembe. Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna. Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna. Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa. “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.” Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka. Sulemaani Atikkirwa Okuba Kabaka Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani. Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri. Okufa kwa Dawudi Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira. Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.